Enteekateeka y’Enkuŋŋaana z’Obuweereza
Wiiki Etandika Maayi 10
Oluyimba 86
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Amagezi agaweereddwa ku lupapula 4 bwe gaba nga gasobola okukola mu kitundu kyammwe, gakozese okulaga engeri y’okugabamu Watchtower aka Apuli 15 ne Awake! aka Apuli 22. Ebyokulabirako ebirala biyinza okukozesebwa. Mu buli kyakulabirako, laga engeri ey’enjawulo ey’okuddamu abo abatuziyiza okwogera nabo nga bagamba nti “Nnina eddiini yange.”—Laba akatabo Reasoning empapula 18-19.
Ddak. 15: Omaze Okwogerako n’Oyo Akukozesa? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kukubirizibwa omukadde era nga kwesigamiziddwa ku kitundu “Onoobaayo?” ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2000, olupapula 1. Yogera ne kw’ebyo ebiri mu kitabo Ministry School olupapula 67.
Ddak. 20: “‘Mugaziye’ Okwagala Kwammwe.”a Yogera ne kw’ebyo ebiri mu katabo Sinza Katonda, olupapula 150, akatundu 14.
Oluyimba 15 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 17
Oluyimba 31
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: “Mwebaze.”b Ebiseera bwe biba bimala, saba abawuliriza boogere ku byawandiikibwa ebiweereddwa. Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba omubuulizi omu oba babiri ababadde baweereza nga bapayoniya abawagizi boogere ku mikisa gye bafunye mu buweereza obwo.
Ddak. 20: Buli Omu Afaayo ku Munne. (1 Kol. 12:25, 26) Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku kitabo Our Ministry, empapula 157-9, wansi w’omutwe omutono “Okufaayo ku Balala.” Wadde ng’abantu ba Yakuwa bali mu nsi ez’enjawulo, bali bumu. Ffenna tusaanidde okusabira baganda baffe buli lunaku. Era twanguwa okubayamba singa baba mu bwetaavu. Soma era mukubaganye ebirowoozo ku byawandiikibwa ebikulu, era bategeezeeyo ekyokulabirako kimu oba bibiri okuva mu bitabo byaffe.
Oluyimba 63 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 24
Oluyimba 75
Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Maayi 1 ne Awake! aka Maayi 8. Buli kyakulabirako kyandibaddeko omuntu gwe kisikiriza mu kitundu kyammwe.
Ddak. 15: “Ennyimba Ezizzaamu Amaanyi.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku ebyo ebiri mu 2002 Yearbook, olupapula 175, bwe kaba nga weekali, era ne ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Febwali 1, 1997, olupapula 27, obutundu 1-2.
Ddak. 18: Beera Mwetegefu Okubuulira Embagirawo. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba, olupapula 3. Kola enteekateeka nga bukyali wabeewo aboogera ku bintu ebirungi ebyaliwo nga babuulira embagirawo. Mu bufunze yogera ku ngeri tulakiti Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli n’akatabo Good News for All Nations, gye biyinza okukozesebwamu okubuulira embagirawo.
Oluyimba 93 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Maayi 31
Oluyimba 9
Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza eza Maayi.
Ddak. 17: Obulamu—Kirabo Ekirina Okutwalibwa ng’eky’Omuwendo. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, empapula 25-6. Yogera ne kw’ebyo ebiri mu Awake! aka Maayi 22, 1993, empapula 10-11. Omuntu akitwala nti omukazi alina eddembe okwesalirawo ebikwata ku mubiri gwe, wandimunnyonnyodde otya endowooza Yakuwa gy’alina ku kuggyamu embuto? Yogera ku kyokulabirako ekiri mu Watchtower aka Jjanwali 1, 2000, olupapula 4, obutundu 4-5.
Ddak. 20: “Okugaba Ekitabo Learn From the Great Teacher.” Mu mwezi gwa Jjuuni tujja kugaba ekitabo kino. Yogera ku ebyo ebiri ku lupapula 7, obutundu 1-3, mu kitabo kino. Saba abawuliriza boogere ku ekyo kye baagala ku kitabo kino. Yogera ku birowoozo ebiweereddwa eby’okukozesa nga tugaba ekitabo kino. Balage engeri y’okukozesaamu ebifaananyi nga bagaba ekitabo. Saba omuvubuka alage ekyokulabirako ekisooka ate era n’omuntu omukulu alage ekimu ku ebyo ebisigadde. Singa wabaawo engeri endala nga y’esinga okukola obulungi mu kitundu kyammwe, eyinza okukubaganyizibwako ebirowoozo era n’eragibwa mu kifo kya ziri endala.
Oluyimba 68 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Jjuuni 7
Oluyimba 57
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase. Saba abawuliriza boogere ku miganyulo gy’okubeera n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Kubiriza ab’oluganda beeyongere okuwagira enteekateeka y’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka.
Ddak. 15: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 20: Kozesa Ebyokulabirako Ebirungi mu Kuyigiriza Kwo. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Ssebutemba 1, 2002, empapula 22-4. Nsonga ki ennya ezifuula ekyokulabirako okuba ekirungi? Lwaki kya muganyulo okuba n’ekyokulabirako ekyangu? Ludda wa gye tuyinza okufuna ebyokulabirako ebirungi? Mwogere ku byokulabirako ebimu ebiri mu kasanduuko ku lupapula 23 era mukubaganye ebirowoozo ku ekyo ekifuula buli kyakulabirako okuba ekirungi.
Oluyimba 55 n’okusaba okufundikira.
a [Obugambo obuli wansi]
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.
By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.