Ennyimba Ezizzaamu Amaanyi
1 Ennyimba kitundu kikulu mu kusinza okw’amazima. Mu Isiraeri ey’edda, Asafu awamu ne baganda be baayimba: “Mwebaze Yakuwa. . . . Mumuyimbire, muyimbe okumutendereza; mwogere ku byamagero bye byonna.” (1 Byom. 16:8, 9) Leero tutendereza Yakuwa nga tuyimba mu nkuŋŋaana zaffe eza buli wiiki. (Bef. 5:19) Eyo nga nkizo ya kitalo okutendereza erinnya lye!—Zab. 69:30.
2 Okuwuliriza ennyimba ezikwata ku Bwakabaka (Kingdom Melodies), kituyamba okulowooza ku bintu eby’omwoyo. “Bwe mpuliriza obuyimba obwo, ntandika okulowooza ku bigambo byabwo,” bwatyo mwannyinaffe omu bwe yagamba. “Eyo nga ngeri nnungi nnyo ey’okulowooza ku Yakuwa ng’ate eno bwe nnyumirwa obuyimba!”—Baf. 4:8.
3 Ebiseera eby’Okuziwuliriza: Okuwuliriza ennyimba ez’Obwakabaka nga muli awaka, kireetawo embeera ennungi mu by’omwoyo esobozesa emirembe okubaawo mu maka. “Tuwuliriza ennyimba zino emirundi n’emirundi awaka era ne mu mmotoka naye tetuzikoowa olw’okuba zinyuma nnyo,” bwe batyo ab’omu maka agamu bwe baagamba. “Emirundi mingi ennyimba ez’Obwakabaka zituteeka mu mbeera ennungi nga tweteekateeka okugenda mu nkuŋŋaana ez’ekibiina era n’ennene.” Mwanyinnaffe omu yagamba: “Okuwuliriza ennyimba zino ng’eno bwe nkola emirimu gy’awaka kindeetera essanyu—ani yandinsuubidde okusanyuka nga njoza engoye? Mpuliriza ennyimba zino bwe mba nga mpeddemu amaanyi. Ennyimba zino ddala zizzaamu amaanyi! . . . Buli luyimba lukuleetera essanyu.” Waliwo ekiseera ennyimba ng’ezo we zandikuyambidde?
4 Ennyimba ezisinga obungi leero zooleka omwoyo gw’ensi. Abazadde bandiyambye abaana baabwe okusiima ennyimba ezizimba nga bakozesa ennyimba ez’Obwakabaka. Abayizi ba Baibuli bangi nabo kyandibasanyusizza okumanya ennyimba zino ennungi ez’eby’omwoyo, ezitendereza Yakuwa era ezizzaamu amaanyi.—Zab. 47:1, 2, 6, 7.