LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/03 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 14
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 21
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 28
  • Wiiki Etandika Agusito 4
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 7/03 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjulaayi 14

Oluyimba 26

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, lagayo ebyokulabirako bibiri ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjuuni 15 ne Awake! aka Jjuuni 22 mu kitundu kye mubuuliramu. Mu buli kyakulabirako, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Omubuulizi ategeeza nnyinimu enteekateeka ey’okubaako ky’awaayo kyeyagalire era nnyinimu musanyufu okubaako ky’awaayo.

Ddak. 15: Okusinza Yakuwa Kuganyula Kutya Obulamu Bwaffe mu Ngeri Esingawo? Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Okusinza okw’amazima kutusobozesa okuba n’obulamu obw’essanyu era obw’amakulu. (1) Kutuyamba okwaŋŋanga ebizibu n’ebirala ebitweraliikiriza mu bulamu. (Baf. 4:6, 7) (2) Kutuyamba okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda. (2 Peet. 1:5-8) (3) Kutuyamba okukozesa ebiseera byaffe n’ebintu byaffe mu ngeri ennungi. (1 Tim. 6:17-19) (4) Kutusobozesa okubeera n’essuubi ekkakafu ery’omu biseera eby’omu maaso. (2 Peet. 3:13) (5) Kutusobozesa okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Kirage nti abantu abatamanyi Yakuwa era abatamusinza tebaganyulwa mu ngeri eyo.

Ddak. 20: “Okusiima Obusaasizi bwa Katonda.”a Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, bawe ebirowoozo bye bayinza okukozesa okufuna abantu be batwalira magazini buli lwe ziba zizze, ng’okozesa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 1998, olupapula 12. Buuza omubuulizi omu oba babiri bannyonnyole engeri ennungi ze bakozesa okufuna abayizi ba Baibuli. Bonna bakubirize okuba n’ekiruubirirwa eky’okufuna abayizi ba Baibuli.​—om lup. 91.

Oluyimba 96 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 21

Oluyimba 66

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.

Ddak. 10: “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lw’Ekitundu.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Bategeeze olunaku olukuŋŋaana lw’ekitundu we lunaabeererawo bwe luba nga lumanyiddwa. Bwe kiba nti ekibiina kyammwe kijja kuba n’olukuŋŋaana olwo mu myezi mitono egiddirira, bategeeze nti abo abandyagadde okubatizibwa basaanidde okutegeeza omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde. Bonna bakubirize okufuba ennyo okuyita abayizi baabwe aba Baibuli era n’okubeerawo mu bitundu byonna eby’olukuŋŋaana.

Ddak. 25: Mukoppe Obuvumu bwe Baalina mu Kubuulira. Okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Sinza Katonda, empapula 170-1. Saba abawuliriza baddemu ebibuuzo ebiri mu katundu 7 era boogere ne ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Soma ebyawandiikibwa ebimu. Nnyonnyola bye tuyiga okuva mu byawandiikibwa ebyo era n’engeri gye bituyambamu okubeera n’endowooza entuufu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira.

Oluyimba 89 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 28

Oluyimba 20

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro eza Jjulaayi. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 4, lagayo ebyokulabirako bibiri eby’enjawulo ebiraga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 1 ne Awake! aka Jjulaayi 8. Mu byokulabirako byombi, magazini zombi zirina okugabibwa wadde ng’emu yokka y’erina okwogerwako. Mu kyokulabirako ekimu, laga ng’omubuulizi abuulira mbagirawo.

Ddak. 15: Okujjukizibwa n’ebyetaago by’ekibiina.

Ddak. 20: “Okubuulirira Awamu n’Abalala Kireeta Essanyu.”b Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, yogera ne ku ebyo ebiri mu Kasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2001. Kozesa ekiseera kitono okubuuza ebibuuzo Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Musabe ayogere ku nteekateeka y’okubuulira gy’akoledde ekibinja kye era n’engeri ekibinja kye gye kiganyulwa mu kubuulirira awamu.

Oluyimba 76 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Agusito 4

Oluyimba 13

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Bategeeze ebitabo eby’okugaba omwezi guno. Laga ekyokulabirako kimu oba bibiri mu bufunze ebiyinza okukozesebwa. Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 20: “Okugaba Ebitabo mu Kitundu mwe Boogera Ennimi Ezitali Zimu.”c Kozesa ebibuuzo ebiweereddwa. Bwe kiba kituukirawo, nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, lagayo ekyokulabirako ekyangu mu lulimi olulala olwogerwa mu kitundu kyammwe era nga tewali kibiina kirukozesa.

Ddak. 15: Abaana Batendereza Yakuwa! Kwogera okulimu okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza n’okubuuza ebibuuzo. Tusanyuka bwe tuwulira abaana nga bawa eby’okuddamu ebitegekeddwa obulungi mu nkuŋŋaana. Obunyiikivu bwabwe n’okukulaakulana mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, bitusanyusa nnyo. Booleka okukkiriza okwa nnamaddala bwe bawa obujulirwa mu buweereza. Empisa zaabwe ennungi, ziweesa Yakuwa ekitiibwa. (yb88 emp. 53-4) Bwe bakulaakulana mu by’omwoyo, kibasobozesa okufuna enkizo mu biseera eby’omu maaso. Ng’okozesa eddakiika ntono, buuza ebibuuzo abavubuka Abakristaayo babiri oba basatu abatayosa kwenyigira mu ebyo ebikolebwa mu kibiina. Weebaze abavubuka abali mu kibiina olw’okufuba okutendereza Yakuwa.

Oluyimba 68 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza