Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Jjuuni 30, 2003. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Maayi 5 okutuuka nga Jjuuni 30, 2003. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENSONGA EZ’OKWOGERAKO
1. Lwaki okukyusakyusa eddoboozi kikulu nnyo ng’owa emboozi, era tuyinza kukikola tutya? [be lup. 111 akasanduuko; lup. 112 akasanduuko]
2. Wadde ng’omwogezi aba akkiriza by’ayogera era ng’ayagala Yakuwa, lwaki ayinza obutaba na bbugumu mu mboozi ye? [be lup. 115 but. 3-4; lup. 116 kat. 1]
3. Kiki ekinaayamba omwogezi okwogera mu ngeri ey’omukwano n’okwoleka enneewulira ye ng’awa emboozi, era lwaki kino kikulu? [be lup. 119 but. 1-4]
4. Ebbugumu, okwogera mu ngeri ey’omukwano, n’enneewulira endala ezijjawo ng’okwogera kuweebwa, bisinziira ku ki? [be lup. 120 but. 2-5]
5. Kituufu oba Kikyamu: Okukozesa ebitundu by’omubiri n’endabika y’oku maaso bikulu nnyo olwo lwokka ng’abakuwuliriza bakusiimbye amaaso. Nnyonnyola. [be lup. 121 kat. 3]
EMBOOZI 1
6. Kiki ekyayamba Yosiya okulondawo ekkubo ettuufu wadde nga yali mu mbeera enzibu ng’akyali muto? (2 Byom. 34:1, 2) [w01 4/15 lup. 27 but. 1-6; lup. 28 kat. 4]
7. Makulu ki agali mu Engero 9:7, 8a, era ziyinza kukozesebwa zitya mu buweereza obw’ennimiro? [w01 5/15 lup. 29 but. 4-5]
8. Yakuwa yali ategeeza ki bwe yagamba Abaisiraeri nti, ‘Temwerabira,’ era tuyinza tutya okwewala okwerabira? (Ma. 4:9; 8:11) [be lup. 20 but. 1-3]
9. Ebigambo bya Dawudi ebiviira ddala ku mutima ebiri mu Zabbuli 32:1, 5 ne Zabbuli 51:10, 15 biraga bitya nti omuntu talina kulowooza nti takyasaanira oluvannyuma lw’okukola ekibi eky’amaanyi kyokka ne yenenya mu bwesimbu? [w01 6/1 lup. 30 but. 1-3]
10. Kiki kye tuyinza okuyigira ku bulagirizi bwa Pawulo obusangibwa mu 1 Timoseewo 5:3-16 obukwata ku kufaayo ku abo abali mu bwetaavu? [w01 6/15 lup. 11 kat. 1]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yakozesa ebigambo “okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri,” ebisangibwa mu Yokaana 3:3? [w95 7/1 emp. 9-10 but. 4-5]
12. Mu ngeri ki Yesu gye yakozesaamu obuyigirize bwe, era kiki ekikulu ennyo kye tuyigira ku ekyo? (Yok. 7:15-18) [w96 2/1 emp. 9-10 but. 4-7]
13. Lwaki Yokaana 7:53–8:11 teziri mu nnyiriri enkulu mu nkyusa ya New World Translation?
14. Mu ngeri ki Yesu gye ‘yajja mu ngeri y’emu’ nga gye yagendamu mu ggulu? (Bik. 1:11) [w90-E 6/1 lup. 11 kat. 5]
15. Lwaki kyali nti “tewaali n’omu eyayaŋŋanga okwegatta nabo [abayigirizwa],” nga bwe kiri mu Ebikolwa by’Abatume 5:13?