Okuwummula ku Mulimu—Kukusobozesa Okuweereza mu Ngeri Esingawo?
1 Abantu abasinga obungi abakola ennyo, beesunga ekiseera eky’okuwummula ku mulimu ne bawona okukuluusana n’okubeeranga ku bunkenke olw’emirimu. Kyokka, emirundi egisinga obungi omuntu bw’awummula ku mulimu agayaala, awuubaala era akaddiwa mangu. Olw’okuba aba talina bya kukola, ayinza okweraliikirira ebikwata ku bulamu bwe. Olupapula lw’amawulire olw’omu Brazil lwagamba nti abantu abawummula ku mulimu boolekagana n’ebizibu ‘ng’obutaba bamativu, okuwulira nti tebalina bukuumi, okwewulira nti tebalina mugaso era nti obulamu bwabwe tebulina kigendererwa.’
2 Naye, Abakristaayo bangi bakitwala nti okuwummula ku mulimu kibasobozesa okwenyigira mu mirimu egy’eby’omwoyo. Ow’oluganda eyatandika okukola nga payoniya nga wayiseewo wiiki bbiri oluvannyuma lw’okuweza emyaka 65 yagamba: “Sifunangako mikisa nga gye nfunye mu myaka ekkumi gye nnaakamala nga mpeereza nga payoniya.” Omugogo gw’Abajulirwa baawandiika: “Twatandika okunyumirwa emyaka gyaffe egy’obukadde bwe twaweereza nga bapayoniya.” Yee, eri abasinga obungi, ekiseera eky’okuwummula ku mulimu kaba kakisa okugaziya ku buweereza bwabwe ne kibaviirako okufuna emikisa gya Yakuwa.
3 Okunyiikirira Omulimu Oguganyula: Bangi kati abawummudde ku mulimu tebaakulira mu bulamu bwangu. N’olwekyo baayiga okukola ennyo okuva nga bakyali bato. Wadde nga tebakyalina maanyi nga ag’omu buvubuka, bakyali bakozi balungi. Mu kitundu ekimu ekitwalibwa ettabi, bapayoniya 22 ku buli kikumi, kwe kugamba, baganda baffe ne bannyinaffe nga 20,000, bava ku myaka 60 n’okweyongerayo. Bannamukadde abo bawagira nnyo omulimu gw’okubuulira. Obumanyirivu bwe balina n’engeri zaabwe ezooleka okutya Katonda biganyula ebibiina bye baweerezaamu.—Yak. 3:17, 18.
4 Okunyiikirira omulimu gw’Ekikristaayo kirongoosa ku mbeera y’obulamu bwaffe. Mwannyinaffe ow’emyaka 84, eyatandika okukola nga payoniya ng’awummudde ku mulimu, yagamba: “Okuba n’abayizi ba Baibuli abangi, kiyambye obwongo bwange okusigala nga bukyakola bulungi. Sirina mmotoka n’olwekyo ntambula nnyo. Kino kinnyambye okuba nga ndi mulamu bulungi.” Omugogo gw’abafumbo abakaddiye baagamba: “Obuweereza buno butukuuma nga tuli balamu bulungi mu birowoozo ne mu by’omwoyo. Buli kiseera tubeera wamu. Tunyumirwa obulamu.”
5 Okuweereza mu Bifo Awali Obwetaavu: Abakristaayo abamu abawummudde ku mirimu, abali obulungi mu by’enfuna, bagenze mu bitundu awali obwetaavu obw’amaanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Abalala bagaziyizza ku buweereza bwabwe nga baweereza mu kitundu gye boogera olulimi olugwira. Okufaananako omutume Pawulo, Abakristaayo bano abanyiikivu ‘bakola byonna olw’enjiri, balyoke bassenga kimu nayo.’—1 Kol. 9:23.
6 Omugogo gw’abafumbo ogumu, baatandika okukola nga bapayoniya oluvannyuma lw’okukuza batabani baabwe ababiri. Oluvannyuma lw’okuweereza nga bapayoniya okumala emyaka egiwerako, baatandika okuyiga Olukyayina. Nga kati batemera mu myaka 70, baasanyuka nnyo okulaba ekibinja ky’Abakyayina nga kifuuse ekibiina. Nga twesiimye okuba ne bannamukadde abalungi abali nga bano!
7 Tetuwummula Mirimu gya Buweereza: Wadde ng’abantu abasinga obungi bawummula ku mirimu gyabwe, Abakristaayo tebawummula mirimu gya kuweereza Katonda. Ffenna tuteekwa okugumiikiriza “okutuuka ku nkomerero.” (Mat. 24:13, 14) Kyo kituufu nti emyaka bwe gigenda gyeyongera, abamu baba tebakyasobola kukola nga bwe baakolanga edda mu mulimu gwa Yakuwa. Naye nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba abali ng’abo, nga bakola kye basobola n’omutima gwabwe gwonna! Ekigambo kya Katonda kibakakasa nti Yakuwa tayinza kwerabira mulimu gwabwe awamu n’okwagala kwe baalaga erinnya lye.—Luk. 21:1-4; Beb. 6:10.
8 Bw’oba osemberedde emyaka egy’okuwummula ku mulimu, lwaki tosaba era olowooze ku ngeri gy’oyinza okukozesamu ekiseera ekyo mu bujjuvu? Awamu n’obuyambi obuva eri Katonda, ojja kukisanga nti ekiseera eky’okuwummula ku mulimu kikusobozesa okugaziya ku mulimu oguviirako Yakuwa okutenderezebwa era oguvaamu emikisa emingi.—Zab. 148:12, 13.