Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Maayi: Gaba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oddayo okukyalira abantu abaagala okumanya ebisingawo, nga mwe muli n’abo abaaliwo ku Kijjukizo oba mu lukuŋŋaana olulala lwonna olw’ekibiina naye nga tebatera kujja mu nkuŋŋaana, bagabire akatabo Sinza Katonda. Musaanidde okufuba ennyo okufuna abayizi ba Baibuli, naddala abo abaamala edda okusoma akatabo Okumanya ne brocuwa Atwetaagisa. Jjuuni: Mugabe akatabo Okumanya oba brocuwa Atwetaagisa. Abantu be tusanga bwe baba nga babirina, kozesa brocuwa endala etuukirawo eri mu kibiina. Jjulaayi ne Agusito: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Emyoyo Egitalabika, Emyoyo gy’Abafu, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, “Look! I Am Making All Things New,” Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, Kiki Ekibaawo Bwe Tufa?, Ozudde Ekkubo Erituuka mu Bulamu Obutaggwaawo?, Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Mu bitundu ebimu eby’ensi, brocuwa zino eziddirira ziyinza okugabibwa: A Book for All People, A Satisfying Life—How to Attain It, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Spirits of the Dead—Can They Help You or Harm You? Do They Really Exist?, ne Will There Ever Be a World Without War?
◼ Omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde oba omuntu omulala yenna gw’aba alonze, asaanidde okwekenneenya ebiwandiiko by’embalirira y’ekibiina nga Jjuuni 1 oba amangu ddala nga bwe kisoboka. Nga kino kimaze okukolebwa, kisaanidde kirangibwe eri ekibiina oluvannyuma lw’okusoma lipoota y’eby’embalirira eddako.
◼ Abayizi b’omu Ssomero Eritendeka Abaweereza ery’omulundi 13 eryali mu Kenya, baamaliriza emisomo gyabwe nga Jjanwali 19, 2003. Kyali kizzaamu amaanyi okuwulira ebigambo ebyayogerwa abayizi abaava mu Ethiopia, Kenya, Sudan, Tanzania ne Uganda nga basiima okufuna okutendekebwa okwo. Ab’oluganda abali obwannamunigina, nga bali wakati w’emyaka 23-50, era nga baagala okugenda mu ssomero eryo, bayinza okutegeezebwa ebisingawo mu lukuŋŋaana olunaakubirizibwa omulabirizi wa disitulikiti olunaabaawo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olunaddako. Balina okuba nga bamaze emyaka egitakka wansi w’ebiri nga bakola ng’abaweereza oba balina okuba nga baweereza ng’abakadde.