Omulimu gw’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu Nsi Ezimu ez’Omu Bulaaya
1 Mu makumi g’emyaka egyakayita, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi nyingi eziri mu Bulaaya nga mw’otwalidde ne Bulaaya ow’Ebuvanjuba, gubadde guziyizibwa. Emirundi egisinga, okuziyizibwa okwo kubadde kwa bukambwe nnyo. Kyali kizibu nnyo okubeera n’enkuŋŋaana mu lujjudde, era nga kumpi tekisoboka kubeera n’Ekizimbe ky’Obwakabaka. Kyokka, emyaka mitono egiyise, ‘Yakuwa atukoledde ebikulu; ne kituviirako okusanyuka.’—Zab. 126:3.
2 Okutandika n’omwaka 1983, okuziyizibwa okwo kwatandika okukendeera. Omwaka 1989 we gwatuukira, Poland ne Hungary zaali zimaze okuwandiisa Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka. Mu 1991, Abajulirwa ba Yakuwa baawandiisibwa mu mateeka mu Russia. Okuva olwo, omulimu gweyongedde okukulaakulana mu Russia ne mu nsi endala ezaali eza Soviet Union. Wakati wa Maaki 1996 ne Okitobba 1998, Akakiiko Akafuzi kakkiriza okusaba kwa ofiisi z’amatabi 11 ez’omu Bulaaya okw’okuwolebwa ssente ez’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka 359.
3 Ng’otunuulira ebifaananyi ebiri ku lupapula luno olw’omunda, fumiitiriza ku bintu ebikulu era ebyewuunyisa Yakuwa by’akoledde abantu be. (Zab. 136:4) Mujja kuba basanyufu okumanya nti ssente eziweebwayo ab’oluganda okwetooloola ensi yonna zikozesebwa bulungi, ng’ekyo kyoleka Yesu bye yayogera mu Yokaana 13:35: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”
4 Mu nsi ezitali bulungi mu by’enfuna eziri mu Bulaaya eziganyulwa mu nteekateeka y’okuyambibwa okufuna Ebizimbe by’Obwakabaka, mwe muli Romania, Ebizimbe by’Obwakabaka 36 gye bizimbiddwa okuva mu Jjulaayi 2000. Nga bakozesa pulaani emu okuzimba Ebizimbe byabwe eby’Obwakabaka, Ukraine yazimba ebizimbe 61 mu mwaka 2001 n’ebirala 76 mu 2002. Nga bakozesa ensimbi eziweebwayo mu Nsawo y’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, ebizimbe bingi bimaze okuzimbibwa mu Bulgaria, Croatia, Macedonia, Moldova, Russia, ne Serbia ne Montenegro.
5 Tekibadde kyangu okuzimba ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi ezimu, era wateekwa okubaawo okufuba kwa maanyi nnyo ng’okuzimba tekunnaba kutandika. Emirundi mingi, enteekateeka z’okuzimba zitwala ebiseera bingi. Ate era, kyetaagisa ssente nnyingi nnyo okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu kitundu ekyo ekya Bulaaya okusinga mu bitundu bingi eby’omu Afirika ne South America. Kyokka, olw’okuba waliwo okweyongera kwa maanyi nnyo mu bantu abasinza Yakuwa, Ebizimbe by’Obwakabaka bingi bikyetaagibwa mu nsi ezitali bulungi mu by’enfuna eziri mu Bulaaya!
6 Nga kirungi nnyo okulaba ng’Ebizimbe bingi eby’Obwakabaka bizimbibwa mangu nnyo! Mu bifo gye bizimbiddwa, kiviiriddeko okuwa obujulirwa obw’amaanyi nga bwe kirabikira mu byokulabirako bingi. Mu bitundu ebimu, ab’obuyinza bawuniikirira olw’okukolagana obulungi nabo nga bagoberera obulagirizi obukwata ku kuzimba.
7 Isaaya yalagula ku kweyongerayongera okuliwo mu kiseera kino. Okuyitira mu nnabbi oyo, Katonda yalagula: “Ndikyanguya ebiro byakyo nga bituuse.” (Is. 60:22) Awatali kubuusabuusa, amakumi g’emyaka egiyise kibadde kiseera Yakuwa okukulaakulanya omulimu mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba. Yakuwa ka yeeyongere okutuwa emikisa gye mu kufuba kwaffe okw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ku sipiidi mu nsi nnyingi nga tweyongera okuwagira Ensawo ey’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka! Kino kijja kuviiramu okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebirala bingi mu nsi ezitali bulungi mu by’enfuna. Kijja kutumbula okusinza okw’amazima mu bitundu bingi eby’omu Bulaaya, era kijja kusobozesa obujulirwa okuweebwa okutuukira ddala ku “nkomerero y’ensi.”—Bik. 13:47.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]
Ekizimbe ky’Obwakabaka Moscow, Russia
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4-6]
Ebizimbe by’Obwakabaka Ebippya mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba
Strumica, Macedonia
Daruvar, Croatia
Bitola, Macedonia
Sokal, Lviv District, Ukraine
Sofia, Bulgaria
Krasnooktyabrskiy, Maykop Area, Russia
Bački Petrovac, Serbia and Montenegro
Plovdiv, Bulgaria
Tlumach, Ivano-Frankivsk District, Ukraine
Rava-Ruska, Lviv District, Ukraine
Stara Pazova, Serbia and Montenegro
Zenica, Bosnia and Herzegovina
Sokal, Lviv District, Ukraine
Zhydachiv, Lviv District, Ukraine