Okulaga nti Tusiima Ebitabo Byaffe
1 “Okukola ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma.” (Mub. 12:12) Ebitabo bingi ebikubibwa si bya muganyulo n’akamu. Kyokka, ekyo si bwe kiri ku bitabo ebikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Bya muganyulo kubanga birimu emmere ey’eby’omwoyo ewonya obulamu. Biyamba abaagala amazima okumanya Yakuwa, era binyweza okukkiriza kw’abo abaamala edda okwewaayo eri Yakuwa.
2 Twagala okugabirako abalala ebitabo byaffe kubanga tumanyi nti basobola okubiganyulwamu. Wadde nga tubigaba awatali kubisasulira, waliwo ssente ezisaasaanyizibwa mu kubikuba n’okubitambuza. N’olwekyo, tetulina kumala gagaba bitabo. Bwe tuba tetuli bakakafu nti oyo gwe tusanze ayagala amazima, tusobola okumulekera kopi ya Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! oba ka tulakiti. Tulina okuddayo eri bonna abakkiriza ebitabo byaffe, era omuntu bwalaga okusiima, tusobola okumuwa ekitabo ekirala.
3 Abamu tekibanguyira kubuulira oyo gwe basanze awaka nti omulimu gwaffe guwagirwa n’okuwaayo okwa kyeyagalire, naye emirundi egisinga kirungi okubategeeza. Kino kiraga bulungi be tusanze awaka nti omulimu gwaffe si gwa bya busuubuzi. Era kikyoleka bulungi nti ekigendererwa kyaffe ekikulu kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufula abantu abayigirizwa. Kituyamba okutegeera abalina okusiima okwa nnamaddala. Emirundi mingi abantu baba ne ssente okugula ebintu nga taaba n’ebitabo eby’ensi. Bwe baba nga ddala basiima ebyo by’obagambye, bajja kulaba obwetaavu bw’okuwagira omulimu gw’Abakristaayo ab’amazima. Bwe tunnyonnyola engeri omulimu gwaffe gye guwagirwamu, tulaga nti tusiima ebitabo bino. Tulaga nti tukitegeera nti kyetaagisa ssente okukuba ebitabo bino.
4 Ensonga ekwata ku kuwaayo bw’eba ennyonnyoddwa bulungi, bangi be tubuulira bajja kusanyuka okuwagira omulimu gwaffe guno omukulu. Emirundi egimu oyinza okuwulira nga tekyetaagisa kwogera ku nteekateeka eno ey’okuwaayo okwa kyeyagalire, naye okutwalira awamu kiba kirungi okugyogerako ku mulundi ogusookera ddala nga gw’osanze awaka ayagala okusoma ebitabo bye tugaba.