Weeyongere Okuganyulwa mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!
Olw’okuba enkola ey’okufuna Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! okuyitira mu poosita eneetera okuviirawo ddala, tulina okufuba okulaba nti ffe ffennyini n’abo be tubuulira, tewali n’omu asubwa magazini, wadde emu.
Obutabo Obwaffe: Magazini z’obadde ofuna okuyitira mu poosita bwe zinaakoma, yongera ku muwendo gw’ezo z’ofuna okuyitira mu kibiina. Abazadde balina okulagiriza magazini ezimala buli omu mu maka gaabwe asobole okuba ne magazini eyiye. Okuwandiika erinnya lyo ku magazini yo kijja kukuyamba obutagigaba mu butanwa ng’oli mu nnimiro. Magazini bwe zinaatuuka, ab’oluganda abavunaanyizibwa bajja kuziteeka ku mmeeza we zifunirwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka amangu ddala.
Be Tutwalira Magazini Ezaakafuluma Obutayosa: Ababuulizi basaanidde okukola enteekateeka ey’okutwalanga buli magazini eyaakafuluma eri abo abalaze nti baagala okuzisoma. Bwe tunaazibatwalira ffe ffennyini, kijja kutuwa omukisa okwongera okubaagazisa okuyiga era n’okutandika okubayigiriza Baibuli.—Laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Okitobba 1998, olupapula 8.
Abo Abalina Obwetaavu obw’Enjawulo: Omuntu bw’aba alaze nti ayagala nnyo okusoma magazini zaffe naye ng’abeera mu kitundu ekitabuulirwamu, ayinza okukolerwa enteekateeka ey’okufuna magazini okuyitira mu poosita. Bwe wabaawo omuntu mu kitundu mwe tubuulira nga tasobola kutuukibwako, kyokka ng’ayagala nnyo okufunanga magazini zaffe, yogera ku nsonga eno n’Akakiiko k’Obuweereza ak’Ekibiina. Bwe baba bakkirizza, foomu eza bulijjo ezikwata ku nteekateeka ey’okufuna magazini okuyitira mu poosita (M-1 ne M-101) ziyinza okukozesebwa.
Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kweyongera okuwa omukisa okufuba kwaffe okw’okulangirira Obwakabaka nga tweyambisa Omunaala gw’Omukuumi ne Awake!