Amaka Gayinza Gatya Okubeera Amanywevu mu by’Omwoyo?
1 Abo abali mu maka ag’Abakristaayo basiimibwa ‘olw’okwemalira ku Katonda.’ (1 Tim. 5:4, NW) Naye, olw’okuba twetooloddwa embeera embi eziyinza okunafuya okukkiriza kwaffe, kikulu nnyo ab’omu maka okufuba okusigala nga banywevu mu by’omwoyo. Kino bayinza kukikola batya?
2 Beera n’Obukulembeze ng’Obwa Kristo: Bassemaka balina okukoppa Yesu Kristo mu ngeri gye batuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okunyweza amaka gaabwe. Yesu okwagala kw’alina gye tuli teyakulaga kuyitira mu kuwaayo bulamu bwe nga ssaddaaka kyokka, wabula era yeeyongera ‘okuliisa n’okujjanjaba’ ekibiina. (Bef. 5:25-29) Abazadde abaagazi bagoberera ekyokulabirako kino eky’okwagala nga bafaayo ku byetaago by’ab’omu maka gaabwe eby’eby’omwoyo ebya buli lunaku. Kino kizingiramu okusoma Baibuli ng’amaka buli wiiki, okukubaganya ebirowoozo ku bintu by’omwoyo buli we kisobokera, n’okukola ku bizibu byonna ebibalukawo.—Ma. 6:6, 7.
3 Mu Buweereza bw’Ennimiro: Ab’omu maka bonna balina okutegeera nti okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, kintu kikulu nnyo mu kusinza kwabwe. (Is. 43:10-12) Abazadde bwe muba nga mwagala abaana bammwe babeere Abajulirwa ba Yakuwa abeesigwa, mulina okutandika nga bukyali okuteekateeka emitima gyabwe ku bikwata ku buweereza. Mukubaganye nabo ebirowoozo ku nsonga lwaki kyetaagisa okwefiiriza mu buweereza era n’okubwenyigiramu buli wiiki. (Mat. 22:37-39) Oluvannyuma, mukole enteekateeka okwenyigira wamu nabo mu buweereza bw’ennimiro obutayosa.
4 Mwongere okuyamba ab’omu maka gammwe okutegeera obukulu bw’okubuulira nga mutegekawo ekiseera mu kusoma kw’amaka okwa buli wiiki okuteekateeka n’okwegezaamu mu nnyanjula ennungi ez’okukozesa mu nnimiro. Mutendeke abaana bammwe mu buweereza, nga mu bayamba okukulaakulana okusinziira ku myaka gyabwe n’obusobozi bwabwe. Oluvannyuma lw’okubuulira wamu nabo, mu babuuze engeri bo bennyini gye balabyemu obulungi bwa Yakuwa. Mwogere ku bintu ebibaddewo ebinyweza okukkiriza. Amaka gye gakoma ‘okulega ku bulungi bwa Mukama waffe,’ gye gakoma n’okubeera okumpi ne Yakuwa, ekibayamba okuziyiza “obubi bwonna.”—1 Peet. 2:1-3.
5 Mu Nkuŋŋaana: Nga kiba kirungi nnyo ab’omu maka bwe bayambagana basobole okubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna, naddala omu ku bo bw’aba ng’akooye, aterebuse, oba ng’aweddemu amaanyi! Mwannyinaffe omuto yagamba: “Taata wange bw’akomawo okuva ku mulimu aba akooye. Naye mmubuulirako ekimu ku ebyo eby’omuganyulo ebinaayogerwako mu lukuŋŋaana akawungeezi ako, era kino kimuleetera okugenda mu lukuŋŋaana. Ate nange lwe mba mpulira nga nkooye, ankubiriza okugenda.”—Beb. 10:24, 25.
6 Okukolera Ebintu Awamu: Ab’omu maka balina okukolera ebintu awamu, gamba ng’emirimu gy’awaka. Wanditeekedwawo n’ebiseera okwesanyusaamu. Okukyalako mu bifo ebirala ng’amaka, okuzannya emizannyo n’okukyalira ab’eŋŋanda oba ab’emikwano, biyinza okubaviiramu essanyu lingi.—Mub. 3:4.
7 Amaka amanywevu ag’Abakristaayo, gavvuunuka ebizibu by’eby’omwoyo ebigajjira buli lunaku. Nga geeyongera okunyweza enkolagana yaago ne Yakuwa, gafuna amaanyi agava gy’ali.—Bef. 6:10.