Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Apuli ne Maayi: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bw’oddayo n’osanga ng’ayagala okuzisoma, muteeke ku lukalala lw’abo b’otwalira magazini buli mwezi. Mugabe brocuwa Atwetaagisa oba Mukwano gwa Katonda, n’ekigendererwa eky’okutandika okuyigiriza abantu Baibuli. Jjuuni: Katonda Atwetaagisa Ki? oba Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo. Abantu bwe baba ng’ebyo babirina, bawe brocuwa yonna etuukirawo eri mu kibiina. Jjulaayi: Emu ku brocuwa zino eziddirira ey’empapula 32 eyinza okukozesebwa: Ddala Katonda Afaayo gye Tuli?, Nyumirwa Obulamu ku Nsi Emirembe Gyonna!, “Look! I Am Making All Things New,” Should You Believe in the Trinity?, The Divine Name That Will Endure Forever, Gavumenti Eneereeta Olusuku lwa Katonda ku Nsi, Kiki Ekibaawo Bwe Tufa?, What Is the Purpose of Life—How Can You Find It?, ne When Someone You Love Dies. Brocuwa A Book for All People, Our Problems—Who Will Help Us Solve Them?, Emyoyo Gy’Abafu—Giyinza Okukuyamba oba Okutulumya? Ddala gye Giri?, ne Will There Ever Be a World Without War?, buyinza okugabibwa we kisaana.
◼ Kampeyini yaffe eya buli mwaka ey’okukola mu bitundu ebyesudde ewala ejja kubaawo mu mwezi gwa Jjulaayi ne Agusito. Ebibiina ebirina ebitundu ebyesudde bye byagala okukolamu biyinza okuwandiikira ofiisi nga Maayi 15, 2002 terunnatuuka. Ekibiina kyonna ekitaweereddwa kitundu ekyesudde eky’okubuuliramu, kiyinza okukola enteekateeka ez’okubuulira mu kitundu kyakyo ekitatera kubuulirwamu.
◼ Bubaagi obw’olukuŋŋaana lwa district olwa 2002 obuli mu Lungereza, Luswayiri, Olufalansa n’Oluganda, bujja kuweerezebwa wamu n’ebitabo. Tekijja kwetaagisa kubulagiriza. Okusinziira ku bunene bwa buli kibiina, bubaagi bujja kuweerezebwa mu buganda nga buli kaganda kalimu bubaagi 25. Bwe kiba nti waliwo ekibiina ekyetaaga bubaagi obulala, obwo bulina okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Obuntu obwa pulasitiki omuteekebwa bubaagi bwandiragiriziddwa buweebwe yenna abwetaaga ali mu kibiina.
◼ Kyetaagisa Sosayate okubeera n’Ebiwandiiko ebituufu eby’endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abakadde abakubiriza akakiiko k’abakadde n’ez’abawandiisi. Bwe wabaawo enkyukakyuka yonna, Akakiiko k’Obuweereza kandijuzizzaamu foomu eyitibwa Presiding Overseer/Secretary Change of Address (S-29), ne kagissaako emikono era ne kagiweereza eri Sosayate amangu ddala. Kino kitwaliramu enkyukakyuka mu ndagiriro n’ennamba y’essimu mu kitundu ekyo.
◼ Abawandiisi b’ekibiina basaanidde okubeera ne foomu ezimala Okusabirwa Okukola nga Payoniya owa Bulijjo (S-205), n’ezo Okusabirwa Okukola nga Payoniya Omuwagizi (S-205b). Zino ziyinza okusabibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Beera n’ezinaamala omwaka gwonna. Weekenneenye foomu okusabirwa okukola nga payoniya owa bulijjo okakase nti zijjuziddwamu bulungi. Bwe kiba nti abasabye okukola nga bapayoniya tebasobola kujjukira lunaku lwa mwezi lwe baabatizibwako, bandiruteeberezza era ne baluteeka mu buwandiike.
◼ Buli lw’okola enteekateeka ez’okutambulako nga zirimu okubeera mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu lukuŋŋaana lw’ekitundu, oba olwa district mu nsi endala, okusaba kwo okw’okutegeezebwa ebikwata ku nnaku z’omwezi, ebiseera, n’ekifo awanaabeera olukuŋŋaana kuteekwa okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu mu nsi eyo. Endagiriro z’amatabi ga ofiisi ziri ku lukalala oluli ku lupapula olusembayo ku kitabo Yearbook ekyakafulumizibwa.
◼ Ebitabo Ebippya Ebiriwo:
Watch Tower Publications Index 2001—Lungereza
◼ Kassetti za Vidiyo Empya Eziriwo:
Respect Jehovah’s Authority—On Videocassette—Olulimi lwa Bakiggala olw’Abamereka
The Greatest Man Who Ever Lived—On Videocassette, Omuzingo 7—Olulimi lwa Bakiggala olw’Abamereka
Warning Examples for Our Day—On Videocassette—Lungereza