LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 4/02 lup. 5-6
  • Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 4/02 lup. 5-6

Okwejjukanya Kw’essomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Okwejjukanya ebibadde mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda okuva mu wiiki eya Jjanwali 7 okutuuka nga Apuli 22, 2002. Kozesa olupapula olulala okuwandiikako eby’okuddamu mu bibuuzo bingi nga bw’osobola mu kiseera ekiweereddwa.

[Weetegereze: Mu kwejjukanya kuno, Baibuli yokka y’eyinza okukozesebwa mu kuddamu ebibuuzo. Ebitabo ebijuliziddwa oluvannyuma lw’ebibuuzo bya kweyambisibwa ng’onoonyereza. Olupapula n’akatundu The Watchtower w’ejulizibwa biyinza obutalagibwa.]

Bino ebiddirira ddamu nti Kituufu oba Kikyamu:

1. Mu Omubuulizi 2:2, ensonga Sulemaani gy’ayogerako eri nti enseko n’okusanyuka birina okwewalibwa. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w87 9/15 lup. 24 kat. 5.]

2. Mu kifo ky’okutwalibwa ng’ekitabo ekyogera ebintu ebitazzaamu maanyi, ekitabo ky’Omubuulizi kirimu amagezi ag’omuwendo ennyo agava eri Katonda era kiraga nti ebikolwa eby’omutawaana byebyo ebibuusisa Katonda amaaso. [si lup. 114 kat. 15]

3. Mu Isaaya 1:7, nnabbi ayogera ku kiseera Yuda lwe yalekebwa ttayo mu kiseera ky’obufuzi bwa Akazi. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 17 kat. 16.]

4. ‘Okuyimirira mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga,’ nga bwe kyogerwako mu Okubikkulirwa 7:9, kiraga nti bali mu ggulu. [rs lup. 167 kat. 5]

5. ‘Okuwa Yakuwa ekitiibwa’ n’ebintu byaffe, kwe kugamba, ebiseera byaffe, bye tusobola okukola, amaanyi gaffe n’eby’obugagga, kituviirako okufuna emikisa mingi okuva gy’ali. (Nge. 3:9, 10) [w00 1/15 lup. 25 kat. 1]

6. ‘Ekikolwa eky’ekitalo n’omulimu ogw’ekitalo’ eby’omu kiseera kyaffe ebyalagulwa mu Isaaya 28:21 bikwata ku kuzikirizibwa kw’amawanga ku Kalumagedoni. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 295 kat. 16; lup. 301 kat. 28.]

7. Nga bwe kiragibwa mu Matayo 24:38, 39, okwemalira ennyo ku by’okulya n’eby’okunywa, awamu n’ebintu ebirala, bye byaleetera abantu b’omu kiseera kya Nuuwa okuzikirizibwa Amataba. [w00 2/15 lup. 6 kat. 6]

8. Yakuwa bulijjo awa abaweereza be abamuweereza n’omutima gwonna bye bamusaba. [w00 3/1 lup. 4 kat. 3]

9. “Amawanga” agoogerwako mu Isaaya 60:3 ge mawanga kinnalimu agakkiriza ekitangaala kya Katonda. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w00 1/1 lup. 12 kat. 4.]

10. Yakuwa ‘yatukuza’ Yeremiya nga tannaba kuzaalibwa, mu ngeri nti Yali yateekateeka dda Yeremiya ky’alibeera emirembe gyonna. (Yer. 1:5) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w88-E 4/1 lup. 10 kat. 2.]

Ddamu ebibuuzo ebiddirira:

11. Mu Omubuulizi 11:1, ‘okusuula emmere’ kitegeeza ki? [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w87 9/15 lup. 25 kat. 11.]

12. Mu Isaaya 6:8, Yakuwa aba ayogera ku ani bw’akozesa ekigambo ‘anaatugendera ani? [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 emp. 93-4 kat. 13.]

13. Mu kutuukirizibwa kwa Isaaya 9:2, NW, “ekitangaala eky’amaanyi” kyayaka kitya mu Ggaliraaya? [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 126 kat. 17.]

14. Kiki mu kiseera kyaffe ekifaanagana n’okugwa kwa Babulooni mu 539 B.C.E., era n’okuzikirizibwa kwakyo? (Is. 13:19, 20; 14:22, 23) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 188 but. 30-1.]

15. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ akoze atya ‘ng’omukuumi’ ayogerwako mu Isaaya 21:6? (Mat. 24:45) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 emp. 221-2 kat. 11.]

16. Bigambo ki eby’amagezi ebisangibwa mu Engero 31:10 ebiweebwa omuvubuka anoonya omukyala ow’okuwasa? [w00 2/1 lup. 31 kat. 1]

17. Mu Isaaya 43:9, bakatonda b’amawanga basoomozebwa batya? [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w88-E 2/1 lup. 16 kat. 3.]

18. Mu ngeri ki ebigere by’abo abaleeta amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gye biri “ebirungi”? (Is. 52:7) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w97 4/15 lup. 27 kat. 6.]

19. Kiki kye twetaaga okukola okuziyiza omutima okutulimba? (Yer. 17:9) [w00 3/1 lup. 30 kat. 4]

20. Abo abatambulira mu ‘kkubo lya Yakuwa’ bateekwa kukola ki? (Yer. 7:23) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w99 8/15 lup. 29 kat. 6.]

Wa ekigambo oba ebigambo ebyetaagisa okumalayo mu bujjuvu ebigambo bino ebiddirira:

21. “Omutima gw’omugezigezi guba ku mukono gwe ogwa ddyo” mu ngeri nti “omukono ogwa ddyo” gutera okukiikirira ․․․․․․․․, bwe kityo, kino kiraga nti ․․․․․․․․, gwe gumuleetera okuluubirira ebirungi, ekkubo eddungi. (Mub. 10:2; Mat. 25:33) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w87 9/15 lup. 25 kat. 8.]

22. Mu by’okuyiga ebingi ebirungi ebiri mu kitabo ky’Oluyimba mwe muli․․․․․․․․,․․․․․․․․, ne ․․․․․․․․, eri emitindo gya Katonda. [si lup. 117 kat. 16]

23. Anyaga ebibuga bya Yuda ayogerwako mu Isaaya 33:1, ye ․․․․․․․․, naye yandibadde awangulwa mu 632 B.C.E., era n’alekera abantu b’omu ․․․․․․․․, omunyago mungi nnyo, gwe ‘bandikuŋŋaanyiza ng’obuwuka.’ (Is. 33:4) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 343 kat. 4; lup. 345 kat. 6.]

24. Okugeraageranya Isaaya 54:1 ne Abaggalatiya 4:26, 27 kulaga nti ‘omukazi omugumba’ akiikirira “․․․․․․․․”; ate ‘omukazi alina bba,’ ․․․․․․․․,. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w95-E 8/1 lup. 11 kat. 8.]

25. Bwe tuvuumibwa era ne tuziyizibwa nga tuli mu buweereza bwaffe, tusaanidde okujjukira nti okuziyizibwa ng’okwo kuba tekwolekezeddwa eri ․․․․․․․․, naye eri ․․․․․․․․, ensibuko y’obubaka bwaffe. (2 Kol. 4:1, 7) [w00 1/15 lup. 21 kat. 2]

Londako eky’okuddamu ekituufu mu bigambo ebiddirira:

26. Bwe yali awandiika ebikwata ku kwolesebwa kwe yafuna okukwata ku Yesu ng’ali mu kitiibwa kye eky’omu ggulu, Pawulo yeeyogerako ng’omwana omusowole,’ nga kitegeeza nti (yali ky’ajje azaalibwe omwoyo; yalondebwa mangu okuba omutume eri ab’amawanga; kyali kifaananako ng’aweereddwa ekitiibwa eky’okuzaalibwa, oba okuzuukira, mu bulamu obw’omwoyo ng’ekiseera tekinnatuuka). (1 Kol. 9:1; 15:8) [w00 1/15 lup. 29 kat. 6]

27. Ekitiibwa “Kitaffe Ataggwaawo” kikwata ku maanyi ga Masiya Kabaka n’obuyinza bwe obw’okuwa abantu (amaanyi mu by’omwoyo; obulamu obutayinza kuzikirizibwa mu ggulu; essuubi ery’obulamu obutaggwaawo ku nsi). (Is. 9:6; Yok. 11:25, 26) [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 lup. 131 kat. 26.]

28. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Isaaya 66:7 okw’omu kiseera kino, “omwana ow’obulenzi” eyazaalibwa akiikirira (Yesu Kristo; Obwakabaka bwa Masiya; eggwanga eppya mu 1919). [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w95-E 1/1 lup. 11 kat. 3.]

29. Okusoma n’obwegendereza Matayo 10:28 kutuyamba okutegeera nti Ggeyeena (kye kifo eky’okubonyaabonya; kikiikirira okuzikirizibwa okw’emirembe gyonna; kikiikirira okwawulibwa ku Katonda). [rs lup. 173 kat. 3]

30. Mu kutuukirizibwa kw’omu kiseera kino, ‘eggwanga eritawulidde ddoboozi lya Yakuwa,’ eryogerwako mu Yeremiya 7:28, lye (Babulooni Ekinene; Kristendomu; ensi kirimaanyi ey’omusanvu). [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w88-E 4/1 lup. 18 kat. 10.]

Kwataganya ebyawandiikibwa ebiddirira n’ebigambo ebiweereddwa wammanga:

Nge. 24:16; Mub. 3:11; Is. 40:8; Bar. 10:15; 1 Peet. 4:6

31. Ekiseera bwe kinaaba kituuse, Katonda ajja kubikkula buli kintu bwe kirina okukolebwa mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kye. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba w87 9/15 lup. 24 kat. 8.]

32. Okubuulira abafudde mu by’omwoyo amawulire amalungi kibawa omukisa okwenenya. [rs lup. 163 kat. 5]

33. Wadde ng’ebizibu ebituleetera okuddirira mu bulamu tebiyinza kwewalika, omuntu atya Katonda talekaayo kukola birungi. [w00 2/1 lup. 5 kat. 1]

34. Ekigambo kya Katonda, oba ekigendererwa kye tebisobola kulemesebwa kutuukirira. [Okusoma Baibuli okwa buli wiiki; laba ip-1 emp. 401-2 kat. 10.]

35. Abatume ba Yesu baakozesa bulungi obunnabbi bwa Isaaya mu buweereza bwabwe. [si lup. 123 kat. 37]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza