Enteekateeka Y’essomero Ly’obuweereza Bwa Teyokulase Eya 2001
ENDAGIRIRO
Mu 2001 eno y’ejja okuba enteekateeka mu kukubiriza Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase.
AWASIBUKA EMBOOZI: New World Translation of the Holy Scriptures [bi12], The Watchtower [w], “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial” (Ekya 1990) [si], ne Reasoning From the Scriptures [rs] bye bijja okusibukamu emboozi.
Essomero lirina okutandika MU KISEERA n’oluyimba, okusaba, n’ebigambo ebitonotono ebyaniriza. Tekyetaagisa okusooka okuttottola ebiri ku programu. Ng’omulabirizi w’essomero ayanjula buli kitundu, ajja kwogera omutwe ogugenda okwogerwako. Mugoberere enkola eno wammanga:
EMBOOZI 1: Ddakiika 15. Erina kuweebwa mukadde oba muweereza, era ejja kuggibwa mu The Watchtower oba “All Scripture Is Inspired of God and Beneficial.” Bw’eba eggiddwa mu The Watchtower, erina kuweebwa mu ddakiika 15 era tebaako bibuuzo bya kwejjukanya; bw’eggibwa mu kitabo “All Scripture,” erina kuweebwa mu ddakiika eziri wakati wa 10 ne 12, ate oluvannyuma wabeewo okwejjukanya kwa ddakiika eziri wakati wa 3 okutuuka ku 5, ng’akozesa ebibuuzo ebiri mu kitabo. Ekigendererwa si kwogera ku byonna ebiri mu kitundu naye okulaga omuganyulo gw’ebyo ebyogerwako, ng’oggumiza ebyo ebinaasinga okuyamba ekibiina. Omutwe oguweereddwa gwe gulina okukozesebwa.
Ab’oluganda abaweebwa okwogera kuno balina okwegendereza obutasussa ekiseera ekibaweereddwa. Okuwabulibwa okw’omu kyama kuyinza okuweebwa bwe kiba kyetaagisa oba bwe kuba kusabiddwa omwogezi.
EBIKULU EBIBA MU KUSOMA BAIBULI: Ddakiika 6. Bino birina kuweebwa mukadde oba muweereza ajja okukwataganya ebisomeddwa n’ebyetaago by’ekibiina. Tekyetaagisa kuba na mutwe. Tekwandibadde kuwumbawumbako buwumbi kitundu ekisomeddwa. Okumala obutikitiki obuli wakati wa 30 ne 60 ebikwata ku ssuula zonna ezisomeddwa biyinza okwogerwako. Kyokka, ekigendererwa ekikulu kwe kuyamba abawuliriza okutegeera lwaki era mu ngeri ki ebisomeddwa gye bitugasaamu. Oluvannyuma omulabirizi w’essomero ajja kusaba abayizi bagende mu bibiina eby’enjawulo.
EMBOOZI 2: Ddakiika 5. Kuno kubeera kusoma kitundu ekiragiddwa okuva mu Baibuli okukolebwa ow’oluganda, kibeere nti omuyizi ali mu ssomero ekkulu oba mu kibiina ekitono ekiri mu kisenge ekirala. Ekitundu ekisomwa kitera kuba kimpi ne kisobozesa abayizi okubaako ebitonotono bye boogera mu nnyanjula era nga bafundikira. Ebyafaayo byakyo, amakulu ag’obunnabbi oba enjigiriza enkulu ezikirimu, era n’engeri y’okukozesaamu emisingi egirimu biyinza okulagibwa. Ennyiriri zonna eziweereddwa zirina okusomebwa. Kya lwatu, ennyiriri ez’okusomwa bwe ziba teziddiŋŋana, omuyizi ayinza okwogera olunyiriri olwo lw’agenda okuzzaako.
EMBOOZI 3: Ddakiika 5. Ya kuweebwa mwannyinaffe. Omutwe ogw’emboozi eno gujja kwesigamizibwa ku Reasoning From the Scriptures. Embeera eweerwamu emboozi eyinza okuba okuwa obujulirwa obw’embagirawo, okuddiŋŋana, okuyigiriza omuntu Baibuli awaka, era abali mu mboozi bayinza okutuula oba okuyimirira. Omulabirizi w’essomero okusingira ddala ajja kwagala okulaba engeri omuyizi gy’akulaakulanyamu omutwe oguweereddwa era n’engeri gy’ayambamu nnyinimu okutegeera ebyawandiikibwa. Omuyizi aweebwa emboozi eno ateekwa okuba amanyi okusoma. Omulabirizi w’essomero ajja kulonda omuyambi omu, naye omuyambi ow’okubiri ayinza okukozesebwa. Okukozesa obulungi Baibuli kwe kulina okuteekebwako essira so si mbeera eweerwamu emboozi.
EMBOOZI 4: Ddakiika 5. Omutwe gw’emboozi eno gujja kwesigamizibwa ku Reasoning From the Scriptures. Ow’oluganda oba mwannyinaffe ayinza okuweebwa Emboozi 4. Bw’eweebwa ow’oluganda, kulina kuba kwogera. Bw’eweebwa mwannyinaffe, erina kuweebwa mu ngeri eragiddwa ku Mboozi 3.
ENTEEKATEEKA Y’OKUSOMA BAIBULI: Buli omu mu kibiina akubirizibwa okugoberera enteekateeka ey’okusoma Baibuli eya wiiki, nga kino kiba kitegeeza okusoma olupapula nga lumu buli wiiki.
WEETEGEREZE: Okumanya ebisingawo ebikwata ku kuwabulwa, okukuuma ebiseera, okwejjukanya okuli mu buwandiike, n’okuteekateeka emboozi, laba olupapula 3 olwa Our Kingdom Ministry aka Okitobba 1996.
Jan. 1 Okusoma Baibuli: 2 Bassekabaka 13-16
Oluyimba 62
Na. 1: Okusonyiwa Kusobozesa Obulokozi Okubaawo (w99 1/1 emp. 30-1)
Na. 2: 2 Bassekabaka 14:1-14
Na. 3: Okuggyamu Olubuto—Lwaki Kigaanibwa? (rs emp. 25-6 kat. 4)
Na. 4: Okwanukula Omuntu Agamba Nti: ‘Nnina Eddembe Okwesalirawo Ebikwata ku Mubiri Gwange’ (rs lup. 26 kat. 5)
Jan. 8 Okusoma Baibuli: 2 Bassekabaka 17-20
Oluyimba 116
Na. 1: Okubuulirirwa Okwangu Okukkiriza (w99 1/15 emp. 21-4)
Na. 2: 2 Bassekabaka 18:1-16
Na. 3: Adamu ne Kaawa—Bantu Abaaliwo Ddala mu Byafaayo? (rs emp. 27-8 kat. 5)
Na. 4: Okwanukula Omuntu Agamba nti: ‘Ekibi kya Adamu Yali Nteekateeka ya Katonda’ (rs lup. 29 but. 1-2)
Jan. 15 Okusoma Baibuli: 2 Bassekabaka 21-25
Oluyimba 61
Na. 1: 2 Bassekabaka—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 74 but. 33-6)
Na. 2: 2 Bassekabaka 21:1-16
Na. 3: Lwaki Okusinza Bajjajja Abaafa Tekiriimu Muganyulo? (rs emp. 29-31 kat. 3)
Na. 4: Ensonga Lwaki Okusinza Bajjajja Abaafa Tekisanyusa Yakuwa Katonda (rs lup. 31 kat. 4–lup. 32 kat. 1)
Jan. 22 Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 1-5
Oluyimba 16
Na. 1: Ennyanjula ku 1 Ebyomumirembe (si emp. 75-6 but. 1-7)
Na. 2: 1 Ebyomumirembe 1:1-27
Na. 3: Abawakanya Kristo Be Baani? (rs emp. 32-3)
Na. 4: Okwawulawo Bakyewaggula (rs emp. 34-6 kat. 1)
Jan. 29 Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 6-10
Oluyimba 73
Na. 1: Engeri Obwetoowaze Obw’Amazima Gye Buyinza Okulagibwamu (w99 2/1 emp. 6-7)
Na. 2: 1 Ebyomumirembe 9:1-21
Na. 3: Twandibadde na Ndowooza Ki ku Bakyewaggula? (rs lup. 36 kat. 2–lup. 37 kat. 2)
Na. 4: Kristo Teyazimba Kkanisa ku Peetero (rs emp. 37-9 kat. 3)
Feb. 5 Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 11-16
Oluyimba 65
Na. 1: Beera Nsibuko y’Okuzzaamu Amaanyi (w99 2/15 emp. 26-9)
Na. 2: 1 Ebyomumirembe 11:1-19
Na. 3: Bisumuluzo Ki Peetero Bye Yakozesa? (rs lup. 39 kat. 4–lup. 41 kat. 5)
Na. 4: Abo Abatwalibwa ng’Abasika b’Abatume Tebaali Bakristaayo ba Mazima (rs lup. 42 kat. 1–lup. 44 kat. 3)
Feb. 12 Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 17-23
Oluyimba 122
Na. 1: Weesibe Obuwombeefu (w99 3/1 emp. 30-1)
Na. 2: 1 Ebyomumirembe 18:1-17
Na. 3: Kalumagedoni Alirwanirwa Wa? (rs emp. 44-6 kat. 3)
Na. 4: Baani era Biki Ebirizikirizibwa ku Kalumagedoni? (rs lup. 46 kat. 4–lup. 47 kat. 2)
Feb. 19 Okusoma Baibuli: 1 Ebyomumirembe 24-29
Oluyimba 119
Na. 1: 1 Ebyomumirembe—Lwaki kya Muganyulo (si emp. 78-9 but. 22-5)
Na. 2: 1 Ebyomumirembe 29:1-13
Na. 3: Baani Abaliwonawo ku Kalumagedoni? (rs lup. 47 but. 3-8)
Na. 4: Kalumagedoni—Tamenyawo Kwagala kwa Katonda (rs lup. 48 but. 1-3)
Feb. 26 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 1-5
Oluyimba 168
Na. 1: Ennyanjula ku 2 Ebyomumirembe (si emp. 79-80 but. 1-6)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 1:1-17
Na. 3: Obutabaako Ludda Lwonna lw’Owagira Kiriba Tekisoboka ku Kalumagedoni (rs lup. 48 but. 4-7)
Na. 4: Baani Abasindiikiriza Amawanga eri Kalumagedoni? (rs lup. 48 kat. 8–lup. 49 kat. 1)
Mak. 5 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 6-9
Oluyimba 103
Na. 1: Tobuutikirwa Kweraliikirira (w99 3/15 emp. 21-3)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 8:1-16
Na. 3: Okwawulawo Babulooni Ekyogerwako mu Kubikkulirwa (rs lup. 49 but. 2-3)
Na. 4: Kiki Ekimanyiddwa Ennyo ku Babulooni eky’Edda? (rs lup. 50 kat. 1–lup. 51 kat. 5)
Mak. 12 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 10-15
Oluyimba 59
Na. 1: Ani Afuga Endowooza Yo? (w99-LU 4/1 emp. 30-2)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 10:1-16
Na. 3: Ensonga Lwaki Amadiini Ageeyita ag’Ekikristaayo Kitundu kya Babulooni Ekinene (rs lup. 52 kat. 1–lup. 53 kat. 1)
Na. 4: Ensonga Lwaki Kyetaagisa Okufuluma Babulooni Ekinene mu Bwangu (rs lup. 53 but. 2-7)
Mak. 19 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 16-20
Oluyimba 69
Na. 1: Kuuma Omutima Gwo Okuva ku Mwoyo gw’Ensinza ya Baali (w99 4/1 emp. 28-31)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 16:1-14
Na. 3: Okubatizibwa Kye Kutegeeza, n’Ensonga Lwaki Abakkiriza Babatizibwa (rs lup. 54 but. 1-4)
Na. 4: Okubatizibwa kw’Ekikristaayo—Si Kumansira Mazzi, Si Kubatiza Bwana Buto (rs lup. 54 kat. 5–lup. 55 kat. 4)
Mak. 26 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 21-25
Oluyimba 212
Na. 1: Tolonzalonza Kwoleka Kusiima (w99 4/15 emp. 15-17)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 22:1-12
Na. 3: Okubatiza mu Mazzi Si Kwe Kuvaako Okusonyiyibwa Ebibi (rs lup. 55 kat. 5–lup. 56 kat. 1)
Na. 4: Baani Ababatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu? (rs lup. 56 kat. 2–lup. 57 kat. 3)
Apu. 2 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 26-29
Oluyimba 49
Na. 1: Katonda Akozesa Amakubo ‘Amakyamu’? (w99 5/1 emp. 28-9)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 28:1-15
Na. 3: Okubatizibwa n’Omuliro Si Kye Kimu n’Okubatizibwa n’Omwoyo Omutukuvu (rs lup. 57 kat. 4–lup. 58 kat. 2)
Na. 4: Ensonga Lwaki Tusaanidde Okwekenneenya Baibuli (rs emp. 58-60 kat. 2)
Apu. 9 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 30-33
Na. 1: Abantu Bayinza Batya Okutendereza Yakuwa Katonda? (w99 5/15 emp. 21-4)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 33:1-13
Na. 3: Obukakafu Okuva mu Isaaya ne Yeremiya Obulaga Nti Baibuli Yaluŋŋamizibwa (rs lup. 60 kat. 3–lup. 61 kat. 3)
Na. 4: Okutuukirizibwa kw’Obunnabbi bwa Yesu Kulaga Nti Baibuli Yaluŋŋamizibwa (rs lup. 61 kat. 4–lup. 62 kat. 1)
Apu. 16 Okusoma Baibuli: 2 Ebyomumirembe 34-36
Oluyimba 144
Na. 1: 2 Ebyomumirembe—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 84 but. 34-6)
Na. 2: 2 Ebyomumirembe 36:1-16
Na. 3: Baibuli By’Eyogera Ebikwata ku Sayansi Bituufu (rs lup. 62 kat. 2–lup. 64 kat. 3)
Na. 4: Okwanukula Abawakanya Baibuli (rs lup. 64 kat. 4–lup. 68 kat. 1)
Apu. 23 Okusoma Baibuli: Ezera 1-6
Oluyimba 90
Na. 1: Ennyanjula ku Ezera ne Lwaki kya Muganyulo (si lup. 85 but. 1-7; lup. 87 but. 14-18)
Na. 2: Ezera 4:1-16
Na. 3: Lwaki Abakristaayo Tebakuza Mazaalibwa? (rs emp. 68-70 kat. 2)
Na. 4: Lwaki Abakristaayo Beewala Omusaayi? (rs emp. 70-2 kat. 3)
Apu. 30 Okwejjukanya Okuli mu Buwandiike. Okusoma Baibuli: Ezera 7-10
Oluyimba 203
May. 7 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 1-5
Oluyimba 56
Na. 1: Ennyanjula ku Nekkemiya (si lup. 88 but. 1-5)
Na. 2: Nekkemiya 1:1-11
Na. 3: Lwaki Abakristaayo Tebakkiriza Kuyingizibwamu Musaayi? (rs lup. 72 kat. 4–lup. 73 kat. 4)
Na. 4: aOkwanukula Ebikwata ku ky’Okuyingizibwamu Omusaayi (rs lup. 74 kat. 1–lup. 76 kat. 2)
May. 14 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 6-9
Oluyimba 155
Na. 1: Ekibiina Ekikristaayo Nsibuko y’Obuyambi Obuzzaamu Amaanyi (w99 5/15 emp. 25-8)
Na. 2: Nekkemiya 9:1-15
Na. 3: Kitegeeza Ki Okuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri? (rs emp. 76-7 kat. 7)
Na. 4: Obulokozi Tebwesigamye ku ‘Kuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri’ (rs lup. 77 kat. 8–lup. 79 kat. 1)
May. 21 Okusoma Baibuli: Nekkemiya 10-13
Oluyimba 46
Na. 1: Nekkemiya—Lwaki kya Muganyulo (si emp. 90-1 but. 16-19)
Na. 2: Nekkemiya 12:27-43
Na. 3: bOkwanukula Ebikwata ku Kuzaalibwa Omulundi ogw’Okubiri (rs lup. 79 kat. 3–lup. 80 kat. 2)
Na. 4: Okwatula Ebibi eri Abasasseroddooti—Lwaki Kikontana n’Ebyawandiikibwa? (rs emp. 80-1 kat. 9)
May. 28 Okusoma Baibuli: Eseza 1-4
Oluyimba 38
Na. 1: Ennyanjula ku Eseza (si emp. 91-2 but. 1-6)
Na. 2: Eseza 1:1-15
Na. 3: Okwatula Ebibi mu Maaso ga Katonda n’Abantu (rs lup. 83 but. 2-8)
Na. 4: Lwaki Ebibi Eby’Amaanyi Bisaanidde Okwatulwa eri Abakadde? (rs lup. 83 kat. 9–lup. 84 kat. 4)
Jun. 4 Okusoma Baibuli: Eseza 5-10
Oluyimba 37
Na. 1: Eseza—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 94 but. 16-18)
Na. 2: Eseza 5:1-14
Na. 3: Lwaki kya Magezi Okukkiririza mu Kutondebwa? (rs emp. 84-6 kat. 2)
Na. 4: Okutegeera Baibuli ky’Eyogera ku Kutondebwa (rs lup. 86 kat. 3–lup. 88 kat. 4)
Jun. 11 Okusoma Baibuli: Yobu 1-7
Oluyimba 84
Na. 1: Ennyanjula ku Yobu (si emp. 95-6 but. 1-6)
Na. 2: Yobu 1:6-22
Na. 3: Lwaki Okusinza Omusaalaba Kikontana n’Ebyawandiikibwa? (rs lup. 92 kat. 1–lup. 93 kat. 1)
Na. 4: Lwaki Abantu Bafa? (rs emp. 98-9 kat. 6)
Jun. 18 Okusoma Baibuli: Yobu 8-14
Oluyimba 192
Na. 1: Sawulo—Ekibya Ekironde eri Mukama Waffe (w99 5/15 emp. 29-31)
Na. 2: Yobu 8:1-22
Na. 3: Abafu Bali Ludda Wa, era Bali mu Mbeera Ki? (rs lup. 99 kat. 7–lup. 101 kat. 4)
Na. 4: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebenyigira mu Mikolo gy’Obuwangwa egy’Okukungubaga? (rs lup. 102 kat. 1–lup. 103 kat. 2)
Jun. 25 Okusoma Baibuli: Yobu 15-21
Oluyimba 81
Na. 1: Katonda Talwisa Kye Yasuubiza (w99 6/1 emp. 4-7)
Na. 2: Yobu 17:1-16
Na. 3: cOkwanukula Abalina Endowooza Enkyamu ku Kufa (rs lup. 103 kat. 3–lup. 104 kat. 1)
Na. 4: Ebirooto: Ebyaluŋŋamizibwa n’Ebitaluŋŋamiziddwa (rs emp. 104-6 kat. 3)
Jul. 2 Okusoma Baibuli: Yobu 22-29
Oluyimba 173
Na. 1: Wandigaziyizza Endowooza Yo? (w99 6/15 emp. 10-13)
Na. 2: Yobu 27:1-23
Na. 3: Amalagala—Lwe Gagaanibwa Abakristaayo (rs emp. 106-8 kat. 1)
Na. 4: Ensonga Lwaki Abakristaayo Beewala Enjaga (rs lup. 108 kat. 2–lup. 109 kat. 2)
Jul. 9 Okusoma Baibuli: Yobu 30-35
Oluyimba 108
Na. 1: Ensonga Lwaki Oyinza Okwesiga Obunnabbi bwa Baibuli (w99 7/15 emp. 4-8)
Na. 2: Yobu 31:1-22
Na. 3: Lwaki Abakristaayo Beewala Ttaaba? (rs lup. 109 kat. 3–lup. 111 kat. 3)
Na. 4: Okulekayo Emize Emibi—Otya? (rs lup. 111 kat. 4–lup. 112 kat. 3)
Jul. 16 Okusoma Baibuli: Yobu 36-42
Oluyimba 160
Na. 1: Yobu—Lwaki kya Muganyulo (si lup. 100 but. 39-43)
Na. 2: Yobu 36:1-22
Na. 3: Amawanga Tegajja Kulemesa Kigendererwa kya Katonda eri Ensi (rs emp. 112-13 kat. 5)
Na. 4: Yakuwa Alizikiriza Ensi ng’Akozesa Omuliro? (rs lup. 113 kat. 6–lup. 115 kat. 1)
Jul. 23 Okusoma Baibuli: Zabbuli 1-10
Na. 1: Ennyanjula ku Zabbuli—Ekitundu 1 (si lup. 101 but. 1-5)
Na. 2: Zabbuli 3:1–4:8
Na. 3: Aba Yerusaalemi Ekiggya Si ba Kudda ku Nsi Oluvannyuma lw’Ababi Okuzikirizibwa (rs lup. 115 kat. 2–lup. 116 kat. 1)
Na. 4: Ekigendererwa kya Katonda Ekyasooka eri Ensi Kyakyuka? (rs lup. 116 kat. 2–lup. 117 kat. 2)
Jul. 30 Okusoma Baibuli: Zabbuli 11-18
Oluyimba 48
Na. 1: Ennyanjula ku Zabbuli—Ekitundu 2 (si lup. 102 but. 6-11)
Na. 2: Zabbuli 11:1–13:6
Na. 3: Tuyinza Tutya Okuzzaamu Amaanyi Abalwadde? (rs emp. 117-18 kat. 1)
Na. 4: Tuyinza Tutya Okuzzaamu Amaanyi Abafiiriddwa (rs lup. 118 but. 2-6)
Agu. 6 Okusoma Baibuli: Zabbuli 19-26
Oluyimba 117
Na. 1: Empuliziganya Ennungi—Ereetawo Obufumbo Obulungi (w99 7/15 emp. 21-3)
Na. 2: Zabbuli 20:1–21:13
Na. 3: Okuzzaamu Amaanyi Abo Abayigganyizibwa olw’Okukola Katonda By’Ayagala (rs lup. 118 kat. 7–lup. 119 kat. 4)
Na. 4: Oyinza Otya Okuzzaamu Amaanyi Abaterebuse olw’Obutali Bwenkanya? (rs lup. 119 kat. 5–lup. 120 kat. 2)
Agu. 13 Okusoma Baibuli: Zabbuli 27-34
Oluyimba 130
Na. 1: Firipo—Omubuulizi w’Amawulire Amalungi Omunyiikivu (w99 7/15 emp. 24-5)
Na. 2: Zabbuli 28:1–29:11
Na. 3: Abanyigirizibwa Ebizibu by’Eby’Enfuna Bazzibwamu Batya Amaanyi? (rs lup. 120 but. 3-7)
Na. 4: Okuzzaamu Amaanyi Abo Abaterebuse olw’Obunafu Bwabwe (rs lup. 120 kat. 8–lup. 121 kat. 3)
Agu. 20 Okusoma Baibuli: Zabbuli 35-39
Oluyimba 18
Na. 1: Okupikirizibwa Abalala—Osobola Okukuganyulwamu? (w99 8/1 emp. 22-5)
Na. 2: Zabbuli 38:1-22
Na. 3: Enzikiriza Ewakanya eky’Okutondebwa—Tekwatagana na Sayansi (rs emp. 121-3 kat. 1)
Na. 4: Okuwakanya eky’Okutondebwa, Ebisimiddwa mu Ttaka Kye Biraga, era n’Okukozesa Amagezi (rs lup. 123 kat. 2–lup. 126 kat. 2)
Agu. 27 Okwejjukanya Okuli mu Buwandiike. Okusoma Baibuli: Zabbuli 40-47
Oluyimba 91
Seb. 3 Okusoma Baibuli: Zabbuli 48-55
Oluyimba 36
Na. 1: Tokkiriza Busungu Kukwesittaza (w99 8/15 emp. 8-9)
Na. 2: Zabbuli 49:1-20
Na. 3: dOkwanukula Ebyogerwa Abawakanya eky’Okutondebwa (rs lup. 126 kat. 3–lup. 128 kat. 3)
Na. 4: Lwaki Abantu Bangi Tebalina Kukkiriza? (rs emp. 129-30 kat. 2)
Seb. 10 Okusoma Baibuli: Zabbuli 56-65
Oluyimba 44
Na. 1: Omulyolyomi y’Atuleetera Okulwala? (w99 9/1 emp. 4-7)
Na. 2: Zabbuli 59:1-17
Na. 3: Omuntu Afuna Atya Okukkiriza? (rs lup. 130 kat. 3–lup. 131 kat. 3)
Na. 4: Okukkiririza mu Ssuubi ery’Embeera Empya ez’Obutuukirivu Kukakasibwa na Bikolwa (rs lup. 131 kat. 5–lup. 132 kat. 2)
Seb. 17 Okusoma Baibuli: Zabbuli 66-71
Oluyimba 210
Na. 1: Londawo ‘Omugabo Omulungi’ (w99 9/1 emp. 30-1)
Na. 2: Zabbuli 69:1-19
Na. 3: Bannabbi ab’Obulimba Bayinza Batya Okumanyibwa? (rs emp. 132-4 kat. 2)
Na. 4: Bannabbi ab’Amazima Tebaamanyanga Buli Kiseera Ngeri Ki era Ddi Ebintu Ebyalagulwa Gye Byandituukiriziddwamu (rs lup. 134 but. 3-8)
Seb. 24 Okusoma Baibuli: Zabbuli 72-77
Oluyimba 217
Na. 1: Lwaki Osaanidde Okutuukiriza by’Osuubiza? (w99 9/15 emp. 8-11)
Na. 2: Zabbuli 73:1-24
Na. 3: Ebirangiriro bya Nnabbi ow’Amazima Bitumbula Okusinza okw’Amazima (rs lup. 135 but. 1-2)
Na. 4: Bannabbi ab’Amazima Bategeererwa ku Bibala Byabwe (rs lup. 135 kat. 3–lup. 137 kat. 1)
Okit. 1 Okusoma Baibuli: Zabbuli 78-81
Oluyimba 88
Na. 1: Funa Amagezi, era Kkiriza Okukangavvula (w99 9/15 emp. 12-15)
Na. 2: Zabbuli 78:1-22
Na. 3: Okwanukula Abo Abatuyita Bannabbi Ab’Obulimba (rs lup. 137 but. 2-4)
Na. 4: Katonda Tategekera Buli Muntu Kiseera ky’Alifiirako (rs lup. 138 but. 1-3)
Okit. 8 Okusoma Baibuli: Zabbuli 82-89
Oluyimba 221
Na. 1: Timoseewo—‘Omwana owa Nnamaddala mu Kukkiriza’ (w99 9/15 emp. 29-31)
Na. 2: Zabbuli 88:1-18
Na. 3: Buli Kimu Tekibaawo lwa Kusiima kwa Katonda (rs lup. 139 kat. 1–lup. 140 kat. 2)
Na. 4: Katonda Tamanya era Tategeka Buli Kimu Ekibaawo nga Tekinnabaawo (rs lup. 140 but. 3-5)
Okit. 15 Okusoma Baibuli: Zabbuli 90-98
Oluyimba 134
Na. 1: Okufuna Amaanyi Okwesamba Obubi (w99 10/1 emp. 28-31)
Na. 2: Zabbuli 90:1-17
Na. 3: Obusobozi bwa Katonda Okumanya n’Okutegeka Ebintu nga Tebinnabaawo (rs lup. 141 but. 1-4)
Na. 4: Lwaki Katonda Teyakozesa Busobozi Bwe obw’Okumanya Ebitannabaawo ku Adamu (rs lup. 142 but. 1-3)
Okit. 22 Okusoma Baibuli: Zabbuli 99-105
Oluyimba 89
Na. 1: Okuyiga Ekkubo ly’Okwagala Erisinga Gonna (w99 10/15 emp. 8-11)
Na. 2: Zabbuli 103:1-22
Na. 3: Katonda Teyateekateeka Ebirituuka ku Yakobo, Esawu, oba Yuda (rs lup. 142 kat. 4–lup. 143 kat. 2)
Na. 4: Mu Ngeri Ki Ekibiina Ekikristaayo Gye Kyategekebwamu nga Tekinnabaawo? (rs lup. 143 kat. 3–lup. 144 kat. 1)
Okit. 29 Okusoma Baibuli: Zabbuli 106-109
Oluyimba 214
Na. 1: ‘Yakuwa Kennyini y’Awa Amagezi’ (w99 11/15 emp. 24-7)
Na. 2: Zabbuli 107:1-19
Na. 3: Ebyawandiikibwa Bitunuulira Bitya Okulaguzisa Emmunyeenye? (rs lup. 144 kat. 2–lup. 145 kat. 2)
Na. 4: Nsonga Ki Ennywevu Ezandituleetedde Okukkiririza mu Katonda? (rs emp. 145-6 kat. 5)
Nov. 5 Okusoma Baibuli: Zabbuli 110-118
Oluyimba 14
Na. 1: Obubaka Obuli mu Kubikkulirwa—Osaanidde Kubutya oba Kubwesunga? (w99-LU 12/1 emp. 5-8)
Na. 2: Zabbuli 112:1–113:9
Na. 3: Obubi n’Okubonaabona Tebiraga Nti Tewali Katonda (rs lup. 146 kat. 6–lup. 147 kat. 1)
Na. 4: Katonda Muntu Yennyini Alina Enneewulira (rs lup. 147 kat. 2–lup. 148 kat. 3)
Nov. 12 Okusoma Baibuli: Zabbuli 119
Oluyimba 35
Na. 1: Tokkiriza Busobozi Bw’Olina Okukufuukira Obunafu (w99 12/1 emp. 26-9)
Na. 2: Zabbuli 119:1-24
Na. 3: Katonda Talina Ntandikwa (rs lup. 148 but. 4-7)
Na. 4: Kyetaagisa Okukozesa Erinnya lya Katonda Okusobola Okufuna Obulokozi (rs lup. 149 but. 1-4)
Nov. 19 Okusoma Baibuli: Zabbuli 120-137
Oluyimba 175
Na. 1: Zabbuli—Lwaki kya Muganyulo—Ekitundu 1 (si emp. 104-5 but. 23-7)
Na. 2: Zabbuli 120:1–122:9
Na. 3: Eddiini Zonna Nnungi? (rs lup. 149 but. 5-8)
Na. 4: Yesu “Katonda” mu Ngeri Ki? (rs lup. 150 but. 1-2)
Nov. 26 Okusoma Baibuli: Zabbuli 138-150
Oluyimba 135
Na. 1: Zabbuli—Lwaki kya Muganyulo—Ekitundu 2 (si emp. 105-6 but. 28-32)
Na. 2: Zabbuli 139:1-24
Na. 3: eOkwanukula Abawakanya Okukkiririza mu Katonda (rs lup. 150 kat. 3–lup. 151 kat. 3)
Na. 4: Ensonga Lwaki Abantu Tebasobodde Kuteekawo Gavumenti ey’Obwenkanya (rs emp. 152-3 kat. 1)
Des. 3 Okusoma Baibuli: Engero 1-7
Oluyimba 132
Na. 1: Ennyanjula ku Engero—Ekitundu 1 (si emp. 106-7 but. 1-5)
Na. 2: Engero 4:1-27
Na. 3: Ensonga Lwaki Abantu Tebasobola Kumalawo Bizibu (rs lup. 153 kat. 2–lup. 154 kat. 2)
Na. 4: Obwakabaka bwa Katonda Bwe Bwokka Obunaagonjoola Ebizibu by’Abantu (rs lup. 154 kat. 3–lup. 155 kat. 1)
Des. 10 Okusoma Baibuli: Engero 8-13
Oluyimba 51
Na. 1: Ennyanjula ku Engero—Ekitundu 2 (si emp. 107-8 but. 6-11)
Na. 2: Engero 13:1-25
Na. 3: Obunnabbi bwa Baibuli Bweraze Okuba Obwesigikira Ddala (rs lup. 155 but. 2-5)
Na. 4: Okuwonyezebwa okw’Ebyamagero Okuliwo Leero Tekukolebwa Mwoyo gwa Katonda (rs emp. 156-7 kat. 3)
Des. 17 Okusoma Baibuli: Engero 14-19
Oluyimba 111
Na. 1: Engero—Lwaki kya Muganyulo—Ekitundu 1 (si emp. 109-10 but. 19-28)
Na. 2: Engero 16:1-25
Na. 3: Enjawulo Wakati w’Okuwonya kwa Yesu n’Abatume Be n’Okwo Okuliwo Leero (rs lup. 157 kat. 4–lup. 158 kat. 2)
Na. 4: Engeri Abakristaayo Ab’Amazima Gye Baawulibwawo Leero (rs lup. 158 kat. 3–lup. 159 kat. 1)
Des. 24 Okusoma Baibuli: Engero 20-25
Oluyimba 9
Na. 1: Engero—Lwaki kya Muganyulo—Ekitundu 2 (si emp. 110-11 but. 29-38)
Na. 2: Engero 20:1-30
Na. 3: Lwaki Ebirabo eby’Okuwonya Byaweebwa mu Kyasa Ekyasooka (rs lup. 159 kat. 2–lup. 160 kat. 2)
Na. 4: Ssuubi Ki Eririwo ku Bikwata ku Kuwonyezebwa kw’Abantu Bonna Okwa Nnamaddala? (rs lup. 160 but. 3-5)
Des. 31 Okwejjukanya Okuli mu Buwandiike. Okusoma Baibuli: Engero 26-31
Oluyimba 180
[Obugambo obwa wansi]
a Ebiseera bwe biba bisobozesa, laga engeri y’okwanukulamu ebigambo ebitera okwogerwa abatuwakanya n’abalala, eneetuukagana n’ebyetaago by’ekitundu kyammwe.
b Ebiseera bwe biba bisobozesa, laga engeri y’okwanukulamu ebigambo ebitera okwogerwa abatuwakanya n’abalala, eneetuukagana n’ebyetaago by’ekitundu kyammwe.
c Ebiseera bwe biba bisobozesa, laga engeri y’okwanukulamu ebigambo ebitera okwogerwa abatuwakanya n’abalala, eneetuukagana n’ebyetaago by’ekitundu kyammwe.
d Ebiseera bwe biba bisobozesa, laga engeri y’okwanukulamu ebigambo ebitera okwogerwa abatuwakanya n’abalala, eneetuukagana n’ebyetaago by’ekitundu kyammwe.
e Ebiseera bwe biba bisobozesa, laga engeri y’okwanukulamu ebigambo ebitera okwogerwa abatuwakanya n’abalala, eneetuukagana n’ebyetaago by’ekitundu kyammwe.