Ebirango
◼ Ebitabo eby’okugaba mu Okitobba: Magazini Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Bwe tusanga abaagala okumanya ebisingawo nga tuzzeeyo, tuyinza okubakolera enteekateeka ey’okufuna subscription. Okutandika nga Okitobba 16, Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 kajja kugabibwa. Noovemba: Okugaba Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 kujja kweyongera. Ebibiina ebinaamaliriza okukola mu kitundu kyabwe nga batuukirira abantu mu buli maka ne tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 36 bayinza okugaba brocuwa Atwetaagisa oba akatabo Okumanya. Abantu bwe baba nga baamala dda okubifuna, akatabo Okuba Omulamu oba Creation kayinza okukozesebwa. Ddesemba: Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo ne New World Translation. Jjanwali: Akatabo konna ak’empapula 192 akaakubibwa nga 1986 tegunnatuuka akali mu kibiina. Ebibiina ebirina Mankind’s Search for God biyinza okukigaba.
◼ Olupapula olw’omunda oluli mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka kano ye “Enteekateeka y’Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase eya 2001” era lulina okukuumibwa obulungi kubanga lujja kujulizibwamu mu mwaka gwe 2001 gwonna.
◼ Bwe kiba nti ebiseera by’enkuŋŋaana z’ekibiina kyammwe bijja kukyuka mu Jjanwali nga 1, omuwandiisi w’ekibiina alina okutegeeza Sosayate ku nkyukakyuka ezo ng’aweereza foomu eyitibwa Congregation Meeting Information (S-5). Bwe kiba kyetaagisa, obupapula obuppya obulaga ebiseera by’enkuŋŋaana buyinza okulagirizibwa. Obupapula obwo busaanidde okusabibwa ng’ebulayo wiiki ezitakka wansi w’omunaana ekiseera kye mwagala okubufunirako kiryoke kituuke.
◼ Okutandika ne wiiki ya Febwali 5, 2001, ekitabo Is There a Creator Who Cares About You? kijja kusomebwa mu Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina. Ebibiina ebyetaaga ebitabo bino birina okubiragiriza mu kusaba kwabwe okw’ebitabo okwa buli mwezi okunaaddako. Okutandika Noovemba 2000, obutabo obulimu ebibuuzo eby’okukozesa ng’ekitabo Creator kisomebwa bujja kuweerezebwa wamu n’ebitabo ebirala. Tekijja kwetaagisa bibiina kulagiriza butabo buno. Obutabo bujja kuweerezebwa mu ntuumu ya 25, okusinziira ku bunene bwa buli kibiina. Bwe kiba nti obutabo obulala bwetaagisa, bulina okulagirizibwa ku Foomu Okusabirwa Ebitabo (S-14). Obutabo bujja kufunibwa mu Amharic, Lufalansa, Lukyayina (Olugonzeddwamu), Lungereza ne mu Luswayiri.
◼ Ebibiina byanditandise okulagiriza Examining the Scriptures Daily—2001 nga basaba ebitabo ebya Okitobba. Obutabo buno bujja kufunibwa mu Amharic, Lufalansa, Lugujarati, Luhindi, Lukyayina, (Olugonzeddwamu), Lulundi, Lungereza Lunyarwanda Lupunjabi, Luswayiri, Lutigirinya, Urdu ne mu Luwalabu. Okutuusa ng’obutabo buno bumaze okuweerezebwa, tebujja kuteekebwa ku foomu ebeerako ebitabo ebisindikibwa mu kibiina. Obutabo Examining the Scriptures buli mu ttuluba ly’ebitabo ebisabibwa mu ngeri ey’enjawulo.
◼ Ebitabo Ebiriwo:
Abajulirwa ba Yakuwa—Be Baani? Kiki Kye Bakkiriza?—Lufalansa Lungereza, Luswayiri,
Isaiah’s Prophecy—Light for All Mankind—Lufalansa, Lungereza, Luswayiri
Katonda Atwetaagisa Ki?—Ateso, Luganda, Luo, Runyankore, Rutoro
The Greatest Man Who Ever Lived—Amharic
Watch Tower Publications Index 1999—Lungereza
Yakuwa—y’Ani? (Tulakiti Na. 23)—Luhindi, Lungereza, Luswayiri
Osobola Okuba Mukwano gwa Katonda!—Lufalansa, Lungereza, Luswayiri
◼ Kassetti Empya Eziriwo:
Kingdom Melodies Omuzingo 9 (ku kassetti emu)
The Good News According to Matthew (bukassetti busatu)—Lukyayina (Mandarin)
The Good News According to Mark (bukassetti bubiri)—Lukyayina (Mandarin)
Warning Examples for Our Day (Omuzannyo, ku kassetti emu)—Lungereza
◼ Disiki Empya Eziriwo:
Kingdom Melodies Omuzingo 9