LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 9/00 lup. 2
  • Enteekateeka Yaffe Egonzeddwamu ey’Okugaba Ebitabo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Yaffe Egonzeddwamu ey’Okugaba Ebitabo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 9/00 lup. 2

Enteekateeka Yaffe Egonzeddwamu ey’Okugaba Ebitabo

1 Enteekateeka egonzeddwamu ey’okugaba ebitabo awatali kusasula kati ebadde mu nkola okumala emyezi nga mwenda. Enteekateeka eno ekoze bulungi? Lipoota ez’obuweereza bw’ennimiro zooleka okweyongerayongera mu kugaba ebitabo ebimu. Obukadde n’obukadde bw’abantu kati baweebwa omukisa ‘okujja batwale amazzi ag’obulamu buwa.’​—Kub. 22:17.

2 Kyokka, tetuteekeddwa, era si kwe kwagala kwaffe, okumala gagabira bitabo buli muntu yenna eyandibikkirizza. Nga bwe tukozesa ebintu byaffe n’amagezi, buli mubuulizi alina obuvunaanyizibwa okukozesa n’amagezi ebitabo by’afuna awatali kusasula okuva ku Sosayate okuyitira mu kibiina. Olw’okuba Sosayate ewa ababuulizi ebitabo awatali kusasula tekitegeeza nti tewali sente zisaasaanyizibwa mu kubikubisa n’okubitambuza. Bonna balina okusiima engeri ebitabo byaffe gye biyamba abantu ab’emitima emyesigwa abanoonya amazima agakwata ku Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo.​—Yok. 17:3.

3 Sosayate esobola etya okugaba ebitabo by’ayo eri abantu bonna awatali kubisasulira? Sente ezisaasaanyizibwa mu kubikubisa n’okubitambuzza ziva ku kutona. Abaweereza ba Yakuwa abeewaayo be basingira ddala okuwa obuwagizi buno. Abajulirwa ba Yakuwa tebasabye bantu balala okuwagira omulimu guno omukulu ennyo ogw’okulangirira Obwakabaka. Eky’okusonda sente mu lujjudde tetukikolangako era ne kaakati si kye tukola. Kyokka, okutona okutonotono okuva eri abantu abeesimbu abaagala okuyiga be tusanga mu nnimiro kusiimibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza