“Lwananga Okulwana Okulungi okw’Okukkiriza”
1 Omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo ‘okulwananga okulwana okulungi okw’okukkiriza.’ (1 Tim. 6:12) Pawulo kennyini yakolera ku bigambo ebyo. Oluvannyuma ennyo mu bulamu bwe, yayogera n’obukakafu nti yali alwanye okulwana okulungi. (2 Tim. 4:6-8) Mu buli ngeri yonna, yenyigira mu buweereza n’obuvumu, n’amaanyi era n’okugumiikiriza. Nga tugoberera ekyokulabirako kye, tusobola okubeera n’obukakafu bwe bumu munda yaffe nti tukola ekisingayo obulungi kye tusobola nga tulwanirira okukkiriza kwaffe okw’Ekikristaayo.
2 Teekamu Okufuba Okwetaagisa: Pawulo yakola n’amaanyi mu buweereza. (1 Kol. 15:10) Naffe bwe tukola nga tunoonya abo bonna abasaanidde abali mu kitundu kyaffe. (Mat. 10:11) Okusobola okutuukirira abamu ku bo, kiyinza okwetaagisa okukeera okuzuukuka tusobole okuwa obujulirwa abo be tusanga ku kkubo. Oba kiyinza okwetaagisa okubuulira ebiseera eby’olweggulo oba nga tebunawungeera okusobola okusanga abantu nga bakomyewo mu maka gaabwe.
3 Kyetaagisa okwekubiriza n’okubeera n’enteekateeka ennungi okusobola okutuuka mu kiseera nga tukuŋŋaana wamu n’ab’omu kibinja kyaffe gye tusomera ekitabo okugenda mu buweereza bw’ennimiro. Ng’ekyokulabirako, abamu ku abo ababeera mu maka ga Beseri kibatwalira eddakiika nga 60 okugenda okwenyigira mu buweereza awamu n’ebibiina byabwe ku wiikendi. Era, tuyinza okwewuunya ababuulizi n’amaka agamu mu kibiina kyaffe abava ewala ennyo naye nga batuuka mu kiseera. Ebyokulabirako ng’ebyo eby’obunyiikivu era n’enteekateeka ennungi bisaanidde okukoppebwa.
4 Tusaanidde okuddayo eri abantu bonna abaagala okuyiga be tuba tusanze. Ne bwe tuba tugaba ebitabo ku kkubo oba mu kubuulira okw’embagirawo, twandigezezzaako okufuna endagiriro y’omuntu oyo oba ennamba y’essimu ye. Olwo nno tusobola okumuddira okukulaakulanya okwagala kw’alina n’okutandika okusoma naye Baibuli.
5 Wenyigire mu Buweereza Obutayosa: Pawulo yali munyiikivu mu kubuulira era yabuulira buli wamu obutayosa era n’amaanyi. (Bar. 15:19) Ate ggwe? Wenyigira mu buweereza obutayosa? Wenyigidde mu buweereza bw’ennimiro omwezi guno? Abakubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina bafaayo nnyo okulaba nga buli omu mu kabinja kaabwe yenyigira mu buweereza mu Agusito. Bajja kukuyamba.
6 Nga tukoppa ekyokulabirako kya Pawulo eky’okuwagira amawulire amalungi mu bujjuvu, tujja kweyongera ‘okulwana okulwana okulungi okw’okukkiriza.’