Osiima Obugumiikiriza bwa Yakuwa?
1 Singa Yakuwa tabadde mugumiikiriza mu myaka 10, oba 20 egiyise, oba n’okusingawo, n’akkiriza obujulirwa okweyongera okuweebwa, wandibadde oyiga amazima? Nga tuli basanyufu nti asobozesezza abantu abalala bangi ‘okutuuka ku kwenenya.’ Kyokka olunaku lwa Yakuwa olukulu olw’omusango “lulijja nga mubbi.” (2 Peet. 3:9, 10) Naye, obugumiikiriza bwa Katonda tebulina kutegeerwa bubi ng’okulwawo obulwi okuleeta enkomerero y’embeera zino ez’ebintu.—Kaab. 2:3.
2 Abantu Bakwatirwe Ekisa: Obugumiikiriza bwa Yakuwa busingira wala ekyo kye tumanyi. Tetulina kwerabira kigendererwa kyabwo. (Yona 4:1-4, 11) Yakuwa alaba embeera embi abantu gye balimu era abakwatirwa ekisa. Ne Yesu bw’atyo bw’awulira. Olw’okukwatirwa ekisa ekibiina ky’abantu ekinene kye yabuulira, yayagala omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi gugaziwe abalala basobole okufuna omukisa ogw’okufuna obulamu obutaggwaawo.—Mat. 9:35-38.
3 Singa obutyabaga n’obubenje bibaawo, tetwandisaasidde abantu abatamanyi mazima? Abantu leero balinga “endiga ezitalina musumba” nga bagezaako okwolekagana n’okutegeera amakulu g’emitawaana egiri mu nsi. (Mak. 6:34) Nga tunyiikira okubuulira amawulire amalungi, tubudaabuda abo ab’omutima omulungi era tulaga okusiima kwaffe eri obugumiikiriza bwa Yakuwa.—Bik. 13:48.
4 Omulimu Gwaffe gwa Bwangu: Omwaka oguwedde abantu 323,439 be baabatizibwa ate n’abasukka mu 14,000,000 be baaliwo ku Kijjukizo. Nga waliwo obusobozi bwa maanyi nnyo abalala bangi okusimattuka okuzikirizibwa kw’embeera zino embi! Tetumanyi ‘ekibiina ekinene’ bwe kinenkana obunene. (Kub. 7:9) Omulimu gwaffe ogw’okubuulira we gunaakomera, tetumanyi. Naye Yakuwa amanyi. Amawulire amalungi gajja kubuulirwa okutuusa ku kigero ky’ayagala, “awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Mat. 24:14.
5 Ekiseera ekisigaddeyo kiyimpawadde, era olunaku lwa Katonda lusembedde. (1 Kol. 7:29a; Beb. 10:37) Awatali kubuusabuusa, “obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga we twakkiririza.” (Bar. 13:11, NW) Ka tuleme kusubwa kigendererwa ky’obugumiikiriza bwa Katonda. Wabula, ka tubuulire mu bwangu, abalala abangi abettanira obutuukirivu basobole okulaba ekisa kya Yakuwa eky’amaanyi.