LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 10
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 17
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 24
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 31
  • Wiiki Etandika Agusito 7
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 7/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjulaayi 10

Oluyimba 7

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Batwale mu kasanduuko “Tunuulira Olupapula olw’Emabega,” era lagayo ennyanjula emu ku ezo eziweereddwa eyinza okukola obulungi mu kitundu kyammwe.

Ddak. 15: “Tetuyinza Kulekayo Kwogera.” By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika, n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu. Ggumiza ensonga lwaki tutwala omulimu gwaffe ogw’okubuulira nga mukulu nnyo. Gattako n’ensonga ezituukirawo okuva mu Watchtower aka Jjanwali 15, 1997, empapula 23-4.

Ddak. 18: “Byonna Bikolebwenga olw’Okuzimba.” Abakadde babiri bakubaganya ebirowoozo ku kitundu kino. Musome buli kitundu n’ebyawandiikibwa ebiragiddwa. Mutangaaze ku misingi egikwatibwako. Muggumize obwetaavu obw’okukozesa okutegeera ng’ensonga ezikwata ku bizineesi zikolebwako. Mwejjukanye okubuulirira okuli mu Watchtower aka Maaki 15, 1997, empapula 18-19, 22.

Oluyimba 15 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 17

Oluyimba 23

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Mu bufunze nnyonnyola engeri y’okukozesaamu brocuwa Look! okuyamba omuntu ayagala okuyiga naffe okutegeera obwetaavu bw’okumanya n’okukozesa erinnya lya Katonda.​—Laba akatabo Reasoning, empapula 196-7.

Ddak. 10: “Programu Empya ey’Olukuŋŋaana lwa Circuit.” Ebibuuzo n’okuddamu. Langa ennaku z’omwezi olukuŋŋaana lwa circuit we lunaabeererawo bwe ziba zimanyiddwa, era bonna bakubirize okubeerawo ennaku zombi. Bonna bakubirize okufuba ennyo okuyita be bayigiriza Baibuli. Okubeerawo ku lukuŋŋaana olwo kiyinza okubakubiriza okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa. Ate lwo Olukuŋŋaana lwaffe olwa District Olwa “Abakolera ku Kigambo kya Katonda” lutegekeddwa okubeerawo mu myezi ogwa Agusito ne Ssebutemba. Ffenna ka tubeerewo ennaku zonna esatu eza programu eyo.

Ddak. 20: Ani gw’Osaanidde Okukoppa? Taata akubiriza okusoma kw’amaka agalimu omwana omu omutiini oba babiri. Akyetegerezza gye buvuddeko awo nti emboozi yaabwe ekwata nnyo ku bantu abaatiikirivu mu mizannyo, mu firimu, ku ttivi era n’abayimbi. Muli akiraga nti afaayo nnyo ku nsonga eno kubanga okusikirizibwa okw’engeri eno kwoleka omwoyo gw’ensi. Bakubaganya ebirowoozo ku Awake! aka Maayi 22, 1998, empapula 12-14. Abavubuka bakitegeera nti kya kabi okusuuta abantu abaatiikirivu ab’omu nsi era bakikkiriza nti ettuttumu ery’ensi teririna kye ligasa Bakristaayo. Balowooza ku miganyulo egy’okutunuulira abazadde, abakadde, n’abalala abataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kibiina​—era n’okusingira ddala Yesu Kristo​—ng’abo abasaanidde okukoppebwa.

Oluyimba 34 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 24

Oluyimba 45

Ddak. 5: Ebirango by’ekibiina.

Ddak. 15: Okulaga nga Tusaanidde Okubeera Abaweereza ba Katonda. Abaweereza mu kibiina babiri bakubaganya ebirowoozo ku kubuulirira okw’omu Byawandiikibwa okwaweebwa mu Watchtower aka Ddesemba 15, 1998, empapula 19-20. Bategeera obwetaavu bw’okutuukiriza ebibasuubirwamu ng’abaweereza mu kibiina era boogera ku bye bayinza okukola okulaga nti batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Balaba obukulu bw’okubeera ebyokulabirako ebirungi mu buweereza bw’ennimiro era bakubaganya ebirowoozo ku ngeri gye bayinza okuyambamu abakadde nga nabo bayamba abalala kinnoomu. Bakkiriza nti baagala okukola kyonna kyonna kye basobola okuyamba ekibiina, okutegeera obukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’okukulaakulana mu by’omwoyo.

Ddak. 10: Okuwandiikira Amabaluwa Abantu Be Tutasobodde Kutuukirira. Okwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Nga bwe kyeyongedde okubeera ekizibu okusanga abantu awaka, ababuulizi abamu bafuna ebibala ebirungi nga bawandiika amabaluwa. Genderera obulagirizi buno. Amabaluwa galina kubeera mu bufunze, nga gesigamye ku Byawandiikibwa, era nga gassaamu omuntu ekitiibwa. Toweereza mabaluwa gatalaga ani agawandiise. Wandiika bulungi era mu ngeri etegeerekeka. Teekamu endagiriro ya Kingdom Hall era n’ekiseera ekibiina we kibeerera n’enkuŋŋaana era n’akapapula akamuyita okubeerawo. Tokozesa ndagiriro ya Sosayate. Yogera ku magezi agaweereddwa mu School Guidebook, empapula 87-8, era n’Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1996.

Ddak. 15: Kozesa Ennyanjula Ennungi. Funayo ennyanjula bbiri oba ssatu okuva ku lupapula 9-15 mu katabo Reasoning, era mukubaganye ebirowoozo ku ngeri gye ziyinza okukozesebwamu obulungi mu kitundu kyammwe. Buuza abakuwuliriza “Nnyanjula ki gye mukozesa bwe muba mutuukirira omuntu ku kkubo, mu kubuulira okw’embagirawo, oba okw’engeri endala yonna?” Ekiseera bwe kiba nga kikusobozesa lagayo ennyanjula emu oba bbiri.

Oluyimba 54 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 31

Oluyimba 66

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Bonna bajjukize okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’omu nnimiro eza Jjulaayi. Saba abakuwuliriza boogere ku bibasanyusizza mu mwezi guno nga bagaba brocuwa.

Ddak. 12: Ebyetaago by’ekibiina. Era bajjukize bino ebikwata ku kugaba ebitabo awatali kubisasulira. (1) Ebitabo bya Sosayate byonna biyinza okufunibwa ababuulizi n’abantu abaagala okubisoma awatali kubasalira kye baba bawaayo. (2) Okubaako ky’owaayo si kisinziirwako okufuna ekitabo, wabula okwagala okw’obwesimbu okukisoma. (3) Bwe tuba ‘Tuwaayo olw’Okuwagira Omulimu gwa Sosayate ogw’Ensi Yonna​—Matayo 24:14,’ tulina okukirowoozaako nti tetuwaayo olw’okusasulira omutemwa ogw’okukubisa ebitabo, naye, olw’okuwagira omulimu gwonna awamu. Laba ebbaluwa eyawandiikibwa eri ebibiina byonna eya Okitobba 15, 1999.

Ddak. 18: “Osiima Obugumiikiriza bwa Yakuwa?” Okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Gattako ebigambo ebituukirawo ebikwata ku bugumiikiriza bwa Yakuwa.​—Laba ekitabo Insight, omuzingo 2, olupapula 263-4.

Oluyimba 75 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Agusito 7

Oluyimba 88

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 17: “Oli Muntu wa Nsonyi?” Okubuuza ebibuuzo n’okuddamu. Waayo ekyokulabirako ekizzaamu amaanyi okuva mu 1997 Yearbook, empapula 43-4

Ddak. 18: Weeyise n’Amagezi ku Bikwata ku Biseera Byo eby’Omu Maaso. Okwogera okuweebwa omukadde. Abavubuka beegomba okunyumirwa ebiseera eby’omu maaso eby’essanyu n’abo ababaagala. Wadde nga kino kya mu butonde, balina okukolera ku kubuulirira kwa Katonda okusobola okutuuka ku buwanguzi. (Nge. 19:20) Okusikirizibwa omuntu ow’ekikula ekirala kuba kwa maanyi nnyo mu buvubuka. Singa okwegomba ng’okwo tekukugirwa, ebivaamu biyinza okuba eby’akabi. Ebibuuzo bingi bijjawo oba nga kiba kya magezi abavubuka okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu ow’ekikula ekirala, okukulaakulanya enkolagana ezibaleetera okwagala okubeera awamu bokka. Yogera ku kubuulirira okuli mu katabo Young People Ask, empapula 231-5. Yogera ku nsonga enkulu eziri mu Watchtower aka Noovemba 15, 1999, empapula 18-23, eziraga bwe kiri ekikulu abavubuka okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe bwonna eri Katonda. Kubiriza abavubuka okulowooza ku kubuulirira kuno era bakikubaganyeko ebirowoozo n’abazadde baabwe singa babeera n’ebibuuzo.

Oluyimba 101 n’okusaba okufundikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza