“Byonna Bikolebwenga olw’Okuzimba”
1 Nga tukolagana ne baganda baffe, tusaanidde okukola ekirungi olw’okubazimba. Kino kiba kitegeeza okufaayo ku ngeri gye bakwatibwako mu by’omwoyo. Singa tuba n’omulimu ogutwaliramu okunoonyeza akatale eky’amaguzi oba emirimu gye tukolera abalala, tulina okwegendereza nti tetukolawo kintu kyonna ekineesittaza baganda baffe.—2 Kol. 6:3; Baf. 1:9, l0.
2 Abamu benyigidde mu bizineesi ezitali zimu, nga Bakristaayo bannaabwe be batwala ng’abasobola okubeera bakasitoma. Ebibiina ebimu ebitunda eby’amaguzi bikubiriza abakozi baabyo okutunuulira buli muntu yenna ng’ayinza okubeera kasitoma—ng’otwaliddemu n’abo be bali nabo mu ddiini emu. Ab’oluganda abamu bakubye enkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa n’ekigendererwa eky’okubakubiriza okwenyigira mu kika ekimu ekya bizineesi. Abamu balangiridde bizineesi zaabwe nga baweereza bakkiriza bannaabwe ebiwandiiko, brocuwa, obubaka ku Internet, oba entambi za vidiyo ne kaseti ze batabasabye. Kyandibadde kisaanira Omukristaayo okukozesa enkolagana ye eya teyokulase okubaako ky’afuna okuva mu baganda be mu by’omwoyo? Nedda!—1 Kol. 10:23, 24, 31-33.
3 Ab’Oluganda Balina Okwegendereza: Kino tekitegeeza nti Omukristaayo tayinza kukola bizineesi n’ow’oluganda. Eyo nsonga ebakwatako bokka na bokka. Kyokka, abamu batandikawo bizineesi ezikubiriza omululu, era ne basikiriza bakkiriza bannaabwe okukola nabo oba okuteekamu ssente zaabwe. Bizineesi nga zino nnyingi zigwa, ne zifiiriza abazenyigiddemu ensimbi nnyingi. Wadde ng’abo abaali beegasse mu bizineesi eyo bayinza okuba nga baasikirizibwa okufuna amagoba ag’amangu, eyagiwomamu omutwe tasaanidde kulowooza nti talina kya kunenyezebwa singa bizineesi eyo egwa. Asaanidde okulowooza ku ngeri baganda be gye banaakwatibwako mu by’omwoyo ne mu by’omubiri singa bizineesi eyo tekola bulungi. Abo abalina ebifo eby’obuvunaanyizibwa obwa teyokulase balina okwegendereza ennyo engeri gye bakolamu emirimu gyabwe egya bulijjo kubanga abalala babassaamu ekitiibwa era babeesiga. Tekyandibadde kirungi okukozesa obubi obwesige obwo. Ow’oluganda ayinza okufiirwa enkizo z’obuweereza obutukuvu bw’aba takyassibwamu balala kitiibwa.
4 Ekiruubirirwa kyaffe kyandibadde okuleka “byonna bikolebwenga olw’okuzimba.” (1 Kol. 14:26) Tulina okwewala okukola ekintu kyonna ekireetawo oba ekitumbula eby’obusuubuzi mu kibiina. Ebintu ng’ebyo tebirina bwe bikwatagana n’ensonga ez’omu Byawandiikibwa ez’okukuŋŋaaniranga awamu.—Beb. 10:24, 25.