LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 7/00 lup. 4
  • Oli Muntu wa Nsonyi?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Oli Muntu wa Nsonyi?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Nnyinza Ntya Okulekera Awo Okuba ow’Ensonyi?
    Abavubuka Babuuza
  • Yakuwa Ajja Kukuwa Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • ‘Totya’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2010
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 7/00 lup. 4

Oli Muntu wa Nsonyi?

1 Tekitwewuunyisa bwe tulaba omwana omuto ng’atulingiza ng’ali emabega wa maama we oba taata we. Ensonyi kintu kya bulijjo mu myaka egy’obuto. Wadde ne mu bukulu, abamu mu butonde babeera n’ensonyi. Singa ensonyi zirina kye zikola ku kwenyigira kwo mu buweereza, kiki ky’oyinza okukola?

2 Okwolekagana n’Ensonyi: Kikulu okufaayo ku ‘muntu ow’omu mutima atalabika.’ (1 Peet. 3:4) Nyweza okwagala kwo eri Yakuwa ne muliraanwa wo. Ba mukakafu ddala nti okutuukiriza omulimu gw’okubuulira ogwatukwasibwa y’emu ku ngeri ezisingirayo ddala obulungi mwe tuyinza okulagira okwagala kwaffe okw’okwerekereza. Goberera enkola ennungi ey’okweyigiriza wekka n’okubeeranga mu nkuŋŋaana. Saba obuyambi bwa Yakuwa obutayosa. Okukkiriza okunywevu n’okumwesiga bijja kukuleetera obugumu n’obumalirivu ‘okubuulira ekigambo kya Katonda awatali kutya.’​—Baf. 1:14.

3 Lwanyisa endowooza ey’obuteekakasa. Kirabika nga Timoseewo yalina okukola kino. Pawulo yakubiriza Timoseewo ‘omuntu yenna aleme kunyooma buvubuka bwe,’ n’amujjukiza nti “Katonda teyatuwa omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi.” (1 Tim. 4:12; 2 Tim. 1:7) Timoseewo yakozesebwa Yakuwa mu bujjuvu, era naawe Yakuwa ajja kukukozesa singa weeyongera okukulaakulana ng’omutaddemu obwesige obujjuvu.​—Zab. 56:11.

4 Okulowooza ku kyawandiikibwa mu Baibuli, nga Matayo 10:37, kyayamba mwannyinaffe eyalina ensonyi ennyingi era nga zimuleetedde okutya ennyo omwami we eyali amuziyiza. Bwe yeefubaako, obuweereza bwatandika okumwanguyira, era n’oluvannyuma omwami we, maama we, ne bannyina bonna bakkiriza amazima!

5 Okuteekateeka Kikulu: Obugumu bwo bujja kweyongera bwe weeteekerateekera obulungi obuweereza. Londayo ennyanjula ennyangu okuva mu katabo Reasoning oba okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka obwafuluma emabega, gisome bulungi era gyegezeemu. Mu kifo ky’okweraliikirira, beera n’endowooza eya kisoboka. Funa obuvumu ng’okola n’abalala. Kirowoozeeko nti abantu bangi b’onaasanga mu maka gaabwe balina ensonyi, nga naawe bw’oli. Buli omu yeetaaga obubaka bw’Obwakabaka.

6 Bw’oba olina ensonyi, toggwaamu maanyi. Nga bwe weeyongera okufuba, Yakuwa ajja kukuyamba okubeera omubuulizi omulungi ow’amawulire amalungi. Olwo ojja kubeera n’essanyu mu buweereza bwo.​—Nge. 10:22.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza