“Tetuyinza Kulekayo Kwogera”
1 Yesu Kristo alabirira omulimu gw’okubuulira. (Mat. 28:20; Mak. 13:10) Wadde nga waliwo kumpi obukadde nga mukaaga obw’abalangirizi abawa obujulirwa mu nsi 234, tetulina kulowooza nti omulimu gw’okuwa obujulirwa guwedde. Okutuusa nga Katonda agambye nti omulimu guwedde, “ffe tetuyinza kulekayo kwogera” ku bintu bye twayiga.—Bik. 4:20, NW.
2 Weesige Omwoyo gwa Katonda: Setaani afuba nnyo okutumalamu amaanyi. (Kub. 12:17) Omubiri gwaffe ogutatuukiridde nagwo gutuleetera ebizibu bingi. Ebintu ng’ebyo biyinza okutuwugula okuva ku mulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira. Wadde kiri kityo, singa twesiga Yakuwa, omwoyo gwe gujja kutuyamba okwolekagana n’ekizibu kyonna.
3 Ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka bwe kyayigganyizibwa ennyo, ab’oluganda baasaba Katonda okubawa obuyambi okweyongera okwogera ekigambo kye n’obuvumu. Yakuwa yaddamu okusaba kwabwe, ng’abawa omwoyo gwe era n’obunyiikivu n’obumalirivu obwali bwetaagisa okweyongera okubuulira. Ekyavaamu, beeyongera okulangirira amawulire amalungi n’obuvumu awatali kuddirira.—Bik. 4:29, 31; 5:42.
4 Totya Ebigambo Ebimalamu Amaanyi: Endowooza y’abantu oba ebigambo eby’okuwaayiriza biyinza okututiisatiisa. Kyokka, jjukira ebigambo eby’obuvumu ebyayogerwa Peetero n’abatume abalala eri Olukiiko lw’Abayudaaya, ebiri mu Ebikolwa by’Abatume 5:29-32. Ng’omuyigiriza w’Amateeka Gamalyeri bwe yagamba, omulimu gwa Katonda teguyinza kuzikirizibwa. Tegukolebwa mu maanyi gaffe. Omulimu guno ogw’amaanyi ennyo gulina obuwagizi bwa Katonda, era ye yekka y’ayinza okugutuukiriza!—Zek. 4:6.
5 Ka tusabenga Yakuwa buli lunaku okutuwa omwoyo gwe gutuyambe okulangirira amawulire amalungi n’obunyiikivu. Ka ffenna twogere nga Yeremiya nti, obubaka bw’Obwakabaka bulinga omuliro ogubuubuuka mu magumba gaffe. (Yer. 20:9) Tetusobola kusirika!