LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/00 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Emitwe emitono
  • Wiiki Etandika Jjanwali 10
  • Wiiki Etandika Jjanwali 17
  • Wiiki Etandika Jjanwali 24
  • Wiiki Etandika Jjanwali 31
  • Wiiki Etandika Febwali 7
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 1/00 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjanwali 10

Oluyimba 107

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka.

Ddak. 15: “Okumanyisa Erinnya lya Yakuwa mu Nsi Yonna.” Okukubaganya ebirowoozo nga mukozesa ebibuuzo n’okuddamu. Yogera ku kubuulira embagirawo okuva mu katabo Our Ministry, empapula 93-4.

Ddak. 20: Okusalawo Okwesigamiziddwa ku Mateeka ku by’Obujjanjabi Obutakozesa Musaayi. (Bik. 15:28, 29) Kwogera kw’omukadde alina ebisaanyizo, okwesigamiziddwa ku bbaluwa eya Febwali 15, 1997, n’eya Ddesemba 1, 1998. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana luno Abajulirwa ababatize bayinza okufuna kaadi empya ewa Obulagirizi era Eggya Obuvunaanyizibwa ku Basawo, era n’abo abalina abaana abato abatali babatize bayinza okubafunira Kaadi Eyogera ku Muntu ey’okuweebwa buli mwana. Kaadi zino tezijja kujjuzibwa kawungeezi kano. Za kujjuzibwa n’obwegendereza awaka naye TEZIRINA kuteekebwako mikono. Okuteekako omukono gwo, n’egy’abajulirwa, era n’okussa ennaku z’omwezi ku kaadi zonna bijja kukolebwa luvannyuma lw’olukuŋŋaana olw’Okusoma Ekitabo kw’Ekibiina olunaddako, n’obuyambi bw’oyo akubiriza okusoma ekitabo, bwe kiba kyetaagisa. Nga tonnateekako mukono, kakasa nti kaadi zonna zijjuziddwa mu bujjuvu. Abo abateekako emikono ng’abajulirwa balina okulaba nnyini kaadi ng’ateekako omukono gwe. Nga batuukaganya olulimi olukozeseddwa ku kaadi eno n’embeera zaabwe era n’okukkiriza kwabwe, ababuulizi abatali babatize bayinza okwekolera ekiwandiiko kyabwe kye banaakozesa awamu n’abaana baabwe. Abakubiriza okusoma ekitabo balina okukakasa nti bonna abali mu kibinja kyabwe bafuna obuyambi bwe beetaaga okujjuza kaadi eno ewa Obulagirizi era Eggya Obuvunaanyizibwa ku Basawo.

Oluyimba 155 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 17

Oluyimba 12

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira.

Ddak. 15: Okukuuma Obuyonjo. Kwogera kw’omukadde okwesigamiziddwa ku Awake! aka Noovemba 22, 1998, olupapula 31, “Naaba Engalo Zo era Zisiimuule!,” Awake!, Noovemba 22, 1997, olupapula 11, “Naaba mu Ngalo ne Ssabbuuni,” ne Awake! aka Noovemba 8, 1997, olupapula 28,“Naaba mu Ngalo.” Bategeeze nti oluvannyuma lw’okukwata omuntu mu ngalo kiba kikolwa kya buyonjo okunaaba mu ngalo nga tonnakwata ku mmere. Kuno kwejjukanya kulungi naddala bwe tubeera mu nkuŋŋaana ennene.

Ddak. 20: “Kozesa Tulakiti Okutandika Emboozi.” Yogera ku tulakiti nnya ezitera okukozesebwa mu kitundu kyammwe. Buuzaayo ekibuuzo ekiddibwamu mu buli tulakiti. Saba abawuliriza okuwa ebirowoozo ku ngeri ekibuuzo ekyo gye kiyinza okukozesebwamu okutandika emboozi era n’okufuna gw’oyigiriza Baibuli. Laga ekyokulabirako ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu ne tulakiti bbiri.

Oluyimba 57 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 24

Oluyimba 110

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’ebyokulabirako okuva mu nnimiro.

Ddak. 15: “Weekenneenye Ekigambo kya Yakuwa Buli Lunaku!” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Bonna bakubirize okweyambisa obulungi Examining the Scriptures Daily​—2000. Yogera ku bugambo obuli mu nnyanjula, ku lupapula 3-4. Bwe kiba nti Examining the Scriptures Daily​—2000 tekannafunibwa mu kibiina kyammwe, mukozese ebiri Examining the Scriptures Daily​—1999, empapula 3-4. Saba ababuulizi okwogera ku ngeri gye bafuba okwekenneenya ekyawandiikibwa n’ebigambo ebikinnyonnyola buli lunaku.

Ddak. 20: “Ojja Kubaayo?” Kwogera n’okuwaayo ebyokulabirako okukubirizibwa omukadde. Enkuŋŋaana ennene zikoze kinene nnyo mu kunyweza abantu ba Katonda okuva mu biseera bya Baibuli okutuuka mu kiseera kyaffe. (Laba ekitabo Proclaimers, olupapula 254, obutundu 1-3, ne Insight, Omuzingo 1, olupapula 821, akatundu 5.) Bonna bakubirize okutandikirawo kati okukola enteekateeka okubaawo ennaku zonna esatu ez’olukuŋŋaana lwa district olw’omwaka guno. Saba abawuliriza okuwaayo ebyokulabirako ebiraga nti okufuba kwabwe okubeerawo mu nkuŋŋaanamu biseera ebyayita kwavaamu emiganyulo egy’eby’omwoyo.

Oluyimba 157 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjanwali 31

Oluyimba 16

Ddak. 12: Ebirango by’ekibiina. Bonna bajjukize okuwaayo lipoota z’obuweereza bw’omu nnimiro eza Jjanwali. Bategeeze ekitabo eky’okugaba mu Febwali: akatabo Essanyu mu Maka. Laga ebyokulabirako ku ngeri ebibuuzo ebisatu ebiri mu kasanduuko ku lupapula 12 olw’akatabo ako gye biyinza okukozesebwamu okutandika emboozi n’omuntu.

Ddak. 15: Eky’Okuddamu mu Kibuuzo Ekikwata ku ‘Kuteekebwako Akabonero.’ Kwogera kw’omukadde, okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Jjulayii 15, 1999, empapula 29-31.

Ddak. 18: Engeri y’Okuyambamu Abalala Okwawulawo Eddiini ey’Amazima. Omuweereza mu kibiina n’ababuulizi babiri oba basatu abalina ebisaanyizo bakubaganya ebirowoozo ku ngeri abantu gye bayinza okusikirizibwamu eri Abajulirwa ba Yakuwa naye nga tebategeera bulungi njawulo eriwo wakati w’eddiini endala n’eyaffe. Mwogere ku nsonga ekkumi eziri ku lupapula 20 olwa Awake! aka Maayi 8, 1995. Munnyonnyole engeri ensonga zino gye ziyinza okuyamba omuntu omwesimbu okulaba enjawulo wakati w’okusinza okw’amazima n’okw’obulimba era n’obwetaavu bw’okuyigira awamu n’abantu ba Yakuwa era n’okukolagana naffe.

Oluyimba 60 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Febwali 7

Oluyimba 113

Ddak. 8: Ebirango by’ekibiina n’Amawulire ga Teyokulase.

Ddak. 17: Yogera ku Kitabo Daniel’s Prophecy Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Yogera ku bikulu ebiri mu kitabo ekippya: emitwe gy’essuula egisikiriza, ebifanaanyi ebirungi, obusanduuko ku nkomerero ya buli kitundu obulimu ebibuuzo ebireetera omuntu okufumiitiriza, mmaapu n’ebipande ebiraga kalonda mungi. Lowooza ku nnyinnyonnyola ezzaamu amaanyi ku ngeri Mikaeri ‘gy’aliyimiriramu’ mu ngeri ey’enjawulo. (Empapula 288-90) Yogera ku bukulu bw’okugumiikiriza ng’abayigiriza b’Ekigambo kya Katonda (empapula 311-12). Ffenna twandisomye ekitabo kino n’obwegendereza era ne tukubiriza abaagala okuyiga naffe okukola kye kimu.

Ddak. 20: Baasalawo n’Amagezi. Kwogera okwesigamiziddwa ku Watchtower aka Okitobba 15, 1997, empapula 19-21, obutundu 3-16. Yogera ku byogerwa bapayoniya, ng’olaga lwaki bawulira nti obulamu bwabwe bukozeseddwa mu ngeri esingayo okuba ey’omuganyulo. Abaliwo bonna bakubirize okulowooza ku kuweereza nga bapayoniya.

Oluyimba 182 n’okusaba okufundikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza