LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/00 lup. 1
  • Ojja Kubaayo?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ojja Kubaayo?
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2006, “Okununulibwa Kwaffe Kuli Kumpi Okutuuka”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Osiima Ebintu Ebitukuvu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Olukuŋŋaana lwa Disitulikiti olw’Abajulirwa ba Yakuwa mu 2007, “Goberera Kristo!”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 1/00 lup. 1

Ojja Kubaayo?

1 Omujulirwa omu amaze ebbanga eddene ng’aweereza yagamba: “Singa osubwa olunaku olusooka olw’olukuŋŋaana olunene, mazima ddala, oba osubiddwa bingi nnyo!” Lwaki yagamba bw’atyo? Kubanga olunaku olusooka y’eba entandikwa y’ekijjulo makeke eky’eby’omwoyo entegeka ya Yakuwa ky’eba etutegekedde. (Is. 25:6) Okubeerawo kwaffe okuviira ddala ku ntandikwa kulaga nti tukkiriziganya n’ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Nasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.”​—Zab. 122:1.

2 Kyokka, ku zimu ku Nkuŋŋaana za District eza “Ekigambo kya Katonda eky’Obunnabbi” omwaka ogwayita, omuwendo gw’abaaliwo ku Lw’Okutaano gwali mutono bw’ogeraageranya n’ogwo ogw’oku Lw’Omukaaga ne Ssande. Kino kitegeeza nti omuwendo munene ogwa baganda baffe baasubwa okuwuliriza ebitundu by’olukuŋŋaana olunene ebyalimu ebintu ebikulu ebikwata ku kigambo ky’obunnabbi. Era baasubwa okubeera awamu ne bakkiriza bannaabwe.

3 Tokkiriza Mulimu Kukulemesa: Okutya okufiirwa omulimu gwabwe eyinza okuba nga ye nsonga lwaki abamu tebaaliwo ku Lw’Okutaano. Kyokka, Abajulirwa bangi bakizudde nti bakama baabwe baba beetegefu okubayamba mu nsonga eno singa babasaba olukusa nga bukyali. Omukozesa omu yeewuunya nnyo obumalirivu bwa mwannyinaffe omu payoniya obw’okubeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna awamu n’enkuŋŋaana ennene n’asalawo naye kennyini okubaawo olunaku lulamba mu lukuŋŋaana olunene!

4 Tosaanidde kulowooza nti mukama wo tajja kukuwa lukusa kugenda oba okulowooza nti okusubwa olunaku olumu tekirina nsonga. Ng’oli mumativu mu mutima gwo, beera mwetegefu okulaga mukama wo mu ngeri ey’amagezi okuva mu Byawandiikibwa nti okubeerawo mu nkuŋŋaana kitundu kikulu eky’okusinza kwo. (Beb. 10:24, 25) Era beera n’obwesige obujjuvu mu bisuubizo bya Yakuwa, ng’okimanyi nti byonna bye weetaaga mu by’omubiri bijja kukuweebwa singa okulembeza eby’omwoyo mu bulamu bwo.​—Mat. 6:33; Beb. 13:5, 6.

5 Ekikulu kwe kubeera nga tusiima ‘ebintu ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:10, 11, NW; Zab. 27:4) Kino kituleetera okukola enteekateeka okuganyulwa mu bujjuvu mu nteekateeka eno enkulu eva eri Yakuwa. Tandikirawo kati okukola enteekateeka, era beera mumalirivu nti ojja kubaayo ennaku zonna essatu!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza