LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • km 1/00 lup. 1
  • Okumanyisa Erinnya lya Yakuwa mu Nsi Yonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okumanyisa Erinnya lya Yakuwa mu Nsi Yonna
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Laba Ebirala
  • Engeri ez’Enjawulo ez’Okubuuliramu Amawulire Amalungi
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Okubuulira Nnyumba ku Nnyumba—Lwaki Kikulu Nnyo Leero?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza Bwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Amawulire Amalungi Gabuulirwa Gatya?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
Laba Ebirara
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
km 1/00 lup. 1

Okumanyisa Erinnya lya Yakuwa mu Nsi Yonna

1 Yesu bwe yatuma abayigirizwa be okubeera abajulirwa “okutuuka ku nkomerero y’ensi,” yali amaze okubateerawo ekyokulabirako eky’okugoberera. (Ebikolwa 1: 8) Buli lwe yasanganga abantu yayogeranga ku bigendererwa bya Katonda eri abantu. Nga kikoppa Yesu, ekibiina ky’omuddu omwesigwa kikozesa engeri ez’enjawulo okumanyisa erinnya lya Yakuwa ‘mu nsi yonna.’​—Is.12:4, 5.

2 Ebyakolebwa mu Biseera Ebyayita: Mu myaka egyayita, obubaka obubuulirwa bwateekebwanga mu mpapula z’amawulire; “Omuzannyo Oguli mu Bifaananyi Ogukwata ku Kutondebwa” gwafulumizibwa era ne gulagibwa obukadde n’obukadde bw’abantu; emmotoka eziriko emizindaalo zaakozesebwa; ate ne gramufomu yakozesebwa nnyo, era n’okumala ebbanga reediyo nayo yakozesebwa​—byonna olw’okubuulira amawulire amalungi. Kya lwatu, essira bulijjo libadde liteekebwa ku kutuukirira abantu kinnoomu abaagala okuyiga basobole okuyambibwa. N’olwekyo, obuweereza obw’oku nnyumba ku nnyumba bubadde ngeri nnungi nnyo esobozesezza okumanyisa erinnya lya Yakuwa buli wamu.​—Ebikolwa 5:42.

3 Ebikolebwa mu Kiseera Kyaffe: Olw’ebiseera okukyukakyuka ensi eri ku sipiidi ya maanyi, era mu bifo bingi abantu tebatera kusangibwa waka. Batono abawaayo ebiseera okusoma n’okufumiitiriza ku bintu eby’omwoyo. N’olwekyo tuteekwa okutuukaganya obuweereza bwaffe n’embeera eyo. Okugatta ku kubuulira nnyumba ku nnyumba mu kitundu kyaffe, tukubiriziddwa okugenda abantu gye bali era n’okubeeranga ‘abeetegefu bulijjo’ okwogera ku ssuubi lye tulina. (1 Peet. 3:15, NW) Kino kitegeeza okubuulira bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, abantu ku nguudo ne mu ppaaka oba emmotoka we zisimba, mu maduuka, era n’awalala wonna abantu we bayinza okusangibwa. Awamu n’obuwagizi bwa Yakuwa, okufuba kwaffe kuvaamu ebibala ebirungi. Otuukirira abantu yonna gye bali?

4 Ka tufube mu ngeri yonna esoboka okumanyisa erinnya lya Yakuwa mu kitundu kyaffe. Tujja kufuna essanyu lingi nnyo mu kutuukiriza obuweereza bwaffe, nga twesiga Yakuwa okusika abo ab’emitima emirungi.​—Yok. 6:44.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza