LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • wp19 Na. 2 lup. 4-5
  • Akatyabaga Bwe Kaggwaawo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Akatyabaga Bwe Kaggwaawo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • OKUMANYA AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI KITUWA ESSUUBI
  • Weeteeseteese?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Yakuwa Mukwase Byonna Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri gy’Oyinza Okwaŋŋangamu Ebikweraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Yamba Abalala Okugumiikiriza mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 4-5
Abasajja babiri batudde okumpi n’ennyumba eyayonooneddwa

Akatyabaga Bwe Kaggwaawo

Andrew, abeera mu Sierra Leone yagamba nti: “Mukoka ow’amaanyi bwe yatwala buli kimu kye twalina twawulira ng’obulamu bukomye.”

David, abeera mu Virgin Islands yagamba nti: “Oluvannyuma lw’omuyaga, twaddayo eka. Tetwasangayo kintu kyonna era twawulira nga tusobeddwa. Muwala wange yaggwa wansi n’akaaba nnyo.”

BW’OBA nga wali okoseddwako akatyabaga, osobola okutegeera embeera abalala abali nga ggwe gye bayitamu; bafuna entiisa ya maanyi, basoberwa, era beeraliikirira nnyo. Bangi baggwaamu essuubi ne bawulira ng’obulamu tebukyali bwa mugaso.

Ate era bangi ababa bakoseddwa akatyabaga bawulira nga beetamiddwa obulamu era nga tebakyasobola kugumiikiriza. Kyokka, Bayibuli eraga nti embeera k’ebeere nzibu etya, obulamu bwa mugaso era Bayibuli esobola okuyamba abantu ng’abo okuba n’essuubi nti ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi.

OKUMANYA AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI KITUWA ESSUUBI

Omubuulizi 7:8 wagamba nti: “Enkomerero y’ekintu esinga entandikwa yaakyo.” Oluvannyuma lw’akatyabaga, oyinza okulowooza nti embeera teriddamu kutereera. Naye bw’ogumiikiriza n’ogenda ng’okola mpolampola embeera esobola okutereera.

Bayibuli eyogera ku kiseera lwe ‘watajja kuddamu kuwulirwa ddoboozi lya kukaaba oba okutema emiranga olw’ennaku.’ (Isaaya 65:19) Ekyo kijja kubaawo ng’ensi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Zabbuli 37:11, 29) Obutyabaga tebuliddamu kubaawo. Tetuliddamu kujjukira bulumi bwe tufuna olw’ebizibu bye tuyitamu kubanga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna atusuubiza nti: “Ebintu ebyasooka tebirijjukirwa, era tebirisigala mu mutima.”​—Isaaya 65:17.

Kirowoozeeko: Omutonzi waffe atusuubiza “ebiseera eby’omu maaso ebirungi.” Mu kiseera ekyo nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, obulamu bujja kuba bulungi era nga bujjudde emirembe n’essanyu. (Yeremiya 29:11) Okumanya ekyo kisobola kitya okukuyamba bw’oba ng’owulira nti obulamu bwo tebukyali bwa mugaso? Sally, ayogeddwako mu kitundu ekisoose agamba nti, “Bw’olowooza ku bintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okutukolera mu biseera eby’omu maaso, kikuyamba obutalowooza nnyo ku byayita, n’okugumira embeera gy’olimu kati.”

Tukukubiriza okweyongera okumanya ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okukolera abantu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti obulamu bukyali bwa mugaso kati, nga bw’olindirira ekiseera lwe watalibaawo katyabaga konna. Ne mu kiseera kino, Bayibuli etuwa amagezi agasobola okutuyamba nga tukoseddwa akatyabaga. Ka tulabe agamu ku magezi ago.

Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukuyamba

Wummula ekimala.

“Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”​—Omubuulizi 4:6.

Abanoonyereza ku by’obulamu bagamba nti omuntu bw’afuna ekizibu eky’amaanyi akosebwa nnyo bw’ateebaka kimala.” N’olwekyo, kikulu nnyo okuwummula ekimala.

Buulirako abalala engeri gye weewuliramu.

“Okweraliikirira okuba mu mutima gw’omuntu kugwennyamiza, naye ebigambo ebirungi biguleetera okusanyuka.”​—Engero 12:25.

Weeyabize omu ku b’omu maka go oba mukwano gwo gwe weesiga. Ng’oggyeeko okukuwuliriza, ab’omu maka go oba mikwano gyo basobola okukubudaabuda n’okukuwa obuyambi bwe weetaaga.a

Lowooza ku biseera eby’omu maaso ebirungi.

“Nga [Katonda] bwe yasuubiza, tulindirira eggulu eriggya n’ensi empya, era nga muno obutuukirivu mwe bulibeera.”​—2 Peetero 3:13.

a Omuntu amaze ebbanga eddene nga yenyamidde oba nga yeeraliikiridde ayinza okwetaaga okulaba omusawo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza