EBYAFAAYO
Okujjukira Okwagala Kwe Nnalina mu Kusooka Kinnyambye Nnyo
OMWAKA gwali gwa 1970. Nnali ku kitanda mu ddwaliro eriyitibwa Valley Forge General Hospital, mu Phoenixville, Pennsylvania, Amerika. Omusawo eyali ankolako yapimanga puleesa yange buli luvannyuma lw’eddakiika 30. Mu kiseera kyo, nnalina emyaka 20 era nnali mujaasi. Waaliwo obulwadde obw’amaanyi obwali bunkutte. Omusawo oyo, eyali ansingako akatono obukulu, yalabika ng’atidde nnyo. Puleesa yange bwe yeeyongera okukka ennyo, nnamubuuza nti, “Wali olabyeko omuntu ng’afa?” Nga yenna aweddemu amaanyi, yanziramu nti, “Nedda.”
Mu kiseera ekyo, nnali ndabira ddala nga ŋŋenda kufa. Naye, nnatuuka ntya mu ddwaliro? Ka mbabuulireko ku byafaayo by’obulamu bwange.
ENGERI GYE NNATANDIKA EMIRIMU GYANGE MU LUTALO
Nnakwatibwa obulwadde obwo bwe nnali nzijanjaba abalwadde mu kiseera ky’olutalo olw’e Vietnam. Nnayagalanga nnyo okuyamba abalwadde n’abo abaabanga bafunye ebisago era nnalina ekiruubirirwa eky’okufuuka omusawo alongoosa. Nnatuuka mu Vietnam mu Jjulaayi 1969. Okufaananako abajaasi bonna abaali baakatuuka mu Vietnam, nnaweebwa wiiki emu okusobola okumanyiira embeera ey’omu nsi eyo.
Bwe nnali nnaakatandika okukola emirimu gyange mu ddwaliro eryali mu Mekong Delta mu Dong Tam, waliwo ennyonyi ezaaleeta abasirikale bangi abaali bafunye ebisago mu lutalo. Nnali njagala nnyo ensi yange era nga njagala nnyo okukola, bwe kityo nnali mwetegefu okutandikirawo okubajjanjaba. Abo abaali balina ebisago baatwalibwa mangu mu bikonteyina ebyali bitegekeddwa okujjanjabiramu abasirikale abaabanga bafunye ebisago. Mu buli konteyina mwabangamu omusawo alongoosa abalwadde, asannyalaza, anaaza ebiwundu, n’agabira abalwadde eddagala nga bonna bakola butaweera okutaasa obulamu bw’abajaasi. Nnalaba ebisawo ebinene ennyo ebiddugavu nga tebitikuddwa ku nnyonyi. Nnakitegeerako nti mu bisawo ebyo mwalimu ebitundutundu by’abasirikale bbomu be zaakuba ne zibasesebbula. Bwe ntyo bwe nnatandika emirimu gyange mu lutalo.
NNOONYA KATONDA
Nnasooka okuwulira ku mazima nga nkyali muvubuka
Nnasooka okuwulira ku ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza nga nkyali muvubuka. Abajulirwa ba Yakuwa baayigirizaako maama wange Bayibuli, naye n’atakulaakulana kutuuka ku kubatizibwa. Nnanyumirwanga nnyo okubeerangawo nga maama bamuyigiriza Bayibuli. Lumu nnali ne taata (bba wa maama wange) nga tuyita okumpi n’Ekizimbe ky’Obwakabaka, ne mubuuza nti, “Ekyo kiki?” Yanziramu nti, “Teweesemberezanga bantu abo!” Olw’okuba nnali mwagala nnyo era nga mwesiga, nnakolera ku ebyo bye yaŋŋamba. Okuva olwo eby’Abajulirwa ba Yakuwa nnabivaako.
Oluvannyuma lw’okuva e Vietnam, nnawulira nga nneetaaga Katonda mu bulamu bwange. Ebintu ebibi bye nnalaba mu lutalo byandeetera ennaku ey’amaanyi. Muli nnali mpulira ng’abantu abalala tebategeera kyali kigenda mu maaso mu Vietnam. Nzijukira lumu abantu beekalakaasa nga bagamba nti abasirikale Abamerika batta abaana abato, ng’ekyo kyali kivudde ku alipoota eyagamba nti abaana abatalina musango baali battibwa mu lutalo.
Olw’okuba nnali njagala okuyiga ebikwata ku Katonda, nnatandika okugenda mu masinzizo agatali gamu. Nnali njagala nnyo Katonda naye ng’ebyo amadiini bye gakola tebinsanyusa. Kya ddaaki, nnagenda ku Kizimba ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa mu Delray Beach, Florida. Olunaku lwali lwa Ssande mu Febwali 1971.
Bwe nnayingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka, nnasanga emboozi ya bonna eneetera okuggwa, bwe kityo ne nsalawo okubeerawo mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Sijjukira nsonga yali eyogerwako, naye kye nzijukira be baana abato abaali babikkula Bayibuli era nga bagoberera ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. Ekyo kyankwatako nnyo! Nneetegereza bulungi ebyali bigenda mu maaso. Bwe nnali nfuluma nga nzirayo eka oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, waliwo ow’oluganda eyalina emyaka nga 80 egy’obukulu eyantuukirira. Yali ayitibwa Jim Gardner. Yandaga akatabo akayitibwa The Truth That Leads to Eternal Life era n’ambuuza nti, “Wandyagadde nkakuwe?” Twasalawo okusisinkana ku Lwokuna ku makya atandike okunjigiriza Bayibuli.
Ku olwo, ku Ssande, nnalina okukola ekiro. Nnali nkola mu ddwaliro ery’obwannannyini mu Boca Raton, Florida, mu waadi we batuusiza abalwadde abali obubi. Nnalina okukola okuva ku ssaawa 5:00 ez’ekiro okutuuka ku ssaawa 1:00 ey’oku makya. Okuva bwe kiri nti ekiro ekyo tewaaliwo bireekaana, nnasobola okusoma akatabo Jim ke yampa. Omusawo eyali atukulira yasembera we nnali, n’ansikako akatabo kange, n’atunula ku ddiba lyako n’agamba nti, “Ka nsuubire togenda kwegatta ku bantu bano?” Nnakamusikako ne mugamba nti, “Nnaakakasomako kitundu, naye kirabika ŋŋenda kubeegattako!” Yandeka era ne nsoma akatabo ako ne nkamalako ekiro ekyo.
Ow’oluganda Jim Gardner eyanjigiriza Bayibuli yali mukwano gw’Ow’oluganda Charles Taze Russell
Ku lunaku Jim lwe yasooka okujja okunjigiriza Bayibuli, nnamubuuza nti, “Kati tugenda kusoma ki?” Yaŋŋamba nti, “Akatabo kali ke nnakuwa.” Nnamugamba nti, “Nnakasoma ne nkamalako.” Mu ngeri ey’ekisa Jim yaŋŋamba nti, “Ka tusomeko essuula esooka yokka.” Nnakiraba nti waliwo bingi bye nnali sirabye nga nsoma akatabo ako. Twasoma ebyawandiikibwa bingi okuva mu Bayibuli yange eya King James Version. Kya ddaaki nnali ntandise okuyiga ebikwata ku Katonda ow’amazima, Yakuwa. Ku olwo ku makya, Jim yansomesa essuula ssatu okuva mu katabo ako. Okuva olwo, buli Lwakuna ku makya, twasomanga essuula ssatu. Nnanyumirwanga nnyo okuyiga Bayibuli. Nga nnafuna enkizo ya maanyi okuyigirizibwa ow’oluganda eyafukibwako amafuta eyali mukwano gw’Ow’oluganda Charles T. Russell!
Waayita wiiki ntono, ne nfuuka omubuulizi w’amawulire amalungi. Jim yannyamba mu bintu bingi, nga mw’otwalidde n’okubuulira nnyumba ku nnyumba. (Bik. 20:20) Ggye nnakoma okubuulirako awamu ne Jim, gye nnakoma okunyumirwa okubuulira. Omulimu gw’okubuulira nkyagutwala ng’ekintu eky’omuwendo ennyo. Nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Katonda!—1 Kol. 3:9.
OKWAGALA KWE NNALINA ERI YAKUWA MU KUSOOKA
Kati ka mbabuulire ku kintu ekimu ekikulu ennyo mu bulamu bwange, nga kuno kwe kwagala kwe nnalina eri Yakuwa mu kusooka. (Kub. 2:4) Okwagala okwo kunnyambye okugumira ebizibu eby’amaanyi awamu n’ennaku gye nnafuna olw’ebintu ebibi ennyo ebyaliwo mu kiseera ky’olutalo.—Is. 65:17.
Okwagala kwe nnina eri Yakuwa kunnyambye okugumira ebizibu eby’amaanyi
Nnabatizibwa mu Jjulaayi 1971 ku lukuŋŋaana olunene olwalina omutwe “Erinnya lya Katonda” olwali mu kisaawe ky’e Yankee
Nzijukira olunaku olw’enjawulo mu 1971. Waali waakayita ekiseera kitono nga ngobeddwa mu nnyumba bazadde bange gye baali bampadde okusulamu. Taata teyali mwetegefu kukkiriza Mujulirwa wa Yakuwa kubeera ku mayumba ge! Mu kiseera ekyo, nnali sirina bulungi ssente. Mu ddwaliro gye nnali nkola bansasulanga buli luvannyuma lwa wiiki bbiri, ate nga ssente ze nnali nnaakafuna nnali nziguzeemu engoye ez’okwambalanga nga ŋŋenda okubuulira, nsobole okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Nnalinawoko ku ssente, naye zaali mu bbanka e Michigan, gye nnakulira. Bwe kityo, nnasalawo okusula mu mmotoka yange okumala ennaku eziwerako. Bwe nnabanga njagala okusala ebirevu oba okunaaba, nnagendanga ku ssundiro ly’amafuta.
Lumu, bwe nnali nga nkyasula mu mmotoka yange, nnatuuka ku Kizimbe ky’Obwakabaka nga wabulayo essaawa eziwerako olukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira lutandike. Nnali nnaakava okukola ku ddwaliro. Nnatuula emmanju w’Ekizimbe ky’Obwakabaka abantu gye baali batasobola kundabira. Nga ndi eyo nnatandika okulowooza ennyo ku bintu ebyali e Vietnam. Nnali ng’awunyigiriza evvumbe ly’emirambo gy’abantu egyayokebwa era nga nninga alabira ddala omusaayi gw’abantu omungi ogwayiika. Ate era nnajjukira abavubuka abaalaajananga nga bagamba nti, “Ddala nnaawona? Ddala nnaawona?” Wadde nga nnali nkimanyi nti tebajja kuwona, nnakolanga kyonna ekisoboka okubagumya. Bwe nnajjukira ebintu ebyo nnawulira ennaku ey’amaanyi ennyo.
Buli lwe nfuna ebizibu, nfuba okujjukira okwagala kwe nnalina eri Yakuwa mu kusooka
Nnasaba nnyo Yakuwa ng’eno amaziga bwe gampitamu. (Zab. 56:8) Nnatandika okulowooza ennyo ku ssuubi ery’okuzuukira. Mu kiseera ekyo nnalowooza ku kino: Okuyitira mu kuzuukira, Yakuwa Katonda ajja kumalawo obulumi n’ennaku nze n’abalala bye twayitamu mu kiseera ky’olutalo. Katonda ajja kuzuukiza abavubuka abo era bajja kufuna akakisa okuyiga amazima agamukwatako. (Bik. 24:15) Muli nnawulira nga nneeyongedde okwagala Yakuwa. Sisobola kwerabira lunaku olwo. Okuva olwo, buli lwe nfuna ebizibu, nfuba okujjukira okwagala kwe nnalina eri Yakuwa mu kusooka.
YAKUWA ABADDE MULUNGI GYE NDI
Mu biseera eby’olutalo, abantu bakola ebintu ebibi bingi, era nange nnabikola. Naye waliwo ebyawandiikibwa bibiri bye njagala ennyo ebinzizzaamu ennyo amaanyi. Ekisooka kwe Okubikkulirwa 12:10, 11, awalaga nti Omulyolyomi awangulwa okuyitira mu bubaka obulangirirwa n’okuyitira mu musaayi gw’Omwana gw’endiga. Eky’okubiri ye Abaggalatiya 2:20. Okusinziira ku kyawandiikibwa ekyo, nkimanyi nti Kristo Yesu yafa “ku lwange.” Ng’asinziira ku musaayi gwa Yesu, Yakuwa yansonyiwa ebibi bye nnakola. Okumanya ekyo kinnyambye okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era kinkubiriza okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa, Katonda waffe omusaasizi!—Beb. 9:14.
Bwe ndowooza ku ebyo bye mpiseemu mu bulamu, nkirabye nti bulijjo Yakuwa abadde andabirira. Ng’ekyokulabirako, ku lunaku Jim lwe yategeera nti nnali nsula mu mmotoka yange, yategeezaako mwannyinaffe eyalina amayumba g’abapangisa, mwannyinaffe oyo n’anfunira aw’okusula. Ndi mukakafu nti Yakuwa yakozesa Jim ne mwannyinaffe oyo okunfunira aw’okusula awalungi. Yakuwa alina ekisa kingi! Alabirira abaweereza be abeesigwa.
NJIZE OKUBA OMWEGENDEREZA NGA MBUULIRA
Mu Maayi 1971, nnalina okugenda e Michigan okubaako ebintu bye nkola. Bwe nnali sinnasimbula kuva mu kibiina ky’e Delray Beach eky’omu Florida, nnapakira ebitabo bingi mu mmotoka yange, ne ntandika olugendo lwange. Kyokka we nnatuukira mu makkati g’olugendo olwo, ebitabo ebyo byonna nnali mbigabye nga biweddewo. Nnabuulira n’obunyiikivu amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu bifo ebitali bimu. Nnatuukako mu makomera era n’abasajja be nnasanganga mu bifo ebikyamirwamu, nnabagabiranga tulakiti. N’okutuusa leero, nneebuuza obanga ensigo ezo ze nnasiga zaakula.—1 Kol. 3:6, 7.
Ekituufu kiri nti bwe nnali nnaakayiga amazima, saabanga mwegendereza, nnaddala nga mbuulira ab’eŋŋanda zange. Olw’okuba okwagala okwasooka kwe nnalina eri Yakuwa kwali kwa maanyi nnyo, nnabuuliranga n’obuvumu naye ng’emirundi mingi sisooka kufumiitiriza ku ebyo bye njogera. Njagala nnyo baganda bange, John ne Ron, era nnagezaako okubakaka okuyiga amazima. Oluvannyuma nnabeetondera olw’okubabuulira mu ngeri etaali nnungi. Bulijjo nsaba Yakuwa abayambe okukkiriza amazima. Ekiseera bwe kizze kiyitawo, Yakuwa azze antendeka era kati nneeyongedde okulongoosa mu ngeri gye nkwatamu abantu nga mbuulira oba nga njigiriza.—Bak. 4:6.
ABANTU ABALALA BE NJAGALA ENNYO
Wadde nga njagala nnyo Yakuwa, waliwo n’abantu abalala be njagala ennyo. Mu bantu abo mwe muli mukyala wange omwagalwa, Susan. Nnakiraba nti nnali neetaaga omuntu eyandinnyambyeko mu mulimu gw’Obwakabaka. Susan ayagala nnyo Yakuwa. Lumu, bwe twali tukyayogerezeganya, nnamukyalirako ewaabwe. Nnamusanga atudde ku lubalaza mu maaso g’ennyumba yaabwe, mu Cranston, ku kizinga ky’e Rhode. Yali asoma Omunaala gw’Omukuumi era ng’alina ne Bayibuli. Ekyanneewuunyisa kwe kuba nti ekitundu kye yali asoma tekyali kya kusoma mu kibiina naye yali akisoma nga bw’akebera ebyawandiikibwa ebikirimu. Nnakiraba nti Susan yali mukyala eyettanira ebintu eby’omwoyo! Twafumbiriganwa mu Ddesemba 1971, era okuva olwo Susan ampagidde nnyo. Ekimu ku bintu bye njagala ennyo ku mukyala wange kiri nti wadde ng’anjagala nnyo, asinga kwagala Yakuwa.
Nga ndi ne mukyala wange, Susan, ne batabani baffe, Paul ne Jesse
Nze ne Susan twazaala abaana babiri, Jesse ne Paul, era Yakuwa yali wamu nabo nga bakula. (1 Sam. 3:19) Olw’okuba amazima baagafuula gaabwe, nze ne Susan batuweesezza ekitiibwa. Beeyongedde okuweereza Yakuwa kubanga tebeerabidde kwagala okwasooka kwe baalina gy’ali. Buli omu ku bo amaze emyaka egisukka mu 20 mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Ate era, nneenyumiriza nnyo mu bakyala ba batabani bange, Stephanie ne Racquel, era mbatwala nga bawala bange ddala. Batabani bange bombi baawasa abakyala abaagala Yakuwa Katonda n’omutima gwabwe gwonna n’obulamu bwabwe bwonna.—Bef. 6:6.
Ng’amaka, twanyumirwanga nnyo okubuulira mu bitundu ebitatera kubuulirwamu
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, nnamala emyaka nga 16 nga mpeereza ku kizinga ky’e Rhode, era eyo nnafunayo emikwano mingi. Buli lwe nzijukira abakadde abatali bamu be nnaweerezaako nabo kindeetera essanyu lingi. Ate era kindeetera essanyu lingi buli lwe ndowooza ku ngeri abalabirizi abakyalira ebibiina abatali bamu gye bannyambamu. Nga nkizo ya maanyi okukolera awamu n’ab’oluganda bangi abateerabidde kwagala kwe baalina eri Yakuwa mu kusooka! Mu 1987 twagenda mu North Carolina okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, era n’eyo twafunayo emikwano mingi.a
Nga nkubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda okubuulira bwe nnali nga nkyalira ebibiina
Mu Agusito 2002, nze ne Susan twayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri y’e Patterson mu Amerika. Nnatandika okukola mu Kitongole ky’Obuweereza ate nga ye Susan akola gye booleza engoye. Susan yali ayagala nnyo omulimu gwe! Mu Agusito 2005, nnaweebwa enkizo okuweereza ku Kakiiko Akafuzi. Muli nneebuuza, nze ani aweereddwa enkizo eyo. Mukyala wange omwagalwa yatyamu bwe yalowooza ku buvunaanyizibwa obwali bumpeereddwa, ku mirimu gye nnali ŋŋenda okukola, n’okuba nti twali tugenda kutandika okutambula ennyo. Susan tayagalangako kulinnya nnyonyi, naye emirundi mingi tuba tulina okugirinnya! Susan agamba nti bakyala b’ab’oluganda abalala abali ku Kakiiko Akafuzi bamuzizzaamu nnyo amaanyi era ekyo kimuyambye okwongera okukola kyonna ky’asobola okumpagira. Mu butuufu, ampagidde nnyo era ekyo kindeetedde okwongera okumwagala.
Mu ofiisi yange mulimu ebifaananyi bingi ebirina ebintu ebikulu bye binzijukiza ebibaddewo mu kiseera kye mmaze nga mpeereza Yakuwa. Mu butuufu, nfunye emikisa mingi olw’obuteerabira kwagala okwasooka kwe nnalina eri Yakuwa!
Okubeerako awamu ne mukyala wange, batabani bange, awamu ne bakyala ba batabani bange kindeetera essanyu lingi
a Okumanya ebisingawo ebikwata ku buweereza obw’ekiseera kyonna obw’Ow’oluganda Morris, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 1, 2006 olupapula 18.