Ebirimu
Ddesemba 15, 2012
© 2012 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
Ogw’Okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
JJANWALI 28, 2013–FEBWALI 3, 2013
Engeri gy’Oyinza Okuba mu Bulamu Obweyagaza
OLUPAPULA 4 • ENNYIMBA: 115, 45
FEBWALI 4-10, 2013
Oli Muwanika Katonda Gwe Yeesiga!
OLUPAPULA 9 • ENNYIMBA: 62, 125
FEBWALI 11-17, 2013
Weeyise ‘ng’Omutuuze ow’Akaseera Obuseera’
OLUPAPULA 19 • ENNYIMBA: 107, 40
FEBWALI 18-24, 2013
“Abatuuze ab’Akaseera Obuseera” Bali Bumu
OLUPAPULA 24 • ENNYIMBA: 124, 121
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 4-13
Omuntu alina obulamu obweyagaza y’afaanana atya? Ebitundu bino biddamu ekibuuzo ekyo era eky’okuddamu ekituufu kyawukana ku ndowooza abantu b’ensi gye balina ku nsonga eyo. Era biraga nti okusobola okuba n’obulamu obweyagaza, tulina okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda era ne tukkiriza obuvunaanyizibwa bw’atuwa.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 19-28
Mu ngeri ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta awamu ne bannaabwe ‘ab’endiga endala’ gye bali “abatuuze ab’akaseera obuseera”? (Yok. 10:16; 1 Peet. 2:11) Ebitundu bino bijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo era bijja kutukubiriza okusigala nga tweyisa “ng’abatuuze ab’akaseera obuseera” mu nsi eno n’okweyongera okukolera awamu ne baganda baffe okwetooloola ensi omulimu gw’okubuulira.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Weewale Okukozesa Bayibuli mu Ngeri Enkyamu
18 Okyajjukira?
29 Watchtower Eri mu Lungereza Olugonzeddwamu—Lwaki Yatandika Okukubibwa?
32 Olukalala lw’Emitwe Egibadde mu Omunaala gw’Omukuumi mu 2012
KU DDIBA: Mu South Korea mulimu Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu 100,000. Olw’okuba tebeenyigira mu bya bufuzi na mu ntalo abamu ku bo basibiddwa mu makomera. Wadde nga bali mu makomera, bafuba okuwa obujulirwa, gamba nga bawandiikira abantu amabaluwa
SOUTH KOREA
ABANTU
48,184,000
ABABUULIZI
100,059
AB’OLUGANDA ABAALI MU MAKOMERA OMWAKA OGUWEDDE
731
ESSAAWA ZE BAAMALA BULI MWEZI NGA BABUULIRA
9,000