Etterekero Lyaffe
‘Baali Tebawulirangako Bubaka Bulungi ng’Obwo’
“EMITI gino gyonna gya ki?” Ekyo kye kibuuzo George Naish kye yabuuza ng’eno bw’asonga ku ntuumu y’emiti egyali mu kifo abaserikale we baaterekanga eby’okulwanyisa. Ekifo ekyo kisangibwa mu Saskatoon, Saskatchewan, Canada. Baamugamba nti emiti egyo gyakozesebwanga mu kuzimba emirongooti mu kiseera kya Ssematalo I. Ow’oluganda Naish yakiraba nti emiti egyo gyali gisobola okukozesebwa okuzimba emirongooti gya leediyo, era awo ekirowoozo ky’okuzimba leediyo yaffe we kyatandikira. Oluvannyuma lw’omwaka gumu gwokka, mu 1924, leediyo yaffe eyali eyitibwa CHUC yagenda ku mpewo. Eno y’emu ku leediyo ezaasookera ddala mu Canada ezaali ziweereza programu z’eddiini.
Okuva bwe kiri nti Canada nsi nnene, okubuulirira ku leediyo kyasobozesa abantu bangi okuwulira obubaka bwaffe. Florence Johnson eyali aweereza ku leediyo eyali mu Saskatoon yagamba nti, “Leediyo zaffe zaatuyamba okutuusa obubaka bwa Bayibuli ku bantu bangi be tutandisobodde kutuukako. Ate era okuva bwe kiri nti leediyo kyali kintu kipya mu kiseera ekyo, abantu baayagalanga nnyo okuwuliriza buli kintu ekyabanga ku leediyo.” Omwaka gwa 1926 we gwatuukira, Abayizi ba Bayibuli (ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali bayitibwa mu kiseera ekyo) baalina leediyo ezaabwe ku bwabwe mu bibuga bya Canada bina.a
Bintu ki ebyabanga ku leediyo zaffe? Kwabangako ennyimba baganda baffe ne bannyinaffe okuva mu bibiina ebitali bimu ze baayimbanga nga bakubirako n’ebivuga. Ab’oluganda baawanga emboozi era baakubaganyanga ebirowoozo n’abawuliriza ku Bayibuli. Amy Jones, omu ku abo abaali baweereza ku leediyo yaffe, yagamba nti, “Ebiseera ebimu bwe nnabanga mbuulira, abantu baŋŋambanga nti, ‘Twakuwulidde ng’oyogera ku leediyo.’”
Abayizi ba Bayibuli abaali baweerereza ku leediyo eyali mu Halifax, Nova Scotia, baatandikawo programu abantu kwe baakubiranga amasimu ne babuuza ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli. Ow’oluganda omu yagamba nti, “Abantu baayagalanga nnyo programu eyo. Bwe yatandikanga, amasimu gaayiikanga nga mazzi.”
Nga bwe kyali mu kiseera kya Pawulo, abantu abamu baali baagala obubaka bw’Abayizi ba Bayibuli ate ng’abalala tebabwagala. (Bik. 17:1-5) Ng’ekyokulabirako, Hector Marshall bwe yawulira Abayizi ba Bayibuli ku leediyo nga boogera ku kitabo ekiyitibwa Studies in the Scriptures, yalagiriza emizingo mukaaga egy’ekitabo ekyo. Yagamba nti, “Nnali njagala kukozesa ebitabo ebyo okuyigiriza abaana mu Ssande sukuulu.” Kyokka oluvannyuma lw’okusoma Omuzingo I, Hector yasalawo okuva mu ddiini ye. Yatandika okuweereza Yakuwa era yabuulira n’obunyiikivu okutuusa lwe yafa mu 1998. Oluvannyuma lw’okuwulira ku leediyo emboozi eyalina omutwe “Obwakabaka, Essuubi ly’Ensi,” Colonel J. A. MacDonald eyali abeera mu Nova Scotia, yagamba ow’oluganda omu nti: “Abantu b’oku Kizinga Cape Breton tebawulirangako bubaka bulungi ng’obwo bwe baawulidde jjo ku leediyo.”
Ku luuyi olulala, abakulembeze b’amadiini tebaasanyukira bubaka bwaffe. Abakatuliki abamu abaali mu Halifax baagamba nti baali bagenda kusaanyaawo leediyo yonna eyandikkiriza Abayizi ba Bayibuli okuweererezaako programu zaabwe. Abakulembeze b’amadiini baasaba gavumenti okuggala leediyo z’Abayizi ba Bayibuli, era mu 1928 gavumenti yalangirira nti yali tegenda kuzza buggya layisensi za leediyo z’Abayizi ba Bayibuli. Ekyo bwe kyabaawo, ab’oluganda baagaba obupapula okwali ekibuuzo Ani Nnannyini Mpewo? nga balaga nti tebaali bamativu n’ekyo gavumenti kye yali esazeewo. Wadde kyali kityo, gavumenti yagaana okuzza obuggya layisensi za leediyo z’Abayizi ba Bayibuli.
Ekyo kyamalamu abaweereza ba Yakuwa ab’omu Canada amaanyi? Isabel Wainwright yagamba nti: “Mu kusooka abalabe baffe baalabika ng’abaali batuuse ku buwanguzi. Naye nnali nkimanyi nti singa Yakuwa yali ayagala tweyongere okubuulirira ku leediyo, teyandikkiriza leediyo zaffe kuggalwawo. Naye okuva bwe kiri nti yakikkiriza okubaawo, ekyo kyalaga nti yali ayagala tukozese enkola endala okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.” Ekyo ekyaliwo kyaleetera Abayizi ba Bayibuli mu Canada okussa essira ku kubuulira nnyumba ku nnyumba. Wadde nga leediyo zaffe baaziwera, bwe zaali zikyali ku mpewo, zaayamba nnyo mu kutuusa ku bantu ‘obubaka obukyasinzeeyo okuba obulungi.’—Okuva mu tterekero lyaffe mu Canada.
a Ab’oluganda mu Canada baasasulanga ne ssente ku leediyo ezitali zimu basobole okubakkiriza okubuulirira ku leediyo ezo.