Ebirimu
Apuli 15, 2011
Ebitundu Eby’okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Maayi 30, 2011–Jjuuni 5, 2011
Obuweereza Bwo eri Yakuwa Butwale nga Bukulu Nnyo
OLUPAPULA 9
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 125, 66
Jjuuni 6-12, 2011
Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa
OLUPAPULA 13
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 112, 104
Jjuuni 13-19, 2011
Okukulaakulanya ‘Ekibala ky’Omwoyo’ Kigulumiza Katonda
OLUPAPULA 18
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 25, 11
Jjuuni 20-26, 2011
Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?
OLUPAPULA 23
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 120, 48
Ekigendererwa ky’Ebintu eby’Okusoma
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 9-13
Mu nsi eno ng’abantu abasinga obungi tebatwala buvunaanyizibwa bwabwe ng’ekintu ekikulu, Abakristaayo basaanidde okulowooza ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. Kino kikulu nnyo naddala bwe kituuka ku kusinza Yakuwa. Ekitundu kino kijja kutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buvunaanyizibwa bwe tulina ng’Abakristaayo.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 13-17
Bangi bazibuwalirwa okusalawo ku nsonga ezitali zimu. Ekitundu kino kijja kutuyamba okulaba ensonga lwaki twetaaga okuyiga okusalawo obulungi. Era kijja kutulaga ebintu bye tusaanidde okukola okusobola okusalawo mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 18-27
‘Ekibala ky’omwoyo’ kye ki? Tuyinza tutya okukikulaakulanya mu bulamu bwaffe? Era lwaki ekyo tusaanidde okukikola? Tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo nga twetegereza engeri omwenda eziri mu kibala ky’omwoyo. Ate era ebitundu bino birimu amagezi agajja okutuganyula ffenna.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Olaba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi?
6 Okusigala nga Tuli Beesigwa mu Nsi Omutali Bwesigwa
28 Okyajjukira?
29 Nfunye Ebintu Ebirungi Bingi