LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 8/15 lup. 21-25
  • Leka “Etteeka Ery’ekisa” Lifuge Olulimi Lwo

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Leka “Etteeka Ery’ekisa” Lifuge Olulimi Lwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Ekisa Kye Ki?
  • Kikulu Okufumiitiriza n’Okusaba
  • Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa mu Bufumbo
  • Laga Bakkiriza Banno Ekisa
  • Omuntu ‘ow’Ekisa Ajja Kufuna Obulamu’
  • Okuganyulwa mu Kisa kya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Siima Yakuwa olw’Ekisa kye Ekyesigamiziddwa ku Kwagala
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Abantu ba Katonda Bateekwa Okwagala Ekisa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 8/15 lup. 21-25

Leka “Etteeka Ery’ekisa” Lifuge Olulimi Lwo

“Ayasam[y]a akamwa ke n’amagezi; n’etteeka ery’ekisa liba ku lulimi lwe.”​—NGE. 31:26.

1, 2. (a) Ngeri ki abaweereza ba Yakuwa gye basaanidde okukulaakulanya? (b) Biki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

MU BUBAKA obukulu Kabaka Lemweri bwe yafuna okuva eri maama we mwalimu ebisaanyizo omukyala omulungi by’alina okuba nabyo. Yagambibwa nti: “Ayasam[y]a akamwa ke n’amagezi; n’etteeka ery’ekisa liba ku lulimi lwe.” (Nge. 31:1, 10, 26) Omukazi ow’amagezi era n’abalala bonna abaagala okusanyusa Yakuwa Katonda basaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa. (Soma Engero 19:22.) Bwe kityo, abaweereza ba Katonda bonna ab’amazima basaanidde okwogera mu ngeri ey’ekisa.

2 Ekisa kye ki? Kirina kulagibwa baani? Kiki ekinaatuyamba okuteeka “etteeka ery’ekisa” ku lulimi lwaffe? Okukola ekyo kikwata kitya ku ngeri gye twogeramu n’abo be tubeera nabo mu maka era ne Bakristaayo bannaffe?

Ekisa Kye Ki?

3, 4. (a) Ekisa kye ki? (b) Njawulo ki eri wakati w’ekisa ekyogerwako mu kitundu kino n’ekisa abantu kye balaga bulijjo?

3 Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyakozesebwa mu Byawandiikibwa era ebitera okuvvuunulwa “ekisa” birina amakulu agasingawo ku ga bulijjo. Okulaga ekisa eky’engeri eyo kizingiramu okufaayo ku balala olw’okuba obaagala, ate n’oyoleka okwagala okwo ng’obakolera ebintu ebirungi era ng’oyogera nabo bulungi. Ekisa ekyo omuntu akiraga nga tawalirizibwa era nga kino akikola okutuusiza ddala ng’ekigendererwa ky’okukiraga kituukiridde.

4 Ekisa abantu kyebalaga bulijjo kisobola n’okulagibwa abantu be batamanyi. Omutume Pawulo n’abantu 275 be yali nabo mu lyato eryamenyekamenyeka, baalagibwa ekisa abantu b’oku kizinga ekiyitibwa Merita wadde nga baali tebamanyiddwa eri abantu abo. (Bik. 27:37–28:2) Ku luuyi olulala, ekisa kye twogerako kati mu kitundu kino ky’ekyo ekiba wakati w’abantu abamanyiganye era nga balina enkolagana ennungi. Kino kye kisa Abakeeni kye baalaga ‘abaana ba Isiraeri bonna bwe baali bava mu Misiri.’​—1 Sam. 15:6.

Kikulu Okufumiitiriza n’Okusaba

5. Kiki ekinaatuyamba okufuga olulimi lwaffe?

5 Kyo kituufu nti si kyangu kwogera mu ngeri ey’ekisa. Ng’ayogera ku lulimi, omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Tewali muntu asobola kufuga lulimi. Kye kintu eky’akabi ekitafugika, lujjudde obusagwa obutta.” (Yak. 3:8) Naye kiki ekinaatuyamba okufuga olulimi lwaffe? Ebyo Yesu bye yagamba abakulembeze b’eddiini abaaliwo mu kiseera kye bituyamba okutegeera eky’okukola. Yagamba nti: “Ebintu ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.” (Mat. 12:34) Ekisa okusobola okutuyamba okufuga olulimi lwaffe, twetaaga okukikulaakulanya mu mitima gyaffe. Kati ka tulabe engeri okufumiitiriza n’okusaba gye biyinza okutuyamba okukola ekyo.

6. Lwaki tusaanidde okufumiitiriza ennyo ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekisa?

6 Baibuli egamba nti Yakuwa Katonda ‘alina okusaasira kungi.’ (Kuv. 34:6) Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo.” (Zab. 119:64) Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri Yakuwa gye yalagamu abaweereza be ekisa. Okufumiitiriza ennyo ku ‘bikolwa bya Yakuwa’ kituleetera okwagala okukulaakulanya engeri eyo ennungi.​—Soma Zabbuli 77:12.

7, 8. (a) Yakuwa yalaga atya Lutti n’ab’omu maka ge ekisa? (b) Dawudi yawulira atya nga Katonda amulaze ekisa?

7 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yanunulamu Lutti, omwana wa muganda wa Ibulayimu, n’ab’omu maka ge bwe yali azikiriza Sodomu, ekibuga gye baali babeera. Bwe yali anaatera okukizikiriza, bamalayika abaali bazze ewa Lutti baamugamba okuva mu kibuga ekyo awamu n’ab’omu maka ge mu bwangu ddala. Baibuli egamba nti: ‘Bwe yalwa; bamalayika ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw’abaana be abawala bombi; Mukama ng’amusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w’ekibuga.’ Tetukwatibwako nnyo bwe tufumiitiriza ku ngeri abantu bano gye baanunulwamu, era ekyo tekiraga nti Katonda wa kisa?​—Lub. 19:16, 19.

8 Ate lowooza ku kyokulabirako kya Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda, eyagamba nti: “[Yakuwa] asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; awonya endwadde zo zonna.” Nga Dawudi ateekwa okuba nga yasiima nnyo eky’okuba nti yasonyiyibwa ekibi kye yakola ne Basuseba! Yatendereza Yakuwa ng’agamba nti: “Eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, n’okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.” (Zab. 103:3, 11) Okufumiitiriza ku byokulabirako bino n’ebirala ebyogerwako mu Byawandiikibwa kituyamba okusiima Yakuwa olw’ekisa kye, era ne kitukubiriza okumwebaza n’okumutendereza. Gye tukoma okusiima Katonda ow’amazima olw’ekisa kye, gye tukoma okwagala okumukoppa.​—Bef. 5:1.

9. Nsonga ki eyandikubirizza abaweereza ba Yakuwa okulaga ekisa mu bulamu bwabwe obwa bulijjo?

9 Ebyokulabirako ebiri mu Byawandiikibwa biraga nti Yakuwa alaga ekisa kye eri abo abalina enkolagana ennungi naye. Ate kiri kitya eri abo abatalina nkolagana ng’eyo naye? Bo Yakuwa tabalaga kisa? Si bwe kiri. Lukka 6:35 wagamba nti: “[Katonda] wa kisa eri abateebaza n’ababi.” “Omusana gwe agwakiza abalungi n’ababi era enkuba ye agitonyeseza abatuukirivu n’abatali batuukirivu.” (Mat. 5:45) Bwe twali tetunnayiga mazima, naffe Katonda yatulaganga ekisa kyalaga buli muntu. Kyokka olw’okuba kati tuli baweereza be, tuganyulwa mu kisa eky’enjawulo Katonda ky’alaga abo abamuweereza. (Soma Isaaya 54:10.) Ng’eyo nkizo y’amaanyi nnyo! Kino tekyanditukubirizza okulaganga ekisa mu ngeri gye twogeramu ne mu bintu ebirala bye tukola mu bulamu obwa bulijjo!

10. Okusaba kutuyamba kutya okukulaakulanya ekisa?

10 Ekimu ku bintu ebikulu ennyo ebisobola okutuyamba okukulaakulanya ekisa ye nkizo ey’okusaba. Tusobola okukulaakulanya ekisa mu mitima gyaffe singa tukkiriza omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu okutukulembera. Engeri emu gye tusobola okufunamu omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu kwe kumusaba agutuwe. (Luk. 11:13) N’olwekyo tusaanidde okusaba Katonda entakera atuwe omwoyo gwe omutukuvu era ne tufuba okukolera ku bulagirizi bwagwo. Yee, okufumiitiriza n’okusaba bintu bikulu nnyo bwe tuba ab’okuteeka etteeka ery’ekisa ku lulimi lwaffe.

Okwogera mu Ngeri ey’Ekisa mu Bufumbo

11. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa asuubira abaami okulaga bakazi baabwe ekisa? (b) Etteeka ery’ekisa lisobola litya okuyamba omwami okufuga olulimi lwe?

11 Omutume Pawulo akubiriza abaami nti: “Mwagalenga bakazi bammwe nga Kristo bwe yayagala ekibiina ne yeewaayo ku lwakyo.” (Bef. 5:25) Era Pawulo abajjukiza ebyo Yakuwa bye yagamba Adamu ne Kaawa. Omutume oyo agamba nti: “Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’abeera ne mukazi we, era bombi banaabanga omubiri gumu.” (Bef. 5:31) Kya lwatu nti Yakuwa asuubira abaami okunywerera ku bakazi baabwe, nga bulijjo babayisa mu ngeri ey’ekisa. Omwami ayogera mu ngeri ey’ekisa tafeebya mukyala we mu bantu ng’ayanika ensobi ze. Afuba okumutendereza. (Nge. 31:28) Singa bafuna obutategeeragana mu bufumbo bwabwe, ekisa kijja kukubiriza omwami okwewala okwogera mu ngeri eswaza mukazi we.

12. Omukazi ayinza atya okulaga nti etteeka ery’ekisa lye lifuga olulimi lwe?

12 Etteeka ery’ekisa era lisaanidde okuyamba omukazi okufuga olulimi lwe. Tasaanidde kwogera mu ngeri eyoleka omwoyo gw’ensi. Olw’okuba aba ‘assaamu nnyo bbaawe ekitiibwa,’ aba amwogerako bulungi mu bantu asobole okwongera okumuweesa ekitiibwa. (Bef. 5:33) Olw’okuba aba tayagala kumalamu mwami we kitiibwa, omukyala yeewala obutakkiriziganya na mwami we mu maaso g’abaana baabwe. Ensonga azigonjoola ne bba nga bali bokka. Baibuli egamba nti: “Buli mukazi ow’amagezi azimba ennyumba ye.” (Nge. 14:1) Amaka ge agafuula ekifo ekisanyusa era ekyeyagaza.

13. Okusingira ddala wa etteeka ery’ekisa gye lisaanidde okufugira, era lisaanidde kufuga litya?

13 Ne bwe baba nga bali bokka awaka, abafumbo balina okukozesa olulimi lwabwe mu ngeri eraga nti buli omu awa munne ekitiibwa. Pawulo yawandiika nti: “Byonna mubyeggyireko ddala, obusungu, ekiruyi, obubi, okuvuma, era n’eby’obuwemu tebiyitanga mu kamwa kammwe.” Yagattako nti: “Mwambale obusaasizi, ekisa, okwewombeeka, obuteefu n’okugumiikiriza. . . . Mwambale okwagala kubanga kwe kunywereza ddala obumu.” (Bak. 3:8, 12-14) Abaana bwe bakiraba nti bazadde baabwe boogera mu ngeri ey’ekisa, kibasanyusa era ne kibakubiriza okukoppa engeri gye boogeramu.

14. Emitwe gy’amaka bayinza batya okukozesa olulimi lwabwe okubudaabuda ab’omu maka gaabwe?

14 Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika bw’ati ku Yakuwa: “Nkwegayiridde, ekisa kyo kimbudeebude.” (Zab. 119:76, NW) Okusingira ddala Yakuwa abudaabuda abantu be ng’ababuulirira era ng’abawa obulagirizi. (Zab. 119:105) Emitwe gy’amaka bayinza batya okukoppa Kitaffe ow’omu ggulu nga bakozesa olulimi lwabwe okubudaabuda ab’omu maka gaabwe? Kino basobola okukikola nga babawa obulagirizi obwetaagisa era nga babazzaamu amaanyi. Ng’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka kasobola okubawa akakisa okuyamba ab’omu maka gaabwe mu by’omwoyo!​—Nge. 24:4.

Laga Bakkiriza Banno Ekisa

15. Abakadde n’ab’oluganda abalala abakuze mu by’omwoyo bayinza batya okukozesa olulimi lwabwe okuyamba abalala mu kibiina?

15 Kabaka Dawudi yasaba nti: “Ekisa kyo n’amazima go binkuumenga ennaku zonna.” (Zab. 40:11) Abakadde mu kibiina n’ab’oluganda abalala abakuze mu by’omwoyo bayinza batya okukoppa Yakuwa mu nsonga eno? Bwe bakozesa olulimi lwabwe okuwa abalala obulagirizi okuva mu Byawandiikibwa, baba balaze ekisa.​—Nge. 17:17.

16, 17. Tuyinza tutya okulaga nti olulimi lwaffe lufugibwa etteeka ery’ekisa?

16 Tuyinza kukola ki singa tulaba Mukristaayo munnaffe ng’atandise okweyisa mu ngeri ekontana n’emisingi gya Baibuli? Ekisa tekyanditukubirizza okukozesa olulimi lwaffe okumuwabula? (Zab. 141:5) Singa tukimanya nti mukkiriza munnaffe akoze ekibi eky’amaanyi, ekisa kijja kutuleetera okumukubiriza ‘okuyita abakadde b’ekibiina’ basobole ‘okumusabira era bamusiigeko amafuta mu linnya lya Yakuwa.’ (Yak. 5:14) Singa omwonoonyi oyo alemwa okutuukirira abakadde, bwe tusirika obusirisi ne tutategeeza bakadde tuba tetulaze kisa. Abamu ku ffe bayinza okuba nga baweddemu amaanyi, nga bawulira ng’abatalina mugaso, oba nga bali mu kiwuubaalo. Tusobola okulaga nti etteeka ery’ekisa liri ku lulimi lwaffe nga ‘tubudaabuda abennyamivu’ ng’abo.​—1 Bas. 5:14.

17 Twandyeyisizza tutya singa abalabe ba Katonda babaako ebintu ebibi bye boogedde ku bakkiriza bannaffe? Mu kifo ky’okutandika okubuusabuusa obwesigwa bwa baganda baffe, kiba kirungi okwewala okubaako kye twongerezaako oba tuyinza okusaba oyo aba abitugambye, bw’aba mwesimbu, atubuulire obanga ddala by’atugambye abirinako obukakafu. Singa abalabe ba Katonda baba baagala okumanya ebikwata ku Bakristaayo bannaffe nga balina ekigendererwa eky’okubakola akabi, ekisa kijja kutukubiriza obutababuulira bibakwatako.​—Nge. 18:24.

Omuntu ‘ow’Ekisa Ajja Kufuna Obulamu’

18, 19. Lwaki etteeka ery’ekisa terisaanidde kuva mu kamwa kaffe nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe?

18 Tusaanidde bulijjo okwoleka ekisa nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe. Etteeka ery’ekisa terisaanidde kuva mu kamwa kaffe ka wabe nga wazzeewo embeera enzibu. Ekisa ky’abaana ba Isiraeri bwe kyafuuka “ng’omusulo oguggwaako nga bukyali,” ekyo Yakuwa teyakisanyukiranga. (Kos. 6:4, 6) Ku luuyi olulala, Yakuwa asanyuka nnyo bwe tufuba okwoleka ekisa. Lowooza ku mikisa gy’awa abo abafuba okwoleka ekisa.

19 Engero 21:21 wagamba nti: “Agoberera obutuukirivu n’okusaasira [“n’ekisa,” NW] alaba obulamu n’obutuukirivu n’ekitiibwa.” Egimu ku mikisa omuntu ng’oyo agoberera obutukirivu n’ekisa gy’ajja okufuna bwe bulamu​—si obw’akaseera buseera wabula obw’emirembe n’emirembe. Yakuwa amuyamba “okunyweza obulamu obwa nnamaddala.” (1 Tim. 6:12, 19) N’olwekyo, ka buli omu ku ffe ‘akolerenga muganda we ekisa.’​—Zek. 7:9.

Osobola Okunnyonnyola?

• Ekisa kye ki?

• Biki ebinaatuyamba okusa etteeka ery’ekisa ku lulimi lwaffe?

• Abafumbo bayinza batya okulaga ekisa mu ngeri gye boogeramu?

• Kiki ekiraga nti etteeka ery’ekisa liri ku lulimi lwaffe bwe tuba tukolagana ne bakkiriza bannaffe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Dawudi yatendereza Yakuwa olw’ekisa kye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Muba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka obutayosa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza