Okuganyulwa mu Kisa kya Yakuwa
“Ani alina amagezi? Anaafumiitirizanga . . . ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekisa.”—ZABBULI 107:43, NW.
1. Ddi ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” lwe kyasooka okukozesebwa mu Baibuli, era bibuuzo ki ebikwata ku kigambo ekyo bye tujja okwekenneenya?
EMYAKA nga 4,000 egiyiseewo, Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulayimu yagamba Yakuwa: ‘Ogulumizizza ekisa kyo.’ (Olubereberye 19:19, NW) Guno gwe mulundi ogusooka ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” lwe kirabika mu Baibuli. Yakobo, Nawomi, Dawudi n’abaweereza ba Katonda abalala nabo baayogera ku ngeri ya Yakuwa eno. (Olubereberye 32:10, NW; Luusi 1:8; 2 Samwiri 2:6) Mu butuufu, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyo kirabika emirundi nga 250 mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ebyasooka. Naye, ekisa kya Yakuwa kye ki? Baani be yakiraga mu biseera ebyayita? Era tusobola tutya okuganyulwa mu kisa kya Yakuwa leero?
2. Lwaki ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” kizibu nnyo okunnyonnyola, era kiyinza kuvvuunulwa kitya?
2 Mu Byawandiikibwa, ekigambo “ekisa” kivvuunulwa okuva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekirina amakulu amangi ennyo ng’ate ennimi endala tezirina kigambo kyonna ekiyinza okuggyayo obulungi amakulu gaakyo. Bwe kityo, n’ebigambo nga “okwagala,” “okusaasira,” ne “okukkiriza” tebiyinza kuggirayo ddala makulu gaakyo mu bujjuvu. Naye, yo enkyusa eya New World Translation of the Holy Scriptures ekigambo ekyo eky’Olwebbulaniya ekivvuunula “ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala,” nga bye bigambo ebisinga okuggyayo amakulu agali mu kigambo ekyo.”—Okuva 15:13; Zabbuli 5:7.
Kyawukana ku Kwagala n’Obwesigwa
3. Ekisa kyawukana kitya ku kwagala?
3 Ekisa kirina akakwate n’okwagala era n’obwesigwa. Naye ate kya njawulo mu ngeri nnyingi. Lowooza ku ngeri ekisa n’okwagala gye byawukana. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebitalina bulamu bisobola okwagalwa. Baibuli eyogera ku ‘kwagala omwenge n’amafuta,’ era ne ku ‘kwagala amagezi.’ (Engero 21:17; 29:3) Naye ate, kyo ekisa kiragibwa bantu, so si birowoozo oba ebintu ebitali biramu. Ng’ekyokulabirako, Okuva 20:6 (NW) bwe wagamba nti Yakuwa ‘alaga nkumi na nkumi ekisa,’ bantu be baba boogerwako.
4. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” kyawukana kitya ku bwesigwa?
4 Era ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa” kirina amakulu mangi okusinga ag’ekigambo “obwesigwa.” Mu nnimi ezimu, ekigambo “obwesigwa” kitera okukozesebwa okulaga engeri omuntu ali mu kifo ekya wansi gy’asaanidde okweyisaamu eri mukama we. Naye omunoonyereza omu agamba nti, okusinziira ku Baibuli, ekisa kyo “emirundi egisinga kitegeeza kintu kirala nnyo ku ekyo: Ow’amaanyi y’awagira omunafu oba ali mu bwetaavu.” Kabaka Dawudi kyeyava asaba Yakuwa: “Amaaso go gaakire omuddu wo: ondokole mu kisa kyo.” (Zabbuli 31:16) Dawudi eyali mu bwetaavu, yali asaba Yakuwa asinga amaanyi, amulage ekisa. Okuva oyo ali mu bwetaavu bw’ataba na buyinza ku oyo ow’amaanyi, ekisa ekiragibwa mu mbeera ng’eyo, kiba kya kyeyagalire, nga tewali kuwalirizibwa.
5. (a) Bya muganyulo ki ebiva mu kisa kya Katonda ebyogerwako mu Baibuli? (b) Bintu ki ebikwata ku kisa kya Yakuwa bye tujja okwekenneenya?
5 Omuwandiisi wa Zabbuli kye yava agamba nti: “Ani alina amagezi? Anaafumiitirizanga . . . ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekisa.” (Zabbuli 107:43, NW) Ekisa kya Yakuwa kiyinza okuvaamu okununulibwa n’okuwonyezebwa. (Zabbuli 6:4; 119:88, 159) Kya bukuumi era kituleetera obuweerero nga tuli mu bizibu. (Zabbuli 31:16, 21; 40:11; 143:12) Olw’ekisa kye, tusobola okusonyiyibwa ekibi. (Zabbuli 25:7) Bwe twekenneenya Ebyawandiikibwa ebimu mu Baibuli, tujja kulaba nti ekisa kya Yakuwa (1) kyeyolekera mu bikolwa bye ne (2) kiragibwa eri abaweereza be abeesigwa.
Okununulibwa—Kikolwa kya Kisa
6, 7. (a) Yakuwa yalaga atya Lutti ekisa? (b) Ddi Lutti lwe yayogera ku kisa kya Yakuwa?
6 Oboolyawo engeri esingayo obulungi ey’okumanyamu byonna ebizingirwamu mu kisa kya Yakuwa kwe kwekenneenya Ebyawandiikibwa ebyogera ku ngeri eyo. Tusoma mu Olubereberye 14:1-16 nti Lutti omwana wa muganda wa Ibulayimu yawambibwa eggye ly’abalabe. Naye Ibulayimu yamununula. Ate era obulamu bwa Lutti bwali mu kabi Yakuwa bwe yasalawo okuzikiriza ekibuga ekibi Sodomu, Lutti n’ab’omu maka ge gye baali babeera.—Olubereberye 18:20-22; 19:12, 13.
7 Nga Sodomu tekinnaba kuzikirizibwa, bamalayika ba Yakuwa baawerekera Lutti n’ab’omu maka ge okuva mu kibuga ekyo. Mu kiseera ekyo, Lutti yagamba: “Laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo [“ekisa kyo,” NW], k[y]’ondaze ng’omponya nneme okufa.” (Olubereberye 19:16, 19) Mu bigambo ebyo, Lutti yakyoleka nti Yakuwa yali amulaze ekisa eky’ensusso ennyo ng’amununula. Ku mulundi ogwo, Katonda yalaga ekisa kye ng’anunula Lutti era n’awonyawo obulamu bwe.—2 Peetero 2:7.
Ekisa kya Yakuwa n’Obulagirizi Bwe
8, 9. (a) Mulimu ki omuddu wa Ibulayimu gwe yaweebwa? (b) Lwaki omuddu yasaba Katonda ayoleke ekisa kye, era kiki ekyabaawo bwe yali akyasaba?
8 Mu Olubereberye essuula 24, tusoma ku kikolwa ekirala ekiraga ekisa kya Katonda. Essuula eyo eraga nti Ibulayimu yalagira omuddu we agende mu nsi erimu ab’eŋŋanda za Ibulayimu afunire omwana we Isaaka omukazi. (Olunyiriri 2-4) Omulimu ogwo gwali muzibu, naye omuddu yakakasibwa nti malayika wa Yakuwa yali ajja kumukulembera. (Olunyiriri 7) Omuddu oyo yalwaddaaki n’atuuka ku luzzi olwali ebweru “w’ekibuga kya Nakoli” (nga kino kye kibuga Kalani oba ekifo ekyali kiriraanyewo) mu kiseera abakazi we baafulumiranga okusena amazzi. (Olunyiriri 10, 11) Bwe yalaba abakazi nga banaatera okutuuka, yamanya nti ekiseera ekizibu ennyo eky’omulimu gwe yali aweereddwa okukola kyali kituuse. Naye yandisobodde atya okulonda omukyala omutuufu?
9 Ng’akimanyi bulungi nti yali yeetaaga obulagirizi bwa Katonda, omuddu wa Ibulayimu oyo yasaba: “Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu.” (Olunyiriri 12) Yakuwa yandiraze atya ekisa kye? Omuddu oyo yasaba aweebwe akabonero akandimusobozesezza okumanya omuwala Katonda gw’alonze. (Olunyiriri 13, 14) Omuwala omu yakolera ddala ekyo omuddu kye yali asabye Yakuwa. Yee, kyali nga gy’obeera nti yali awulidde okusaba kw’omuddu oyo! (Olunyiriri 15-20) Mu kuwuniikirira okungi, omuddu “n’amwekaliriza.” Kyokka, waaliwo ebintu ebirala ebikulu omuddu bye yali alina okukakasa. Omuwala ono alabika obulungi yali omu ku b’eŋŋanda za Ibulayimu? Yali tannaba kufumbirwa? Omuddu kyeyava asigala ‘ng’asirise okusobola okutegeera obanga Yakuwa yali awadde omukisa olugendo lwe.’—Olunyiriri 16, 21.
10. Lwaki omuddu wa Ibulayimu yagamba nti Yakuwa yali alaze mukama we ekisa?
10 Oluvannyuma, omuwala oyo yennyonnyolako nti yali “mwana wa Besweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli [muganda wa Ibulayimu].” (Olubereberye 11:26; 24:24) Awo, omuddu yamanya nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwe. Nga kimuyitiriddeko, omuddu yavuunama n’agamba: “Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe [“ayolesezza ekisa kye,” NW] n’amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange.” (Olunyiriri 27) Katonda yayolesa ekisa kye eri Ibulayimu, bwe yawa omuddu oyo obulagirizi.
Ekisa kya Katonda Kireeta Obuweerero n’Obukuumi
11, 12. (a) Bizibu ki Yusufu bye yayitamu alyoke afune ekisa kya Yakuwa? (b) Katonda yalaga atya Yusufu ekisa?
11 Kati ate ka twekenneenye Olubereberye essuula 39. Eyogera ku Yusufu, muzzukulu wa Ibulayimu, eyatundibwa mu buddu e Misiri. Wadde kyali kityo, ‘Yakuwa yali wamu ne Yusufu.’ (Olunyiriri 1, 2) Mu butuufu, ne Potifali, mukama wa Yusufu Omumisiri, yagamba nti Yakuwa yali ne Yusufu. (Olunyiriri 3) Kyokka, Yusufu yayolekagana n’ekigezo eky’amaanyi ennyo. Yawaayirizibwa nti yali ayagala okukwata mukyala wa Potifali era n’asuulibwa mu kkomera. (Ennyiriri 7-20) Ng’ali “mu kkomera” eyo “ebigere bye baabirumya enjegere; [era] yagalamira[nga] ng’asibiddwa n’ebyuma.”—Olubereberye 40:15; Zabbuli 105:18.
12 Kiki ekyabaawo mu kiseera ekyo ekizibu? “Mukama n’aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi [“ekisa,” NW].” (Olunyiriri 21a) Ekikolwa kimu eky’ekisa kye kyali entandikwa y’ebintu ebyaliwo oluvannyuma ebyasobozesa Yusufu okufuna obuweerero mu bizibu bye yalimu. Yakuwa yasobozesa ‘Yusufu okufuna obusaasizi mu maaso g’omukuumi w’ekkomera.’ (Olunyiriri 21b) N’ekyavaamu, omukulu w’ekkomera yawa Yusufu ekifo eky’obuvunaanyizibwa. (Olunyiriri 22) Oluvannyuma, Yusufu yasisinkana omusajja eyamumanyisa eri Falaawo, omufuzi w’e Misiri. (Olubereberye 40:1-4, 9-15; 41:9-14) Era oluvannyuma, kabaka oyo yawa Yusufu obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo n’aba nga ye mufuzi amuddirira mu Misiri, era bw’atyo Yusufu n’asobola okukola omulimu ogw’okuwonya obulamu bw’abantu mu nsi y’e Misiri eyali eguddemu enjala ey’amaanyi. (Olubereberye 41:37-55) Okubonaabona kwa Yusufu kwatandika ng’alina emyaka 17 egy’obukulu, era ne kumala emyaka egisukka mu kkumi n’ebiri! (Olubereberye 37:2, 4; 41:46) Naye mu myaka egyo gyonna egy’okulaba ennaku n’obuyinike, Yakuwa Katonda yalaga Yusufu ekisa ng’amukuuma mu mitawaana egy’amaanyi ennyo era n’amutuusa n’okufuna enkizo eyalina akakwate n’okutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda.
Ekisa kya Katonda Tekiggwaawo
13. (a) Bikolwa ki ebyoleka ekisa kya Yakuwa ebyogerwako mu Zabbuli 136? (b) Ekisa kye ki?
13 Enfunda n’enfunda, Yakuwa yalaga Abaisiraeri ekisa. Zabbuli 136 egamba nti mu kusaasira kwe yabanunula (Olunyiriri 10-15), yabawa obulagirizi (Olunyiriri 16), n’obukuumi. (Olunyiriri 17-20) Era Katonda alaze abantu kinnoomu ekisa kye. Omuntu alaga banne ekisa, akikola kyeyagalire n’ekigendererwa eky’okukola ku bwetaavu obw’amaanyi. Ekitabo ekimu ekijuliza Baibuli kyayogera bwe kiti ku kisa: “Kye kikolwa ekikuuma oba ekireeta essanyu mu bulamu. Kwe kuyamba omuntu abonaabona oba ali mu buyinike.” Omwekenneenya omu yakiyita “okwagala okuteekeddwa mu nkola.”
14, 15. Lwaki tuyinza okukakasa nti Lutti yali asiimibwa Katonda?
14 Ebyawandiikibwa bye twekenneenyezza mu kitabo ky’Olubereberye bitulaga nti Yakuwa talemererwa kwoleka kisa kye eri abo abamwagala. Lutti, Ibulayimu, ne Yusufu baali mu mbeera za njawulo era n’ebizibu bye baayolekagana nabyo byali bya njawulo. Baali bantu abatatuukiridde, naye Yakuwa yali asiima obuweereza bwabwe era yabayambanga. Kituzzaamu nnyo amaanyi bwe tumanya nti Kitaffe ow’omu ggulu omwagazi yalaga abantu ng’abo ekisa.
15 Lutti yasalawo mu ngeri etaali ya magezi era ne kimuleetera ebizibu. (Olubereberye 13:12, 13; 14:11, 12) Kyokka era, alina engeri ennungi ze yalaga. Bamalayika ba Katonda babiri bwe baatuuka mu Sodomu, Lutti yabasembeza. (Olubereberye 19:1-3) Yalaga okukkiriza, bwe yalabula bakoddomi be ku kuzikirizibwa okwali kugenda okutuuka ku Sodomu. (Olubereberye 19:14) Mu 2 Peetero 2:7-9 tusoma ku ngeri Katonda gye yatunuuliramu Lutti: “[Yakuwa] n’[a]lokola Lutti omutuukirivu, bwe yali nga yeeraliikirira nnyo olw’empisa ez’obukaba ez’ababi (kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulanga mu bo olw’okulaba n’olw’okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijjo bulijjo olw’ebikolwa byabwe eby’obujeemu): Mukama waffe amanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa.” Yee, Lutti yali musajja mutuukirivu era ebigambo ebiri mu nnyiriri ezo biraga nti yali muntu atya Katonda. Naffe Katonda asobola okutusiima bwe ‘tubeera n’empisa ennungi era n’ebikolwa ebyoleka okumutya.’—2 Peetero 3:11, 12.
16. Baibuli eyogera etya ku Ibulayimu ne Yusufu mu ngeri ennungi?
16 Ebiri mu Olubereberye essuula 24 biraga bulungi nti Ibulayimu yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Olunyiriri olusooka lugamba nti “Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna.” Omuddu wa Ibulayimu yayita Yakuwa “Katonda wa mukama [we] Ibulayimu.” (Ennyiriri 12, 27) Ate ye Omuyigirizwa Yakobo agamba nti Ibulayimu ‘yaweebwa obutuukirivu’ era “n’ayitibwa mukwano gwa Katonda.” (Yakobo 2:21-23) Era ne Yusufu bw’atyo bwe yali. Enkolagana ennungi eyali wakati wa Yakuwa ne Yusufu eggumizibwa mu ssuula yonna ey’Olubereberye 39. (Ennyiriri 2, 3, 21, 23) Omutume Suteefano yayogera bw’ati ku Yusufu: “Katonda n’abeeranga naye.”—Ebikolwa 7:9.
17. Kiki kye tuyinza okuyigira ku Lutti, Ibulayimu, ne Yusufu?
17 Abantu be twogeddeko Katonda be yalaga ekisa baalina enkolagana ennungi naye era ne batuukiriza ebigendererwa bye mu ngeri ez’enjawulo. Baayolekagana n’ebizibu bye baali batasobola kuvvuunuka ku lwabwe. Obulamu bwa Lutti bwali mu kabi; olunyiriri lw’ezzadde lya Ibulayimu lwali lwetaaga okukuumibwa; era ne Yusufu yalina okuyambibwa okutuuka mu kifo eky’obuvunaanyizibwa. Yakuwa yekka ye yali asobola okutuukiriza ebyetaago by’abasajja abo abaali bamutya, era ekyo kyennyini kye yakolera ddala olw’ekisa kye. Bwe tuba ab’okufuna ekisa kya Yakuwa Katonda emirembe gyonna, naffe tuteekwa okubeera n’enkolagana ennungi naye, era tuteekwa okweyongera okukola by’ayagala.—Ezera 7:28; Zabbuli 18:50.
Abaweereza ba Katonda Baweebwa Emikisa
18. Ebyawandiikibwa biraga ki ku kisa kya Yakuwa?
18 Ekisa kya Yakuwa “kijjudde ensi yonna,” era nga tusiima nnyo engeri ya Katonda eno! (Zabbuli 119:64, NW) N’omutima gwaffe gwonna tukkiriziganya n’ebigambo bino eby’omuwandiisi wa Zabbuli: “Abantu ka batendereze Yakuwa olw’ekisa kye, n’olw’ebikolwa bye eby’ekitalo by’akoledde abantu.” (Zabbuli 107:8, 15, 21, 31) Tuli basanyufu kubanga Yakuwa ayolesa ekisa kye eri abaweereza be b’asiima—ka babe bantu kinnoomu oba bonna awamu ng’ekibiina. Mu kusaba kwe, nnabbi Danyeri yayogera ku Yakuwa nga “Katonda omukulu era ow’entiisa, atuukiriza endagaano n’okusaasira [“alaga ekisa,” NW] eri abo abamwagala ne bakwata amateeka ge.” (Danyeri 9:4) Kabaka Dawudi yasaba: “Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya.” (Zabbuli 36:10) Nga tuli basanyufu nnyo okulaba nti Yakuwa alaga abaweereza be ekisa!—1 Bassekabaka 8:23, NW; 1 Ekyamateeka 17:13.
19. Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya bibuuzo ki?
19 Mazima ddala, tulina enkizo ya maanyi nnyo okubeera abantu ba Yakuwa! Ng’oggyeko emiganyulo gye tufuna olw’okwagala Katonda kwalaga abantu bonna okutwalira awamu, era tufuna emikisa egy’enjawulo ennyo olw’ekisa oba okwagala okunywevu okutulagibwa Kitaffe ow’omu ggulu. (Yokaana 3:16) N’okusingira ddala, tuganyulwa nnyo mu ngeri ya Yakuwa eno bwe tubeera mu bizibu. (Zabbuli 36:7) Naye tuyinza tutya okukoppa ekisa kya Yakuwa Katonda? Ffe kinnoomu, twoleka engeri eno ennungi ennyo? Ebibuuzo bino awamu n’ebirala, bijja kwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako.
Ojjukira
• Kiki kye tuyize ku kigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekisa”?
• Ekisa kyawukana kitya ku kwagala n’obwesigwa?
• Yakuwa yalaga atya Lutti, Ibulayimu, ne Yusufu ekisa?
• Tuzzibwamu tutya amaanyi mu kwetegereza engeri Yakuwa gye yalagamu ekisa mu biseera ebyayita?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Omanyi engeri Katonda gye yalagamu Lutti ekisa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Mu kisa kye, Yakuwa yakulembera omuddu wa Ibulayimu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 13]
Yakuwa yayoleka ekisa kye ng’akuuma Yusufu