Ebirimu
August 15, 2010
Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA MU WIIKI EYA:
Ssebutemba 27, 2010–Okitobba 3, 2010
Engeri Yesu gy’Ayoleka Obutuukirivu bwa Katonda
OLUPAPULA 8
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 46, 133
Okitobba 4-10, 2010
Engeri Ekinunulo gye Kitulokolamu
OLUPAPULA 12
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 62, 99
Okitobba 11-17, 2010
Leka “Etteeka ery’Ekisa” Lifuge Olulimi Lwo
OLUPAPULA 21
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 77, 79
Okitobba 18-24, 2010
Ani Asobola Okununula Abo Abali mu Buzibu?
OLUPAPULA 28
ENNYIMBA EZINAAYIMBIBWA: 68, 23
Ekigendererwa ky’Ebitundu eby’Okusoma
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 1, 2 OLUPAPULA 8-16
Laba engeri Sitaani gye yasoomoozamu Katonda. Weetegereze engeri Yesu gye yakiraga nti obufuzi bwa Yakuwa bwa butuukirivu. Lowooza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye beefiiriza okusobola okuwaayo ekinunulo, era n’engeri ekyo gye kiyinza okukuganyula. Ensonga ezo zinnyonnyolwa mu bitundu bino.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 3 OLUPAPULA 21-25
Laba ekisa kye kitegeeza era n’engeri gye kiyinza okufuga olulimi lwaffe. Era lowooza ku ngeri gye tuyinza okwoleka engeri eyo nga twogera n’abalala.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 4 OLUPAPULA 28-32
Obunnabbi obuli mu Zabbuli 72 busonga ku Bufuzi obw’Emyaka Olukumi obw’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo. Ekitundu kino kijja kukuzzaamu nnyo amaanyi bw’onoosoma era n’ofumiitiriza ku ngeri Yakuwa Katonda gy’ajja okukozesaamu oyo asinga Sulemaani obukulu okunnunula abo abali mu buzibu.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO:
Weewale Okutwalirizibwa Endowooza z’Abalala 3
Okyajjukira? 20
Lwaki Tusaanidde Okukuuma Ebiseera? 25