Okuba Obulindaala Kivaamu Ebirungi
OFAAYO okulaba embeera ezigwawo obugwi eziyinza okukuwa akakisa okuwa obujulirwa mu kitundu ekibiina kyo mwe kibuulira? Ekyo kyennyini baganda baffe ababeera mu kibuga Turku eky’omu Finland ekiri okumpi n’omwalo kye baakola, era kyavaamu ebirungi bingi.
Emabegako awo, baganda baffe ab’omu Turku baakitegeerako nti waliwo ekibinja ky’abasajja abaali bavudde mu Asiya nga bagenze mu kibuga ekyo okuzimba emmeeri. Oluvannyuma, ow’oluganda omu yategeera wooteeri abakozi abo mwe baali basula. Era yakitegeerako nti abakozi abo bakeera ku makya nnyo ne balinnya bbaasi ezibaggya mu kibuga ne zibatwala ku mwalo. Amangu ddala, yategeezaako ab’oluganda abali mu kibiina ekyogera olulimi Olungereza ekiri mu kibuga Turku.
Abakadde mu kibiina ekyo baakiraba nti okujja kw’abagwira abangi mu kibuga ekyo kaali kakisa ka maanyi ke baali bafunye okubuulira amawulire ag’Obwakabaka, era bwe batyo baakola enteekateeka ey’enjawulo basobole okubuulira abasajja abo. Mu wiiki eyo yennyini ku lwa Ssande, ababuulizi kkumi baakuŋŋaanira ku siteegi ya bbaasi ku ssaawa emu ey’oku makya. We baatuukirawo, tewaaliwo mukozi n’omu. Ab’oluganda beebuuza, ‘Kyandiba nti tukeereye nnyo? Abakozi baddayo ewaabwe?’ Kyokka waayita akaseera katono, omukozi omu n’ajja ng’ayambadde ovulo. Oluvannyuma omukozi omulala naye yajja, era n’abalala ne bajja mpolampola. Mu kaseera katono, abakozi baali bajjudde siteegi ya bbaasi yonna. Ab’oluganda baatandika okubabuulira, nga bakozesa ebitabo ebiri mu lulimi Olungereza. Eky’omukisa omulungi, kyatwala essaawa nga nnamba abakozi bonna okutuula mu bbaasi ezaali zigenda okubatwala, ekyo ne kiwa baganda baffe akakisa okwogera n’abasinga obungi ku bo. Bbaasi we zaasimbulira, ab’oluganda baali bamaze okugaba brocuwa 126 ne magazini 329!
Ebirungi ebyavaamu byaleetera baganda baffe okukola enteekateeka y’emu wiiki eyaddako, eyalimu okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu. Ku mulundi guno, omulabirizi w’ekitundu yakubiriza olukuŋŋaana olw’okugenda mu buweereza bw’ennimiro ku ssaawa kkumi na bbiri n’ekitundu, era ababuulizi 24 ne boolekera siteegi ya bbaasi wadde ng’enkuba yali etonnya. Ababuulizi baatwala ebitabo ebiri mu lulimi Olutagalogo olw’okuba baali bakizudde nti bangi ku bagwira baali bavudde mu Philippines. Ku olwo ku makya, bbaasi we zaasimbulira okugenda ku mwalo, ab’oluganda baali bamaze okugaba ebitabo 7, brocuwa 69, ne magazini 479. Lowooza ku ssanyu baganda baffe ne bannyinnaffe lye baawulira olw’okwenyigira mu kaweefube oyo!
Abakozi abo bwe baali tebannaddayo mu nsi zaabwe, bangi ku bo ab’oluganda baabakyalira mu wooteeri mwe baali basula ne babayigiriza ebisingawo ebikwata ku Bwakabaka. Abakozi abamu baagamba nti baali boogeddeko n’Abajulirwa ba Yakuwa nga bali mu nsi endala. Abakoze beebaza nnyo ab’oluganda olw’okufuba ne boogerako nabo nga bali mu Finland.
Ofaayo okulaba embeera ezigwawo obugwi eziyinza okukuwa akakisa okuwa obujulirwa mu kitundu ekibiina kyo mwe kibuulira? Ofuba okwogerako n’abantu aboogera ennimi ez’enjawulo? Bw’okola bw’otyo, naawe oyinza okufuna essanyu nga baganda baffe mu Turku lye baafuna.
[Mmaapu/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
FINLAND
HELSINKI
Turku