‘Nyiikiriranga Okuyigiriza’
“MUMPITA ‘Muyigiriza,’ era ‘Mukama waffe,’ era muli batuufu okumpita bwe mutyo kubanga ekyo kye ndi.” (Yok. 13:13) Mu bigambo ebyo bye yayogera eri abayigirizwa be, Yesu yalaga ekifo ky’alina ng’omuyigiriza. Bwe yali anaatera okulinnya mu ggulu, Yesu yalagira abayigirizwa be nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, . . . nga mubayigiriza okukwata ebintu byonna bye nnabalagira.” (Mat. 28:19, 20) Oluvannyuma, omutume Pawulo naye yakiraga nti kikulu nnyo okuyigiriza Ekigambo kya Katonda. Yakubiriza omukadde Omukristaayo Timoseewo nti: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga. . . . Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”—1 Tim. 4:13-15.
Ne leero, okuyigiriza kintu kukulu nnyo mu buweereza bwaffe obw’ennimiro ne mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo. Tuyinza tutya okunyiikirira okuyigiriza, era ekyo kinaatuyamba kitya okuyigiriza obulungi Ekigambo kya Katonda?
Koppa Omuyigiriza Omukulu
Ebyo Yesu bye yayigiriza byakwatanga nnyo ku bantu abaamuwulirizanga. Weetegereze engeri ebigambo bye gye byakwata ku abo abaali mu kkuŋŋaaniro e Nazaaleesi. Omuwandiisi w’Enjiri Lukka yawandiika nti: “Bonna [baatandika] okumwogerako obulungi era ne beewuunya ebigambo ebirungi bye yayogera.” (Luk. 4:22) Abayigirizwa ba Yesu baagoberera ekyokulabirako kya Mukama waabwe nga babuulira. Mu butuufu, omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Munkoppe, nga nange bwe nkoppa Kristo.” (1 Kol. 11:1) Olw’okuba yakoppa engeri Yesu gye yayigirizaamu, Pawulo yasobola ‘okuyigiriza obulungi mu lujjudde n’okuva nnyumba ku nnyumba.’—Bik. 20:20.
Okuyigiriza “mu Katale”
Ebyo ebiri mu Ebikolwa essuula 17 biraga nti Pawulo yayigirizanga bulungi mu lujjudde. Mu ssuula eyo tusoma ku ebyo ebyaliwo ng’agenze mu kibuga Asene ekya Buyonaani. Buli wamu Pawulo we yatunulanga mu kibuga ekyo—ku nguudo ne mu bifo ebyalukale—yalabangawo bifaananyi. Tekyewuunyisa nti Pawulo yawulira bubi nnyo! Wadde kyali kityo, teyava mu mbeera. Mu kifo ky’ekyo, ‘yatandika okukubaganya ebirowoozo n’abantu mu makuŋŋaaniro, era buli lunaku yakubaganyanga ebirowoozo n’abo abaabeeranga mu katale.’ (Bik. 17:16, 17) Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi! Bwe twogera n’abantu aba buli ngeri mu ngeri eraga nti tubawa ekitiibwa era ne twewala okubavumirira, kiyinza okubaleetera okutuwuliriza ne bayambibwa okuva mu ddiini ez’obulimba.—Bik. 10:34, 35; Kub. 18:4.
Bangi ku bantu Pawulo be yabuulira mu katale baagaana okukkiriza obubaka bwe. Mu abo abaali bamuwuliriza mwalimu abafirosoofo abaalina endowooza ezaali zaawukana n’amazima ge yali ayigiriza. Bwe baatandika okumuwakanya, Pawulo yawuliriza bye baali boogera. Abamu baamugamba nti yali “ajoboja.” Abalala baagamba nti: “Alabika abuulira ebikwata ku bakatonda abatali ba kuno.”—Bik. 17:18.
Naye ebyo byonna bye baayogera, Pawulo teyabikkiriza kumumalamu maanyi. Bwe baamusaba abannyonnyole bye yali ayigiriza, Pawulo yakozesa akakisa ako okwogera nabo mu ngeri eraga nti yali muyigiriza mulungi. (Bik. 17:19-22; 1 Peet. 3:15) Kati ka twetegereze ebyo bye yayogera era tulabe engeri gye biyinza okutuyamba okufuuka abayigiriza abalungi.
Tandikira ku Bintu Bye Mukwataganya
Pawulo yagamba nti: “Abasajja b’omu Asene, nkirabye nti mutya nnyo bakatonda okusinga abalala bonna. Ng’ekyokulabirako, bwe . . . nneetegereza ebintu bye musinza, ndabye ekyoto ekiwandiikiddwako nti, ‘Kya Katonda Atamanyiddwa.’ N’olwekyo, oyo gwe musinza kyokka nga temumumanyi gwe njogerako.”—Bik. 17:22, 23.
Pawulo yeetegereza ebintu ebyali bimwetoolodde. Ebyo bye yalaba, byamuyamba okutegeera obulungi abantu be yali ayogera nabo. Naffe tulina bingi bye tusobola okumanya ku muntu gwe tubuulira singa tufuba okwetegereza. Ng’ekyokulabirako, bwe tusanga ebintu abaana bye bazannyisa mu luggya oba obubonero ku luggi lw’omuntu gwe tugenda okubuulira, bibaako kye bituyigiriza. Bwe tubaako ne kye tumanyi ku muntu gwe tubuulira, kituyamba okumanya ebyo bye tusaanidde okwogera n’engeri y’okubyogeramu.—Bak. 4:6.
Pawulo yeewala okuvumirira abo be yayogeranga nabo. Yakiraba nti Abaasene baali ‘batya Katonda,’ naye ng’okutya okwo tekwesigamiziddwa ku kumanya kutuufu. Mu ngeri etegeerekeka obulungi, Pawulo yabayamba okulaba engeri gye bayinza okusinzaamu Katonda ow’amazima. (1 Kol. 14:8) N’olwekyo kikulu nnyo okwogera mu ngeri etegeerekeka obulungi n’okwewala okuvumirira abantu nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.
Kozesa Amagezi era Weewale Okusosola
Pawulo era yagamba nti: “Katonda eyakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu ye Mukama w’eggulu n’ensi, era tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu, teyeetaaga bantu kumuweereza nga gy’obeera nti alina kye yeetaaga kyonna, kubanga y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.”—Bik. 17:24, 25.
Mu ngeri ey’amagezi Pawulo yayamba abaali bamuwuliriza okukitegeera nti Yakuwa y’awa abantu bonna obulamu, nga amwogerako nga “Mukama w’eggulu n’ensi.” Nga nkizo ya maanyi okuyamba abantu ab’emitima emirungi okuva mu mawanga n’amadiini ag’enjawulo okukimanya nti Yakuwa Katonda ye Nsibuko y’Obulamu!—Zab. 36:9.
Pawulo yagattako nti: “Yakola okuva mu muntu omu amawanga gonna ag’abantu . . . era yabateerawo ebiseera ebigere n’ensalo ez’ebitundu omw’okubeera, basobole okunoonya Katonda, bamuwammante, era bamuzuule, wadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.”—Bik. 17:26, 27.
Engeri gye tuyigirizaamu, esobola okulaga abantu Katonda wa ngeri ki gwe tusinza. Olw’okuba Yakuwa tasosola, akkiriza abantu aba buli ggwanga ‘okumuwammanta n’okumuzuula.’ Mu ngeri y’emu, naffe twogera n’abantu bonna be tusanga awatali kusosola. Tufuba okuyamba abo abakkiririza mu Mutonzi okufuna enkolagana ennungi naye eneebasobozesa okufuna emikisa egy’olubeerera. (Yak. 4:8) Naye tuyinza kukola ki okuyamba abo abalowooza nti Katonda taliiyo? Ekyokulabirako kya Pawulo kisobola okutuyamba. Weetegereze ebigambo bye yazzaako okwogera.
“Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli, era ng’abamu ku bayiiya b’ebitontome mu mmwe bwe bagamba nti, ‘Naffe tuli zzadde lye.’ Okuva bwe tuli ezzadde lya Katonda, tetusaanidde kulowooza nti Katonda alinga zaabu, ffeeza, oba ejjinja.”—Bik. 17:28, 29.
Okusobola okusikiriza abantu okumuwuliriza, Pawulo yajuliza abayiiya b’ebitontome Abaasene be baali bamanyi era nga babakkiririzaamu. Mu ngeri y’emu, naffe tusaanidde okutandikira ku bintu abatuwuliriza bye bamanyi obulungi era bye bakkiriza. Okugeza, ekyokulabirako Pawulo kye yawa mu bbaluwa ye eri Abebbulaniya ne leero kituukirirawo. Yagamba nti: “Buli nnyumba wabaawo agizimba naye eyazimba ebintu byonna ye Katonda.” (Beb. 3:4) N’olwekyo, bwe tukubaganya ebirowoozo n’abantu ku kyokulabirako ekyo kisobola okubayamba okulaba obutuufu bw’ebintu bye twogera. Weetegereze nti mu ebyo Pawulo bye yayogera mwalimu ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okuyigiriza obulungi—okusikiriza abawuliriza.
Laga Obukulu bw’Ebiseera Bye Tulimu
Pawulo yagamba nti: “Kyo kituufu nti Katonda yabuusa amaaso ebiro eby’obutamanya, naye kaakano agamba abantu yonna gye bali beenenye. Kubanga ataddewo olunaku kw’ajja okusalira ensi omusango mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze.”—Bik. 17:30, 31.
Okuba nti Katonda akyaleseewo obubi kituwadde ffenna akakisa okwoleka ekyo kye nnyini ekiri mu mitima gyaffe. Kikulu nnyo okulaga abantu obukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’okubalaga emikisa Obwakabaka obunaatera okutuuka gye bunaaleeta.—2 Tim. 3:1-5.
Abantu Baanukula mu Ngeri za Njawulo
“Bwe baawulira ng’ayogera ku kuzuukira kw’abafu, abamu ne bamuŋoola, naye abalala ne bagamba nti: ‘Tujja kukuwuliriza n’omulundi omulala ng’oyogera ku nsonga eno.’ Awo Pawulo n’ava we bali, naye abantu abamu ne bamwegattako ne bafuuka bakkiriza.”—Bik. 17:32-34.
Abamu bakkiriza mangu obubaka bwe tubuulira; abalala bayinza okwetaaga ekiseera ekiwerako okusobola okubukkiriza. Naye ne bwe kiba nti omuntu omu yekka gwe tusobodde okuyamba okufuna okumanya okukwata ku Yakuwa, kituleetera essanyu okukimanya nti Katonda aba atukozesezza okuleeta abantu eri Omwana we!—Yok. 6:44.
Ebyo Byonna Bituyigiriza Ki?
Bwe tufumiitiriza ku ebyo Pawulo bye yayogera, kituyamba okulaba engeri gye tuyinza okunnyonnyolamu abalala amazima agali mu Baibuli. Bwe tuba n’enkizo ey’okuwa emboozi ya bonna mu kibiina, tusaanidde okufuba okukoppa Pawulo nga twogera mu ngeri ey’amagezi tusobole okuyamba abatali bakkiriza okutegeera n’okukkiriza amazima ga Baibuli. Tusaanidde okuyigiriza mu ngeri etegeerekeka obulungi, era nga twewala okuvumirira ebyo abatali bakkiriza ababa baze mu nkuŋŋaana bye bakkiririzaamu. Mu ngeri y’emu, bwe tuba tubuulira, tusaanidde okufuba okusikiriza abo be tubuulira n’okwogera mu ngeri ey’amagezi. Bwe tukola tutyo, tuba tukyolese nti tukolera ku bigambo bya Pawulo nga ‘tunyiikirira okuyigiriza.’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]
Pawulo yayigirizanga mu ngeri ey’amagezi, ennyangu, era etegeerekeka obulungi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Tukoppa Pawulo nga tufaayo ku nneewulira z’abantu be tubuulira