LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w10 3/15 lup. 30-32
  • Sigala ng’Olina “Omutima Omulongoofu” mu Biseera Bino Ebizibu

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Sigala ng’Olina “Omutima Omulongoofu” mu Biseera Bino Ebizibu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kitegeeza Ki Okuba ‘Abalongoofu mu Mutima’?
  • Si Kyangu Kuba ‘Mulongoofu mu Mutima’
  • Nga Twolekaganye n’Okwegomba kw’Omubiri
  • Okuba ‘n’Omutima Omulongoofu’ ng’Oli mu Bizibu
  • Funa Omutima Ogusanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Kuuma Omutima Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 3/15 lup. 30-32

Sigala ng’Olina “Omutima Omulongoofu” mu Biseera Bino Ebizibu

“TEWALI n’omu ayinza kukiwakanya nti waliwo obuzibu bwa maanyi nnyo mu Kkereziya bwe kituuka ku mpisa.” Bw’atyo munnamawulire Omukatuliki ayitibwa Vittorio Messori bwe yagamba bwe yali ayogera ku bikolwa eby’obugwenyufu ebicaase ennyo ennaku zino mu Kkereziya ya Italy. Yagattako nti: ‘Okuggyawo etteeka erikugira abakulembeze b’eddiini okuwasa ku bwakyo tekisobola kugonjoola buzibu buno kubanga, abakulembeze b’eddiini abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ebitundu kinaana ku buli kikumi bali ba bisiyaga.’​—La Stampa.

Awatali kubuusabuusa, obubi obweyongerayongera bulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka eno ey’ebintu. (2 Tim. 3:1-5) Ng’ebintu ebifulumira mu mawulire bwe biraga, okwonooneka kw’empisa tekukomye ku kukwata ku bantu bonna okutwalira awamu, naye era kukute ne ku abo abeeyita abantu ba Katonda. Emitima gyabwe egitali mirongoofu gibakubiriza okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Bef. 2:2) Yesu kye yava agamba nti “mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola.” (Mat. 15:19) Kyokka, Yakuwa Katonda ayagala abaweereza be babeere ‘n’omutima omulongoofu.’ (Nge. 22:11) Kati olwo Omukristaayo asobola atya okusigala ng’alina omutima omulongoofu mu biseera bino ebizibu?

Kitegeeza Ki Okuba ‘Abalongoofu mu Mutima’?

Mu Baibuli, ekigambo “omutima” kitera okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero. Okusinziira ku kitabo ekimu, Baibuli ekozesa ekigambo kino okutegeeza “ekyo omuntu ky’ali munda” era “ng’ekyo Katonda ky’asinga okutwala ng’ekikulu, enkolagana y’omuntu ne Katonda kwe yeesigama, era kino kye kisalawo engeri omuntu gye yeeyisaamu.” Omutima gukiikirira ekyo kyennyini kye tuli munda. Ng’ekitabo ekyo bwe kiraga, omutima ky’ekintu Yakuwa ky’akebera era ky’asinga okutwala nga kya muwendo mu baweereza be.​—1 Peet. 3:4.

Mu Baibuli, ebigambo ‘obulongoofu’ ‘n’obuyonjo,’ bisobola okutegeeza obuyonjo obw’omubiri. Ate era ebigambo ebyo bisobola okukozesebwa ku buyonjo obw’empisa n’obw’eby’omwoyo. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abalongoofu mu mutima.” Wano yali ayogera ku abo abayonjo munda. (Mat. 5:8) Abantu ng’abo bye baagala, bye beegomba, n’ebiruubirirwa byabwe byonna biba birongoofu. Era baagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna nga tebaliimu bukuusa. (Luk. 10:27) Tewali kubuusabuusa nti naawe wandyagadde okuba omulongoofu mu ngeri eyo.

Si Kyangu Kuba ‘Mulongoofu mu Mutima’

Ng’oggyeko okuba ‘n’emikono emirungi,’ omuweereza wa Yakuwa era alina okuba “n’omutima omulongoofu.” (Zab. 24:3, 4) Kyokka leero, kyeyongedde okubeera ekizibu eri abaweereza ba Katonda okusigala nga ‘balongoofu mu mutima.’ Olw’okuba tupikirizibwa Sitaani n’ensi eri mu buyinza bwe, nga kw’otadde n’obutali butuukirivu bwaffe, kitubeeredde kizibu okukuuma enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusobola okuziyiza okupikirizibwa okwo, kitwetaagisa okufuba okusigala nga tulina “omutima omulongoofu.” Okukola ekyo kijja kutuyambe okusigala nga tuli mikwano gya Katonda. Kiki ekinaatuyamba okuba n’omutima omulongoofu?

Mu Abebbulaniya 3:12, wagamba nti: “Ab’oluganda, mwegendereze waleme kubaawo n’omu ku mmwe afuna omutima omubi ogutalina kukkiriza olw’okuva ku Katonda omulamu.” Tetusobola kusigala nga tuli ‘balongoofu mu mutima’ singa tufuna omutima “ogutalina kukkiriza.” Njigiriza ki Sitaani Omulyolyomi z’abunyisizza ezireetedde abantu obutaba na kukkiriza mu Katonda? Mu njigiriza ezo mwe muli eyo egamba nti ebintu byajja bifuukafuuka, omuntu y’alina okwesalirawo engeri gy’asaanidde okweyisaamu n’okusinzaamu, n’eyo egamba nti Ebyawandiikibwa Ebitukuvu tebyaluŋŋamizibwa Katonda. Tetulina kukkiriza kubuzaabuzibwa njigiriza ng’ezo ez’akabi. (Bak. 2:8) Okusoma Baibuli buli lunaku n’okufumiitiriza ku bye tusoma, bituyamba okuziyiza enjigiriza ezo. Okumanya okutuufu okuli mu Kigambo kya Katonda kujja kutuyamba okwongera okwagala Yakuwa n’okusiima byonna by’atukolera. Twetaaga okwagala n’okusiima ng’okwo okusobola okwewala endowooza ez’obulimba n’okukuuma okukkiriza kwaffe mu Yakuwa nga kunywevu, ekyo kituyambe okuba n’omutima omulongoofu.​—1 Tim. 1:3-5.

Nga Twolekaganye n’Okwegomba kw’Omubiri

Obuzibu obulala bwe tufuna nga tufuba okuba ‘n’omutima omulongoofu’ busobola okuva ku kwegomba kw’omubiri n’okwagala ebintu. (1 Yok. 2:15, 16) Okwagala ennyo ssente oba eby’obugagga kiyinza okwonoona omutima, ne kireetera Omukristaayo okukola ebintu ebinyiiza Katonda. Abamu bafuuse abatali beesigwa ku mirimu, bakumpanyizza abalala, babbye ssente oba ebintu ebirala.​—1 Tim. 6:9, 10.

Ku luuyi olulala, bwe twewala okunyiiza Yakuwa, ne twagala obwenkanya, era ne tufuba okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, kiba kiraga nti twagala okuba ‘n’omutima omulongoofu.’ Okwagala okwo kutukubiriza “okubeera abeesigwa mu bintu byonna.” (Beb. 13:18) Bwe tufuba okuba abeesigwa kiyinza okutuyamba okuwa obujulirwa. Emilio, Omujulirwa abeera mu Italy era nga muvuzi wa mmotoka mu kitongole ekitambuza abantu, yalonda akasawo akaalimu ssente ezibalirirwamu doola z’Amerika 680. Bakozi banne beewuunya nnyo okulaba nga ssente ezo azikwasizza mukama we oluvannyuma eyazuula nnyini zo n’azimuwa. Abamu ku abo Emilio b’akola nabo baakwatibwako nnyo olw’ekyo kye yakola bwe kityo ne batandika okuyiga Baibuli. N’ekyavaamu, abantu musanvu okuva mu maka abiri bakkiriza amazima. Yee, bwe tuba abeesigwa, kiyinza okuleetera abalala okutendereza Katonda.​—Tit. 2:10.

Ekintu ekirala ekisobola okwonoona omutima gw’Omukristaayo y’endowooza enkyamu ekwata ku kwetaba. Olw’okuba abantu bangi batwala obukaba, obwenzi, n’okulya ebisiyaga ng’ebintu ebya bulijjo, ekyo kiyinza okwonoona omutima gw’Omukristaayo. Omuntu eyenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ayinza okutandika okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, ng’agezaako okukweka ekibi kye. Ekyo kiba kiraga nti ‘omutima gwe si mulongoofu.’

Gabriele yabatizibwa nga wa myaka 15 era amangu ddala yatandika okuweereza nga payoniya. Naye oluvannyuma yatandika okumalira ebiseera bye mu bbaala ng’ali n’emikwano emibi. (Zab. 26:4) Eyo ye yali entandikwa y’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okutambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, ekyamuviirako okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo. Okukangavvulwa okwo kwe yafuna okuva eri Yakuwa kwamuleetera okwekuba mu kifuba. Gabriele agamba nti: “Nnatandika okukola ebintu byonna mu kusooka bye nnali sitwala nga kikulu. Nnasomanga Baibuli buli lunaku, nga nfuba okutegeera ekyo Yakuwa ky’agamba, era nnasomanga n’ebitabo by’ekibiina. Nnalaba obukulu bw’okwesomesa Baibuli n’okusaba essaala eziviira ddala ku mutima.” Ekyo kyayamba Gabriele okuleka ebikolwa eby’obugwenyufu era n’azzaawo enkolagana ye ne Yakuwa.

Gabriele yaddamu okuweereza nga payoniya wamu ne mukyala we. Ebyo ebyamutuukako biraga engeri okwesomesa Baibuli n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” gye biyamba omuntu okuba n’omutima omulongoofu n’okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.​—Mat. 24:45; Zab. 143:10.

Okuba ‘n’Omutima Omulongoofu’ ng’Oli mu Bizibu

Okuziyizibwa, eby’enfuna okuzibuwala, n’obulwadde obw’amaanyi bireetedde abamu ku baweereza ba Katonda okuggwaamu amaanyi. Oluusi ekyo kikosezza n’emitima gyabwe. Kabaka Dawudi eyayita mu mbeera ng’eyo yagamba nti: “Omwoyo gwange kye guvudde guzirika munda yange; omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.” (Zab. 143:4) Kiki ekyamuyamba okuvvuunuka embeera eyo? Dawudi yajjukiranga engeri Katonda gy’akolaganamu n’abaweereza be era n’engeri gye yali amununuddemu. Yalowoozanga ku ebyo Yakuwa bye yali akoze ku lw’erinnya Lye ekkulu, era yafumiitirizanga ku bikolwa bya Katonda. (Zab. 143:5) Mu ngeri y’emu, okufumiitiriza ku Mutonzi waffe ne ku bintu byonna by’akoze, era ne ku ebyo by’atukolera kijja kutuyamba nga twolekaganye n’ebizibu.

Bwe wabaawo omuntu atuyisizza obubi, kiyinza okutuviirako okunyiiga. Okumalira ebirowoozo byaffe ku kintu ekikyamu ow’oluganda ky’aba atukoze, kiyinza okutuleetera okufuna endowooza enkyamu. Kino kiyinza okutuleetera okulekera awo okukolagana n’abalala, okweyawula, oba obutafaayo ku balala. Naye ddala bwe tukola tutyo tuba tulaga nti twagala okuba ‘n’omutima omulongoofu’? Kya lwatu nti okuba n’omutima ng’ogwo kikwata ku ngeri gye tukolaganamu ne Bakristaayo bannaffe n’engeri gye tweyisaamu nga tufunye obutategeeragana nabo.

Mu nsi eno eyeeyongera okwonooneka mu mpisa, ffe Abakristaayo ab’amazima tuli ba njawulo olw’okuba twagala okuba ‘n’omutima omulongoofu.’ Bwe tufuba okukola Katonda by’ayagala, tufuna emirembe mu mutima ekyo ne kifuula obulamu bwaffe okuba obw’amakulu. N’ekisinga byonna, tufuna enkolagana ennungi n’Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, oyo ayagala abo abalina “emitima emirongoofu.” (Zab. 73:1) Yee, tusobola okuba mu abo abajja okuba abasanyufu kubanga, nga Yesu bwe yagamba, “baliraba Katonda,” bw’Aliba awa emikisa abo abalina “omutima omulongoofu.”​—Mat. 5:8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza