Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ezeekyeri 18:20, awagamba nti “omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe,” lukontana ne Okuva 20:5, awagamba nti Yakuwa ‘awalana abaana ebibi bya bakitaabwe’?
Ebyawandiikibwa ebyo tebikontana. Ekimu kiraga nti omuntu avunaanibwa olw’ekibi ky’aba akoze, ate ekirala kiraga nti ensobi y’omuntu esobola okukosa ne bazzukulu be.
Ennyiriri eddala eziri mu Ezeekyeri essuula 18 ziraga nti omuntu avunaanyizibwa olw’ekibi kye. Olunyiriri 4 lugamba nti: “Emmeeme ekola ekibi [y’]erifa.” Ate kiri kitya ku muntu ‘omutuukirivu akola ebyalagirwa era eby’ensonga’? Omuntu oyo “talirema kuba mulamu.” (Ez. 18:5, 9) Bwe kityo, omuntu bw’aba akuze ekimala okusobola okwesalirawo, olwo aba avunaanibwa “ng’amakubo ge bwe gali.”—Ez. 18:30.
Omusingi guno gweyoleka bulungi mu ebyo ebyatuuka ku Muleevi ayitibwa Koola. Mu kiseera Abaisiraeri lwe baali mu ddungu, Koola yatuuka n’aba nga takyali mumativu na nkizo za buweereza ze yalina. Mu kugezaako okweddiza obwakabona, Koola n’abalala baajeemera Musa ne Alooni, abo Yakuwa be yali alonze okumukiikirira. Olw’okwetulinkiriza ne baagala okutwala ekifo ky’obwakabona—enkizo eyali tebaweereddwa—Yakuwa yatta Koola ne bajeemu banne. (Kubal. 16:8-11, 31-33) Kyokka bo batabani ba Koola tebaali mu abo abaajeema. Katonda teyabavunaana olw’ekibi kya kitaabwe. Baawonawo olw’okuba baali beesigwa eri Yakuwa.—Kubal. 26:10, 11.
Ate kiri kitya ku kulabula, okuli mu Mateeka Ekkumi, okusangibwa mu Okuva 20:5? Ne wano ka twetegereze ennyiriri endala eziriraanyewo. Yakuwa yakola endagaano y’Amateeka n’eggwanga lya Isiraeri. Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo ebyali mu ndagaano eyo, Abaisiraeri baagamba nti: ‘Byonna Mukama by’ayogedde tuli beetegefu okubikola.’ (Kuv. 19:5-8) Bwe kityo, eggwanga lyonna okutwalira awamu lyatandika okukolagana ne Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. N’olwekyo, ebigambo ebiri mu Okuva 20:5 byali bikwata ku ggwanga lyonna okutwalira awamu.
Abaisiraeri bwe baasigalanga nga beesigwa eri Yakuwa, eggwanga lyabwe lyafunanga emikisa mingi. (Leev. 26:3-8) Ku luuyi olulala, Abaisiraeri bwe baajeemeranga Yakuwa ne basinza bakatonda abalala, yalekeranga awo okubawa emikisa gye n’obukuumi bwe, bwe kityo Abaisiraeri ng’eggwanga baabonaabonanga. (Balam. 2:11-18) Wadde kyali kityo, waaliwo abamu abaasigalanga nga beesigwa eri Katonda era nga bakwata ebiragiro bye wadde ng’eggwanga lyabwe lyabanga lyewaggudde ne lisinza bakatonda ab’obulimba. (1 Bassek. 19:14, 18) Kyo kituufu nti Abaisiraeri abeesigwa nabo baafunanga ebizibu olw’ebibi ebyakolebwanga eggwanga lyabwe, naye Yakuwa yabalaganga ekisa.
Eggwanga lya Isiraeri bwe lyayitiriza okumenya emisingi gya Yakuwa erinnya lye ne lituuka n’okuvumibwa mu b’amawanga, Yakuwa yasalawo okubonereza abantu be ng’abaleka okutwalibwa mu buwambe e Babulooni. Kino yakikola ng’abonereza abantu abamu era n’eggwanga lyonna okutwalira awamu. (Yer. 52:3-11, 27) Baibuli eraga nti ebibi by’eggwanga lya Isiraeri byali bya maanyi nnyo ne kiba nti byakwata ne ku mirembe egya bannakasatwe, n’egya bannakana, oboolyawo n’okweyongerayo, nga bwe kiragibwa mu Okuva 20:5.
Ekigambo kya Katonda kyogera ne ku maka agamu agaabonerezebwa olw’ensobi ezaakolebwa abazadde. Kabona Omukulu Eri yanyiiza nnyo Yakuwa bwe yaleka batabani be abaali bakola ebikolwa eby’obugwenyufu okweyongera okuweereza nga bakabona. (1 Sam. 2:12-16, 22-25) Olw’okuba Eri yawa batabani be ekitiibwa okusinga Yakuwa, Katonda yasalawo nti ab’ennyumba ya Eri baali baakuggibwako enkizo ey’okuweereza nga bakabona abakulu, era nga kino kyatandikira ku Abiyasaali muzzukulu wa muzzukulu we. (1 Sam. 2:29-36; 1 Bassek. 2:27) Omusingi oguli mu Okuva 20:5 gweyolekera ne mu ebyo ebyatuuka ku Gekazi. Yakozesa bubi ekifo kye ng’omuweereza wa Erisa asobole okwefunira ebintu okuva ku Naamani omukulu w’eggye lya Busuuli eyali awonyezeddwa ebigenge. Okuyitira mu Erisa, Yakuwa yamusalira omusango ng’amugamba nti: “Ebigenge bya Naamani bineegatta naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.” (2 Bassek. 5:20-27) N’olwekyo, ekyo Gekazi kye yakola kyakwata ne ku bazzukulu be.
Ng’Omutonzi era Ensibuko y’obulamu, Yakuwa y’alina obuyinza obw’enkomeredde okusalawo ekibonerezo ekisaanidde okuweebwa oyo aba eyonoonye. Ebyokulabirako ebyo biraga nti abaana oba abazzukulu bayinza okukwatibwako olw’ebibi bya bakitaabwe oba bajjajjaabwe. Kyokka, Yakuwa “awulira okukaaba kw’abo ababonyaabonyezebwa,” era abo abadda gy’ali abalaga ekisa era bafuna obuweerero.—Yob. 34:28.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Koola ne bajeemu banne baavunaanibwa olw’ebikolwa byabwe