LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w09 6/15 lup. 28-31
  • Okusigira—Lwaki Kirungi era Kiyinza Kukolebwa Kitya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okusigira—Lwaki Kirungi era Kiyinza Kukolebwa Kitya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okusigira Kye Ki?
  • Lwaki Tusaanidde Okusigira?
  • Ensonga Lwaki Abamu Batya Okusigira
  • Engeri y’Okusigiramu Abalala Obuvunaanyizibwa
  • Abasajja Abeetoowaze Batendeka Abalala era ne Babawa Obuvunaanyizibwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Ba Mwetoowaze ng’Otambula ne Katonda Wo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Ebintu Bino “Bitegeeze Abasajja Abeesigwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Mutendeke Ab’oluganda Okuweereza mu Kibiina
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 6/15 lup. 28-31

Okusigira​—Lwaki Kirungi era Kiyinza Kukolebwa Kitya?

OKUSIGIRA kwava dda nnyo nga n’ensi tennabaawo. Yakuwa yatonda Omwana we eyazaalibwa omu yekka, era yamukozesa “ng’omukozi we omukugu” ng’atonda eggulu n’ensi. (Nge. 8:22, 23, 30, NW; Yok. 1:3) Katonda bwe yatonda abantu ababiri abaasooka, yabagamba ‘bajjuze ensi era bagirye.’ (Lub. 1:28) Omutonzi yakwasa abantu abo obuvunaanyizibwa obw’okugaziya Olusuku Adeni lubune ensi yonna. Yee, okuviira ddala ku ntandikwa okusigira ebadde nkola ya Yakuwa awamu n’abo abamuweereza.

Okusigira kizingiramu ki? Lwaki abakadde balina okuyiga okusigira abalala obuvunaanyizibwa obumu mu kibiina, era kino bayinza kukikola batya?

Okusigira Kye Ki?

“Okusigira” kitegeeza “okukwasa omulala; okulonda omuntu okukukiikirira; okuwa obuvunaanyizibwa oba obuyinza.” (Merriam-Webster’s Collegiate Dictionary, 11th Edition) N’olwekyo, okusigira kitegeeza okubaako abalala bw’okwasa obumu ku buvunaanyizibwa bwo. Ekyo kiba kitegeeza okuwa abalala obuyinza.

Ab’oluganda abaweebwa emirimu mu kibiina Ekikristaayo basuubirwa okugituukiriza obulungi, okunnyonnyola engeri gye gitambulamu, oluusi n’okwebuuza ku oyo eyagibakwasa. Kyokka ow’oluganda aba abakwasizza obuyinza asigala nga y’avunaanyizibwa ku mulimu ogukolebwa. Aba alina okufaayo ku ngeri gye gukolebwamu n’okuwa amagezi nga bwe kiba kyetaagisa. Naye abamu bayinza okubuuza nti, ‘Omulimu bw’oba osobola okugwekolera, lwaki osigira?’

Lwaki Tusaanidde Okusigira?

Lowooza ku Yakuwa eyatonda Omwana we eyazaalibwa omu yekka era n’amukozesa ng’atonda ebintu ebirala byonna. Yee, “okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika.” (Bak. 1:16) Omutonzi yali asobola okwekolera buli kimu, naye yasalawo agabane n’Omwana we essanyu ly’okukola omulimu gw’okutonda. (Nge. 8:31) Kino kyayamba Omwana okuyiga obulungi engeri za Kitaawe, era ne Katonda kyamusobozesa okutendeka Omwana we eyazaalibwa omu yekka.

Bwe yali ku nsi, Yesu Kristo yakoppa Kitaawe mu kusigira abalala obuvunaanyizibwa. Yagenda atendeka mpolampola abayigirizwa be mu mulimu gw’okubuulira. Yasooka n’asindika abatume 12, oluvannyuma n’aweereza abayigirizwa abalala 70 bakulemberemu. (Luk. 9:1-6; 10:1-7) Yesu yagendanga okutuuka mu bitundu gye bamaze okubuulira, nga bamuteereddewo omusingi kw’atandikira. Bwe yali addayo mu ggulu, Yesu yasigira abayigirizwa be obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, omwali n’okukola omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna.​—Mat. 24:45-47; Bik. 1:8.

Okusigira n’okutendeka yafuuka nkola ya kibiina Ekikristaayo. Omutume Pawulo yagamba Timoseewo nti: ‘Ebintu bye wawulira bitegeeze abasajja abeesigwa basobole okuba n’ebisaanyizo by’okuyigiriza abalala.’ (2 Tim. 2:2) Yee, abo abalina obumanyirivu balina okutendeka bannaabwe, era n’abo be batendese batendeke abalala.

Omukadde bw’asigira abalala obuvunaanyizibwa bwe obumu, aba agabana nabo essanyu eriva mu kuyigiriza n’okukyalira ab’oluganda. Eky’okuba nti obusobozi bw’abantu buliko we bukoma nakyo kyandikubirizza abakadde okusigira abalala obuvunaanyizibwa obumu mu kibiina. Baibuli egamba nti: “Amagezi gaba n’abeetoowaz[e].” (Nge. 11:2) Omuntu omwetoowaze aba amanyi obusobozi bwe we bukoma. Bw’onoogezaako okwekolera buli kimu, ojja kukoowa ekisusse, era tojja kufuna biseera bimala kubeerako na ba mu maka go. N’olwekyo kiba kya magezi obuvunaanyizibwa obumu okubusigira abalala. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda akwanaganya akakiiko k’abakadde ayinza okusaba abakadde abalala okutunula mu fayiro y’eby’embalirira y’ekibiina. Okutunula mu biwandiiko ebyo kiyamba abakadde abo okutegeera ekibiina bwe kiyimiridde mu by’ensimbi.

Ng’oggyeko okuba nti okusigira kiyamba abalala okufuna obumanyirivu, kiwa oyo asigira akakisa okumanya obusobozi abo b’asigidde omulimu bwe balina. Bwe kityo, okusigira abalala obuvunaanyizibwa kiyamba abakadde ‘okugezesa’ ab’oluganda, balabe abo abasobola okukola ng’abaweereza mu kibiina.​—1 Tim. 3:10.

N’ekisembayo, abakadde bwe basigira abalala obuvunaanyizibwa kiba kiraga nti babeesiga. Pawulo yatendekanga Timoseewo nga bakola omulimu gw’obuminsani. Ab’oluganda abo bombi baafuna enkolagana ey’amaanyi ennyo, Pawulo n’atuuka n’okuyita Timoseewo ‘omwana we ddala mu kukkiriza.’ (1 Tim. 1:2) Mu ngeri y’emu, Yakuwa ne Yesu baafuna enkolagana ey’amaanyi nga bakolera wamu mu kutonda ebintu ebirala byonna. Bwe kityo, abakadde banyweza enkolagana yaabwe n’abalala mu kibiina bwe babasigira obuvunaanyizibwa.

Ensonga Lwaki Abamu Batya Okusigira

Wadde nga bamanyi nti okusigira kirungi, abakadde abamu tebaagala kukikola nga balowooza nti baba beggyeko obuyinza. Bayinza okuwulira nti buli kimu be balina okukyekwatiramu. Naye kikulu okukijjukira nti bwe yali addayo mu ggulu, Yesu yawa abayigirizibwa be obuyinza okukola omulimu omunene ennyo, era yali mukakafu nti bandikoze ebintu ebisinga ebibye!​—Mat. 28:19, 20; Yok. 14:12.

Abakadde abalala bayinza okuba nga baasigirako abalala emirimu ne batagikola bulungi, ate nga bo baali basobola okugyekolera obulungi era mu bwangu. Naye lowooza ku kyokulabirako kya Pawulo. Yali amanyi emiganyulo egiri mu kusigira, naye era yali akimanyi nti ab’oluganda abamu be yandiwadde obuvunaanyizibwa tebandibutuukirizza nga bw’ayagala. Bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olusooka, Pawulo yatendeka omuvubuka gwe yali agenze naye, Makko. Pawulo teyali musanyufu n’akamu Makko bwe yamulekulira n’addayo ewaabwe. (Bik. 13:13; 15:37, 38) Naye ekyo tekyalobera Pawulo kutendeka balala. Nga bwe twalabye waggulu, yasaba omuvubuka Omukristaayo Timoseewo ne bagenda bombi. Ekiseera bwe kyatuuka nga Timoseewo asobola okwetikka obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, Pawulo yamuleka mu Efeso era yamuwa obuyinza okulonda abakadde n’abaweereza mu kibiina.​—1 Tim. 1:3; 3:1-10, 12, 13; 5:22.

Mu ngeri y’emu, abakadde leero tebasaanye kulekayo kutendeka ba luganda olw’okuba waliwo gwe baatendeka n’atalaga kusiima. Kikulu nnyo era kiba kya magezi okwesiga abalala n’okubatendeka. Naye bintu ki abakadde bye balina okulowoozaako nga basigira abalala obuvunaanyizibwa?

Engeri y’Okusigiramu Abalala Obuvunaanyizibwa

Bw’oba osigira ab’oluganda obuvunaanyizibwa, lowooza ku bisaanyizo bye balina. Bwe wajjawo obwetaavu bw’okugabanyanga emmere buli lunaku mu Yerusaalemi, abatume baalonda ‘abasajja musanvu abasaanira era abajjudde omwoyo omutukuvu n’amagezi.’ (Bik. 6:3) Bwe kiba nti ow’oluganda gw’oyagala okusigira tomwekakasa bulungi, tomuwa buvunaanyizibwa bwa maanyi obuyinza okumulema. Bw’osooka okumuwa obulimu obutonotono n’abukola obulungi, ayinza okusobola okwetikka obuvunaanyizibwa obusingawo.

Naye waliwo n’ebirala ebizingirwamu. Buli omu aba n’obusobozi bwe era aba wa njawulo ku mulala. Obumanyirivu mu bantu nabwo buba bwa njawulo. Ow’oluganda ow’ekisa era omucamufu ayinza okwanguyirwa okukola omulimu gw’okwaniriza abantu, ate oyo amanyi okuteekateeka obulungi ebintu ayinza okukola obulungi ng’omuyambi w’omuwandiisi w’ekibiina. Ate bwe wabaawo mwannyinaffe amanyi eby’okutimba, ayinza okusabibwa okuteekateeka ebimuli by’omukolo gw’Ekijjukizo.

Bw’oba owa omuntu obuvunaanyizibwa, munnyonnyole bulungi ky’alina okukola. Bwe yali asindika ababaka eri Yesu, Yokaana Omubatiza yabannyonnyola kye yali ayagala okumanya, n’ababuulira n’ebigambo bye baalina okukozesa. (Luk. 7:18-20) Ate ye Yesu bwe yagamba abayigirizwa okukuŋŋaanya emmere eyali eremye abantu, yabaleka beesalirewo eky’okugikolera. (Yok. 6:12, 13) Ekikulu kwe kulowooza ku mulimu ogulina okukolebwa ne ku bisaanyizo oyo gw’oyagala agukole by’alina. Omuntu asigira era n’oyo gwe basigira obuvunaanyizibwa bombi basaanidde okukkaanya ku kiki ekirina okukolebwa, ne ddi oyo asigiddwa lw’alina okuleeta alipoota. Era bombi balina okumanya bintu ki omusigire by’alina okwesalirawo. Omulimu bwe guba nga gulina kuggwa mu kiseera ekigereke, kiba kirungi okukiteesaako mwembi ne mukkaanya, mu kifo ky’okulagira obulagizi.

Omuntu bw’asigirwa obuvunaanyizibwa aba alina okuweebwa bye yeetaaga gamba nga ssente n’ebikola ebirala. Oluusi kiba kirungi okutegeezaako abalala ku nteekateeka eyo. Yesu bwe yagamba okuwa Peetero “ebisumuluzo by’obwakabaka obw’omu ggulu,” yakyogera ng’abayigirizwa abalala weebali. (Mat. 16:13-19) Mu ngeri y’emu, oluusi kiba kirungi okutegeeza ekibiina abo abalina obuvunaanyizibwa ku bintu ebimu.

Naye kyetaagisa okuba omwegendereza ennyo. Omulimu bw’omala okugusigira omulala ate n’otandika okweyingiza mu nzirukanya yaagwo, oba ng’amugamba nti, “Sikwesiga.” Kituufu nti ebintu biyinza obutakolebwa bulungi nga bw’oyagala. Naye ow’oluganda bw’asigirwa obuvunaanyizibwa era n’aweebwa omukisa okubutuukiriza, kimuyamba okweyongera okuyiga n’okufuna obumanyirivu. Kino tekitegeeza nti oyo eyamukwasa omulimu ogwo talina kufaayo ku ngeri gye gukolebwamu. Wadde nga yasigira Omwana we obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kutonda ebintu ebirala byonna, Yakuwa kennyini yeenyigira mu mulimu ogwo. Yagamba Omukozi we Omukugu nti: ‘Tukole omuntu mu ngeri yaffe.’ (Lub. 1:26) N’olwekyo, mu bigambo ne mu bikolwa, wagira omulimu ogukolebwa era siima gwe wagusigira olw’ebirungi by’akola. Okutuula naye okulaba engeri omulimu gye gutambulamu kiyinza okumuyamba. Bwe wabaawo ebitagenda bulungi, tolonzalonza kumuwa magezi oba buyambi obwetaagisa. Jjukira nti ggwe wamusigira omulimu ogwo era obuvunaanyizibwa obusinga buli mu mikono gyo.​—Luk. 12:48.

Bangi baganyuddwa nnyo mu kukola emirimu gy’ekibiina egibasigirwa abakadde. Yee, abakadde bonna beetaaga okumanya ensonga lwaki kirungi okusigira, n’engeri gye balina okukikolalmu, basobole okukoppa Yakuwa.

[Akasanduuko akali ku lupapula 29]

BW’OSIGIRA

• oba ogabana n’abalala essanyu eriva mu mulimu ogukolebwa

• oba osobola okukola ebisingawo

• oba oyoleka amagezi n’obwetoowaze

• oba owa abalala omukisa okutendekebwa

• oba olaga nti olina obwesige mu balala

[Akasanduuko akali ku lupapula 30]

ENGERI Y’OKUSIGIRAMU

• Londa abantu abalina ebisaanyizo

• Bannyonnyole bulungi

• Balage ekirina okukolebwa

• Kakasa nti ebikozesebwa weebiri

• Faayo ku mulimu ogukolebwa, era weesige oyo agukola

• Kijjukire nti ggwe ovunaanyizibwa ku mulimu ogukolebwa

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]

Okusigira kizingiramu okuwa abalala emirimu n’okufaayo ku ngeri gye gikolebwamu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza