Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Yesu yali yayita mu Isiraeri yonna ng’abuulira. Kati olwo lwaki omutume Peetero yagamba nti eky’okumutta Abayudaaya n’abakulembeze bwabwe ‘baakikola mu butamanya’?—Bik. 3:17.
Bwe yali ayogera eri ekibinja ky’Abayudaaya ku ngeri gye baali bavunaanyizibwa ku kufa kwa Masiya, omutume Peetero yagamba nti: “Nkimanyi nti ekyo mwakikola mu butamanya, era ng’abafuzi bammwe bwe baakola.” (Bik. 3:14-17) Abayudaaya abamu bayinza okuba nga tebaamanya nti Yesu ye yali Masiya, oba nga tebaategeera njigiriza ze. Ate abalala bayinza okuba nga tebaamutegeera olw’obutaagala kukola Katonda by’ayagala, olw’obunyoomi, obuggya n’obukyayi.
Lowooza ku ngeri abantu gye baatwalamu ebyo Yesu bye yayigiriza olw’okuba baali tebaagala kukola Katonda by’ayagala. Yesu yateranga okuyigiriza ng’akozesa ebyokulabirako era yabinnyonnyolanga abo bonna abaali baagala okubitegeera. Kyokka abamu baatambulanga ne bagenda nga tebafuddeeyo kutegeera bye yali ayigiriza. Lumu, n’abamu ku bayigirizwa be bennyini baamwabulira olw’ekyokulabirako kye yali akozesezza ng’ayigiriza. (Yok. 6:52-66) Abantu ng’abo baalemwa okukiraba nti mu kukozesa ebyokulabirako, Yesu yali abagezesa kulaba obanga baali beetegefu okukyusa endowooza yaabwe n’ebikolwa byabwe. (Is. 6:9, 10; 44:18; Mat. 13:10-15) Era tebaalowooza ku bunnabbi obwalagula nti Masiya yali wa kukozesa ebyokulabirako mu kuyigiriza kwe.—Zab. 78:2.
Abalala bunyoomi bwe bwabalemesa okukkiriza Yesu bye yayigiriza. Abantu ‘baawuniikirira’ nnyo olw’ebyo bye yayigiriza ng’ali mu kkuŋŋaaniro ly’omu kibuga ky’ewaabwe, Nazaaleesi. Kyokka mu kifo ky’okukkiriza nti ye yali Masiya, badda mu kitunuulira bikwata ku maka mwe yali ava: “Omusajja ono yaggya wa ebintu bino? . . . Ono si ye mubazzi, mutabani wa Maliyamu era muganda wa Yakobo, ne Yusufu, ne Yuda, ne Simooni? Ne bannyina tebali naffe wano?” (Mak. 6:1-3) Abantu b’e Nazaaleesi baagaana okukkiriza Yesu bye yayigiriza olw’okuba yava mu maka maavu.
Ate kyali kitya ku bakulembeze b’eddiini? Abasinga obungi nabo baagaana okukkiriza Yesu bye yayigiriza olw’ensonga eziringa ezo. (Yok. 7:47-52) Baakwatibwa obuggya ne basambajja bye yayigiriza olw’abantu abangi abaagendanga okumuwuliriza. (Mak. 15:10) N’abalala bangi baamukyawa olw’okubaatuukiriza nti baali balimba era bannanfuusi. (Mat. 23:13-36) Yesu yabanenya olw’okwefuula abatamumanyi ng’agamba nti: “Zibasanze mmwe abamanyi obulungi Amateeka, kubanga mwaggyawo ekisumuluzo ky’okumanya; mmwe mwennyini ne mutayingira [mu Bwakabaka] ate ne muziyiza n’abo abayingira!”—Luk. 11:37-52.
Yesu yamala emyaka esatu n’ekitundu ng’abuulira amawulire amalungi mu Isiraeri. Yatendeka n’abalala bangi okukola omulimu ogwo. (Luk. 9:1, 2; 10:1, 16, 17) Olw’okuba omulimu ogwo Yesu n’abayigirizwa be baagukola n’obunyiikivu, Abafalisaayo baatuuka n’okugamba nti: ‘Mulabe! Ensi yonna emugoberedde.’ (Yok. 12:19) N’olwekyo, si kituufu nti Abayudaaya abasinga baali tebamanyi bikwata ku Yesu. Naye okutwalira awamu baali “mu butamanya” ku bikwata ku Yesu nga Masiya. Baali basobola okweyongera okumanya Masiya oyo n’okumwagala, naye tebaakikola. Abamu beenyigira ne mu lukwe lw’okumutta. Eno ye nsonga lwaki omutume Peetero yakubiriza bangi ku bo nti: “Mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisobole okuggibwawo, Yakuwa kennyini alyoke abawe ebiro eby’okuwummuliramu, era abatumire Kristo gwe yabalondera, ng’oyo ye Yesu.” (Bik. 3:19, 20) Bwe kityo Abayudaaya nkumi na nkumi, omwali ne “bakabona bangi,” baatandika okuwuliriza. Baava mu butamanya ne beenenya era ne bafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Bik. 2:41; 4:4; 5:14; 6:7.