Beera Mugonvu, Toba Mukakanyavu
“Weeyongere okubajjukizanga . . . obutaba bakakanyavu.”—TITO 3:1, 2, NW.
1, 2. Ebyawandiikibwa byogera ki ku butaba mukakanyavu, era lwaki kino kisaanira?
AMAGEZI ga Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, tegaliiko kkomo. Olw’okuba ye yatutonda, ye gwe tutunuulira okutuwa obulagirizi mu bulamu. (Zab. 48:14) Omuyigirizwa Yakobo atugamba nti “amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu [“si makakanyavu,” NW], mawulize, agajjude okusaasira n’ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.”—Yak. 3:17.
2 Omutume Pawulo agamba nti: “Obuwombeefu [“Obutali bukakanyavu,” NW] bwammwe bumanyibwenga abantu bonna.”a (Baf. 4:5) Kristo Yesu ye Mukama waffe era ye Mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (Bef. 5:23) Nga kikulu nnyo buli omu ku ffe okugondera obulagirizi bwa Kristo n’obutaba bakakanyavu nga tukolagana n’abalala!
3, 4. (a) Waayo ebyokulabirako ebiraga emiganyulo egiri mu butaba bakakanyavu. (b) Biki bye tugenda okwetegereza?
3 Obutaba mukakanyavu kya muganyulo. Ng’ekyokulabirako: Bwe kyategeerekeka nti bannalukalala baali balina kye bategeka okukola mu Bungereza, abantu bangi abatambulira mu nnyonyi baali beetegefu okukolera ku kiragiro ky’obutaleeta bintu ebimu bye baali bakkirizibwa mu kusooka. N’omuvuzi wa mmotoka bw’atuuka ku nkulungo kiyinza okumwetaagisa okusooka okuleka abavuzi abalala okuyitawo, waleme kubaawo kalippagano oba kabenje.
4 Si kyangu eri abasinga obungi ku ffe okwewala okuba abakakanyavu. Okutuyamba obutaba bakakanyavu, ka twetegereze ebintu bisatu: ensonga lwaki twandibadde bagonvu so si bakakanyavu, engeri gye tutwalamu abalina obuyinza, ne wa we tulina okukoma okuba abagonvu.
Lwaki Tetwandibadde Bakakanyavu?
5. Mu kiseera ky’Amateeka ga Musa, kiki ekyayinzanga okuleetera omuddu okusalawo okusigala ne mukama we?
5 Waliwo ekyokulabirako eky’edda ekiraga ensonga lwaki twandibadde bagonvu. Mu Mateeka ga Musa, Abaisiraeri abaddu baalina okuteebwa mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obuddu bwabwe oba mu mwaka gwa Jjubiri. Kyokka omuddu yalinga asobola okusalawo okusigala mu buddu. (Soma Okuva 21:5, 6.) Kiki ekyandireetedde omuddu okukola bw’atyo? Kwagala kwe kwamuleeteranga okusalawo okusigala mu buddu ne mukama we ow’ekisa.
6. Okwagala kulina kakwate ki n’obutaba bakakanyavu?
6 Mu ngeri y’emu, naffe okwagala kutuleetera okwewaayo eri Yakuwa ne tutuukiriza obweyamo bwaffe gy’ali. (Bar. 14:7, 8) Omutume Yokaana yawandiika nti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yok. 5:3) Okwagala kuno tekwenoonyeza byakwo. (1 Kol. 13:4, 5) Bwe tunaaba n’okwagala eri abalala kijja kutuyamba obutaba bakakanyavu nga tukolagana nabo, era tukulembeze bye baagala. Mu kifo ky’okwefaako ffekka, tufaayo ku byetaago by’abalala.—Baf. 2:2, 3.
7. Obutaba bakakanyavu kituyamba kitya mu buweereza?
7 Bye twogera awamu n’ebyo bye tukola tebisaanidde kwesittaza balala. (Bef. 4:29) Mu butuufu, okwagala kutukubiriza okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okulemesa abantu abalala okukulaakulana ne bafuuka baweereza ba Yakuwa. Emirundi mingi, kino kiba kitwetaagisa obutagugubira ku kye twagala. Ng’ekyokulabirako, bannyinaffe abaminsani tebakalambira ku kwekolako oba okwambala mu ngeri gye baamanyiira, bwe kiba nga kyesittaza abantu b’omu kitundu gye baweereza.—1 Kol. 10:31-33.
8. Okwagala Katonda kuyinza kutya okutuyamba okweyisa ‘ng’asinga obuto’?
8 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuyamba okweggyamu amalala. Lumu abayigirizwa bwe baamala okuwakana ku ani mu bo eyali asinga obukulu, Yesu yasimba omwana omuto wakati waabwe. Yabagamba nti: “Buli anaasembezanga omwana omuto ono mu linnya lyange, ng’asembeza nze, na buli anaasembezanga nze, ng’asembezza eyantuma: kubanga asinga obuto mu mmwe mwenna oyo ye mukulu.” (Luk. 9:48; Mak. 9:36) Kiyinza okutuzibuwalira okwetwala nga “asinga obuto.” Obutali butuukirivu bwaffe n’amalala biyinza okutuleetera okwagala ekifo ekya waggulu, naye obwetowaaze butuyamba obuteegulumiza.—Bar. 12:10.
9. Obutaba bakakanyavu kitwaliramu ki?
9 Obutaba bakakanyavu kitwaliramu n’okulaga nti tussa ekitiibwa mu abo Katonda b’awadde obuyinza. Abakristaayo bonna ab’amazima bategeera bulungi omusingi omukulu ogw’okugondera obukulembeze. Ng’ayogera ku musingi guno omutume Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”—1 Kol. 11:3.
10. Bwe tugondera Yakuwa kiba kiraga ki?
10 Bwe tugondera Katonda kiba kiraga nti tumwesiga nga Kitaffe ow’okwagala. Amanyi buli kimu kyonna ekibaawo era ajja kutuwa empeera nga bwe kisaanira. Kino kirungi okukijjukira bwe waba nga waliwo abatuyisizza obubi oba abatukayukidde. Pawulo yawandiika nti: “Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n’abantu bonna.” Pawulo era yagamba nti: “Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama.”—Bar. 12:18, 19.
11. Tuyinza tutya okulaga nti tugondera obukulembeze bwa Kristo?
11 Era tusaanidde okugondera obukulembeze Katonda bw’ataddewo mu kibiina Ekikristaayo. Essuula esooka mu Okubikkulirwa eraga nti Kristo Yesu akutte “emmunyeenye” z’ekibiina mu mukono gwe ogwa ddyo. (Kub. 1:16, 20) Okutwalira awamu, “emmunyeenye” zino zikiikirira obukiiko bw’abakadde oba abalabirizi mu bibiina. Abalabirizi abo bagondera obukulembeze bwa Kristo era bakoppa engeri ey’ekisa gye yakolaganangamu n’abantu. Bonna abali mu kibiina bakkiriza enteekateeka Kristo gye yateekawo ‘ey’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ okubagabiranga emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo. (Mat. 24:45-47) Bwe tusoma era ne tussa mu nkola ebintu ebyo bye tuyigirizibwa tuba tulaga nti tugondera obukulembeze bwa Kristo, era kino kireetawo emirembe n’obumu.—Bar. 14:13, 19.
Tulina Kukoma Wa mu Kulaga Obugonvu?
12. Lwaki okulaga obugonvu kirina okubaako ekkomo?
12 Kyokka, okugonda tekitegeeza kwekkiriranya bwe kituuka ku nzikiriza zaffe oba emisingi egy’obutuukirivu gye tugoberera. Abakristaayo baakola ki ng’abakulembeze b’eddiini babalagidde okulekera awo okuyigiriza mu linnya lya Yesu? Peetero n’abatume abalala baagamba: “Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.” (Bik. 4:18-20; 5:28, 29) N’olwekyo, ab’obuyinza bwe batugaana okubuulira amawulire amalungi, tetulekera awo, wadde ng‘ekyo kiyinza okwetaagisa okukyusa mu ngeri gye tubuuliramu. Singa tugaanibwa okubuulira nnyumba ku nnyumba, tuyinza okutuukirira abantu mu ngeri endala ne tweyongera okukola omulimu gwaffe ogwatuweebwa Katonda. Era “abakulu abafuga” bwe bawera enkuŋŋaana zaffe, tusala amagezi ne tukuŋŋaana mu bubinja obutonotono.—Bar. 13:1; Beb. 10:24, 25.
13. Yesu yayogera ki ku kugondera ab’obuyinza?
13 Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalaga nti kyetaagisa okugondera ab’obuyinza: “Singa omuntu ayagala okukutwala mu mbuga z’amateeka asobole okutwala ekyambalo kyo eky’omunda, omuwanga n’eky’okungulu. Omuntu ali mu buyinza bw’akuwalirizanga okutambula naye mayiro emu, otambulanga naye mayiro bbiri.” (Mat. 5:40, 41, NW)b Okufaayo ku balala n’okwagala okubayamba nabyo bisobola okutukubiriza okubakolera ekisinga ne ku kye baba batusabye.—1 Kol. 13:5; Tito 3:1, 2.
14. Lwaki tetulina kuwuliriza bakyewaggula?
14 Wadde nga tulina okulaga obugonvu, tetusaanidde kuwuliriza bakyewaggula. Tulina okuba abanywevu ku nsonga eno okusobola okukuuma obumu bw’ekibiina era n’amazima okusobola okusigala nga malongoofu. Ng’ayogera ku “b’oluganda ab’obulimba,” Pawulo yawandiika nti: “Abo tetwabagonderako ssaawa n’emu okufugibwa bo; amazima g’enjiri ganywerenga gye muli.” (Bag. 2:4, 5) Wadde nga tebutera kubaawo, obwakyewaggula bwe bubalukawo, Abakristaayo balina okunywerera ku kituufu.
Abalabirizi Tebalina Kuba Bakakanyavu
15. Abakadde bayinza batya okulaga nti si bakakanyavu bwe baba n’ensonga ze bateesaako?
15 Ekimu ku bisaanyizo oyo alondebwa okuweereza ng’omulabirizi by’alina okutuukiriza bwe butaba mukakanyavu. Pawulo yawandiika nti: ‘Omulabirizi kimugwanira obutaba mukakanyavu.’ (1 Tim. 3:2, 3, NW) Kino kyetaagisa nnyo naddala ng’abakadde batudde okwogera ku nsonga z’ekibiina. Ng’ensonga yonna tennasalwawo, buli mukadde aba wa ddembe okuwa endowooza ye wadde nga si tteeka nti buli omu ku bo alina okubaako ky’ayogera. Nga bateesa, endowooza y’omukadde eyinza okukyuka oluvannyuma lw’okuwulira emisingi gy’omu Byawandiikibwa banne gye banokolayo ku nsonga eteesebwako. Mu kifo ky’okugugubira ku ndowooza ye, omukadde akuze mu by’omwoyo akkiriza abalala kye bagamba. Mu kusooka bayinza okuba baabadde n’endowooza ez’enjawulo, naye okusaba n’okufumiitiriza biyamba okuleetawo obumu mu bakadde abeetoowaze era abatali bakakanyavu.—1 Kol. 1:10; Soma Abaefeso 4:1-3.
16. Omukadde alina kwoleka mwoyo ki?
16 Mu byonna by’akola, omukadde asaanidde okulaga nti agoberera enteekateeka ya Katonda ey’obukulembeze. Era ogwo gwe mwoyo gw’alina okulaga ng’alunda ekisibo, ne gumusobozesa okufaayo ku balala. Omutume Peetero yawandiika nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw’ayagala; so si lwa kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo.”—1 Peet. 5:2.
17. Abali mu kibiina bonna bayinza batya okulaga nti si bakakanyavu bwe baba bakolagana n’abalala?
17 Bannamukadde mu kibiina basiima ebikolebwa abo abakyali abato era babawa ekitiibwa. N’abavubuka bassa ekitiibwa mu bannamukadde abamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa. (1 Tim. 5:1, 2) Abakadde beetegereza ab’oluganda abalina ebisaanyizo be basobola okukwasa obuvunaanyizibwa mu kibiina, era babatendeka okulabirira ekisibo kya Katonda. (2 Tim. 2:1, 2) Buli Mukristaayo asaanidde okugoberera okubuulirira kwa Pawulo okwaluŋŋamizibwa: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe [bakola]; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.”—Beb. 13:17.
Obutaba Bakakanyavu mu Maka
18. Lwaki ab’omu maka tebasaanidde kuba bakakanyavu?
18 N’ab’omu maka tebasaanidde kuba bakakanyavu. (Soma Abakkolosaayi 3:18-21.) Baibuli eraga ekifo buli omu ky’alina mu maka Amakristaayo. Omwami gwe mutwe gwa mukazi we era okusingira ddala y’avunaanyizibwa ku kuwa abaana obulagirizi. Omukazi asaanidde okukkiriza obukulembeze bw’omwami we, era n’abaana balina okuba abawulize, ekintu ekisanyusa Mukama waffe. Buli omu mu maka alina ky’asobola okukola okuleetawo emirembe n’obumu mu maka nga yeewala okuba omukakanyavu. Baibuli erimu ebyokulabirako ebiggyayo obulungi ensonga eno.
19, 20. (a) Laga enjawulo eri wakati wa Eli okukkiriza ebikolwa bya batabani be ne Yakuwa okukkiriza ebikolwa bya malayika we. (b) Abazadde bayiga ki mu byokulabirako bino?
19 Samwiri bwe yali omuto, Eli ye yali kabona asinga obukulu mu Isiraeri. Kyokka, Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eli baali ‘bantu abataliimu nsa’ era ‘abataamanya Yakuwa.’ Eli yawulira ebintu ebibi bye baali bakola, omwali n’okwenda ku bakazi abaali baweereza ku mulyango gwa weema ey’okusisinkanirangamu. Eli yakolawo ki? Yabagamba nti kye baali bakola bwe kiba nga kyali kibi mu maaso ga Yakuwa, tewali yali agenda kubasabira. Naye teyafaayo kubagolola wadde okubakangavvula. Bwe kityo batabani ba Eli beeyongera bweyongezi mu maaso n’ebikolwa byabwe ebibi. N’ekyavaamu, Yakuwa yabasalira ogw’okufa. Olwali okuwulira nti bafudde, Eli naye n’afa. Nga kyali kya nnaku! Mazima ddala kyali kikyamu nnyo Eli obutabaako ky’akolawo nga batabani be bakola ebintu ebibi ebyo.—1 Sam. 2:12-17, 22-25, 34, 35, NW; 4:17, 18.
20 Kati ate, lowooza ku ngeri Katonda gy’akolaganamu n’abaana be ab’omwoyo. Mu kwolesebwa, nnabbi Mikaaya yalaba Yakuwa ng’akubaganya ebirowoozo ne bamalayika Be. Yakuwa yababuuza ani ku bo eyali asobola okubuzaabuza Kabaka Akabu owa Isiraeri eyali omubi agwe. Yakuwa yawuliriza ebiteeso bya bamalayika abawerako. Awo malayika omu ne yeesowolayo nti ajja kusobola okumubuzaabuza. Yakuwa n’amubuuza engeri gye yali agenda okukikolamu. Yakuwa yakkiriza era n’amulagira okukikola. (1 Bassek. 22:19-23) Ekyo ab’omu maka tebasobola kukiyigirako nti kiba kirungi nnyo okuwuliriza endowooza za bannaabwe? Kiba kirungi omwami Omukristaayo okuwuliriza ebiteeso bya mukazi we n’eby’abaana be. Ku luuyi olulala, abakyala n’abaana balina okujjukira nti bwe wabaawo kye bateesezza, balina okukkiriza ekisaliddwawo oyo Ebyawandiikibwa gwe biwa obuyinza obwo.
21. Kiki ekigenda okwogerwako mu kitundu ekiddako?
21 Nga kirungi nnyo okuba nti Yakuwa atujjukiza obutaba bakakanyavu! (Zab. 119:99) Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri obutaba bakakanyavu gye kituyamba okufuna essanyu mu bufumbo.
[Obugambo obuli wansi]
a Ekigambo omutume Pawulo kye yakozesa kizibu okuvvuunula ng’okozesa ekigambo kimu mu Luganda. Ekitabo ekimu kinnyonnyola nti: “Kizingiramu obutagugubira ku ky’oyagala wadde nga kituufu, okubalirira abalala n’okuba ow’eggonjebwa gye bali.” N’olwekyo ekigambo ekyo kisobola okutegeeza obutagugubira ku ky’oyagala, oba obuteesiba nnyo ku mateeka kye gagamba.
b Laba ekitundu “Singa Owalirizibwa Okuweereza,” mu Watchtower eya Febwali 15, 2005, olupapula 23-6.
Wandizzeemu Otya?
• Birungi ki ebiva mu butaba bakakanyavu?
• Abakadde bayinza batya okulaga nti si bakakanyavu?
• Lwaki kikulu obutaba bakakanyavu mu maka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Abakadde bakoppa engeri ey’ekisa Kristo gye yakolaganangamu n’abalala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Abakadde bwe baba balina kye bateesaako, okusaba, okufumiitiriza n’obutaba bakakanyavu bibayamba okuba obumu