Okwetooloola Ensi Abantu Bayize Okuba Obumu—Kisobose Kitya?
“OBUMU” kye ki? Eri abantu abamu, ekigambo ekyo kitegeeza obutaba na nnyombo oba obukuubagano. Ng’ekyokulabirako, singa amawanga abiri oba okusingawo gakola endagaano ey’emirembe, kiyinza okugambibwa nti gali bumu. Naye ddala obwo buba bumu? Kiyinza obutaba kityo.
Lowooza ku kino: Mu byafaayo, endagaano z’emirembe nnyingi nnyo zikoleddwa naye ne zimenyebwa. Lwaki? Kubanga emirundi egisinga, abakulembeze b’ensi bafa ku kwekuumira mu buyinza so si ku kuleetawo mirembe n’obumu. Okugatta ku ekyo, amawanga agamu gatya ekiyinza okuddirira singa amalala gagasinza ebyokulwanyisa.
N’olwekyo, eky’okuba nti tewali lutalo wakati w’ensi bbiri tekitegeeza nti ziri bumu. Gwe oyinza okugamba nti abasajja babiri abeesonzemu emmundu bali mirembe olw’okuba tebannasika manduso? Tekiba kya magezi kulowooza nti egyo giba mirembe gya nnamaddala. Kyokka, eyo ye mbeera amawanga mangi mwe gali. Obutesigaŋŋana obugenda bweyongera buleesewo okutya nti luliba lumu eby’okulwanyisa nnamuzisa ne bikozesebwa. Kiki ekikoleddwa okulaba nti akatyabaga ng’ako tekabaawo?
Ebyokulwanyisa bya Nukuliya Biremesa Obumu
Bangi batadde essuubi lyabwe mu ndagaano eyitibwa Nuclear Non-Proliferation Treaty (NPT). Endagaano eno eyassibwako emikono mu 1970 ewera okuweesa ebyokulwanyisa bya nukuliya mu mawanga agatabirina, era ekugira amawanga agabirina okwongera okubiweesa. Endagaano eyo, nga kati esiddwako emikono ensi ezisukka mu 180, erina ekiruubirirwa eky’okumalirawo ddala ebyokulwanyisa bya nukuliya.
Wadde ng’ekyo kirabika kirungi, abamu endagaano eyo bagiraba ng’akakodyo ak’okulemesa ensi ezimu okufuna ebyokulwanyisa ebyo. N’olwekyo waliwo okutya nti ensi ezimu ezassa emikono ku ndagaano eyo ziyinza okugimenya. Mu butuufu, ensi ezimu zigamba nti si kya bwenkanya okuziremesa okuweesa eby’okulwanyisa ebyandiziyambye okwerinda.
Ekyongedde okwonoona embeera, oboolyawo n’okugifuula ey’akabi, kwe kuba nti buli ggwanga lya ddembe okweyambisa amaanyi ga nukuliya okukola amasannyalaze. Kino kireetedde abamu okutya nti amawanga agagamba nti gakola masannyalaze gandiba nga mu butuufu gaweesa bya kulwanyisa bya nukuliya mu nkukutu.
N’amawanga agalina eby’okulwanyisa ebya nukuliya gayinza okumenya endagaano eyo. Waliwo abagamba nti si ky’amagezi okusuubira nti amawanga agalina ebyokulwanyisa eby’amaanyi gajja kubikendeeza oba okubisaanyawo. Ekiwandiiko ekimu kigamba nti, “okusobola okukola kino. . . kyetaagisa enkolagana n’obwesige obw’amaanyi ennyo wakati w’amawanga agatassa kimu, [era kizibu okukkiriza nti kino] kiribeerawo.”
Abantu bafubye nga bwe kisoboka okuleetawo obumu naye tewali kalungi kavuddemu. Kino tekyewuunyisa bayizi ba Baibuli kubanga Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamya ebigere bye.” (Yeremiya 10:23) Era Baibuli eyogera kaati nti: “Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” (Engero 16:25) Gavumenti z’abantu ne bwe zifuba zitya tezisobola kuleetawo bumu. Wadde kiri kityo, ffe tulina essuubi.
Ensibuko y’Obumu Obwa Nnamaddala
Mu Baibuli Katonda asuubiza nti ensi ejja kuba bumu, naye kino tekijja kuva mu kufuba kw’abantu. Omutonzi waffe—ayagala abantu mu nsi yonna babeere mu mirembe—ajja kutuukiriza ekyo ekiremye abantu. Eri abamu, kino kirabika ng’ekitasoboka. Kyokka, okuva ku lubereberye, ekigendererwa kya Katonda kibadde nti abantu babeere bumu era nga bali mu mirembe.a Ebyawandiikibwa bingi mu Baibuli biraga nti kikyali kigendererwa kya Katonda abantu bonna mu nsi okubeera obumu. Weetegereze ebyokulabirako bino:
• “Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi. Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi; amenya omutego, n’effumu alikutula; n’amagaali agookya omuliro.”—ZABBULI 46:8, 9.
• “Tebaliruma newakubadde okuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu lwonna: kubanga ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.”—ISAAYA 11:9.
• “[Alimirira] ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna; n’ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna: kubanga Mukama akyogedde.”—ISAAYA 25:8.
• “Nga bwe yasuubiza tusuubira eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe butuula.”—2 PEETERO 3:13.
• “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—OKUBIKKULIRWA 21:4.
Ebisuubizo bino byesigika. Lwaki? Kubanga Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, alina amaanyi n’obusobozi okuleetawo obumu mu lulyo lw’omuntu. (Lukka 18:27) Ate era, ayagala nnyo okukikola. Mu butuufu Baibuli egamba nti Katonda ‘yasiima okugattira awamu byonna mu Kristo, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.’—Abaefeso 1:8-10.
Ekisuubizo kya Katonda ‘eky’ensi empya obutuukirivu mwe butuula’ si kirooto bulooto. (2 Peetero 3:13) Yakuwa Katonda agamba nti: “Bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”—Isaaya 55:11.
Ekigambo kya Katonda Kibagatta
Nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, emirundi mingi eddiini eyawuddeyawudde abantu mu kifo ky’okubagatta. Kikulu okulowooza ennyo ku nsonga eyo kubanga bwe tuba tukkiriza nti waliwo Omutonzi, tetwandisuubidde nti abasinza be bandibadde n’emirembe era nga bali bumu? Awatali kubuusabuusa bwe kityo bwe kyandibadde!
Eky’okuba nti amadiini galeeseewo enjawukana mu bantu tekivudde ku Yakuwa Katonda n’Ekigambo kye. Wabula, kiwa obukakafu nti kikyamu amadiini okuwagira enteekateeka z’abantu ez’okuleetawo obumu mu kifo ky’okunywerera ku kigendererwa kya Katonda. Abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye Yesu yabayita “bannanfuusi” era n’abagamba nti: “Isaaya yalagula bulungi ku mmwe, ng’agamba nti Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; naye omutima gwabwe gundi wala. Naye bansinziza bwereere, nga bayigiriza amateeka g’abantu nga bye by’okukwata.”—Matayo 15:7-9.
Okwawukana ku ekyo, okusinza okw’amazima kuleetawo obumu mu bantu. Nnabbi Isaaya yalagula nti: “Awo olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, olusozi olw’ennyumba ya Mukama lulinywezebwa ku ntikko y’ensozi era luligulumizibwa okukira ensozi; era amawanga gonna galikulukutira ku lwo. Era aliramula mu mawanga, era alinenya abantu bangi: era baliweesa ebitala byabwe okubifuula enkumbi, n’amafumu gaabwe okugafuula ebiwabyo: eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linnaalyo, so tebaliyiga kulwana nate.”—Isaaya 2:2, 4.
Nga bwe kyalagulwa, leero mu nsi ezisukka mu 230, Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera obulagirizi obuva eri Yakuwa obubayamba okubeera obumu. Kiva ku ki okuba nti bali bumu? Omutume Pawulo yawandiika nti: “Mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.” (Abakkolosaayi 3:14) Ekigambo ky’oluyonaani Pawulo kye yakozesa ekivuunuddwa ‘ekintu ekinyweza’ kisobola okutegeeza ebinywa by’omubiri gw’omuntu. Ebinywa ebyo biba bigumu ng’omuguwa, era bikola emirimu ebiri. Bisobozesa ebitundu by’omubiri buli kimu okunywerera mu kifo kyabyo, era bigatta amagumba.
N’okwagala bwe kutyo bwe kuli. Okwagala ng’okwa Kristo tekukoma ku kuziyiza bantu kuttiŋŋana, wabula kusobozesa n’abantu ab’amawanga ag’enjawulo okukolaganira awamu mu mirembe. Ng’ekyokulabirako, okwagala kusobozesa abantu okutambulira ku musingi ogumu omukulu ennyo Yesu gwe yayigiriza. Mu Matayo 7:12, Yesu Kristo yagamba: “Byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” Okutambulira ku musingi guno kiyambye bangi okuvvuunuka obusosoze.
“Okwagalana Mwekka na Mwekka”
Abajulirwa ba Yakuwa balaga nti ddala bagoberezi ba Kristo nga batuukiriza Yesu kye yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Okwagala okw’engeri eno kweyolese nnyo mu bitundu awabadde obukuubagano bw’eby’obufuzi n’okusosola mu mawanga. Ng’ekyokulabirako, mu kutiŋŋana okwaliwo mu Rwanda mu 1994, Abajulirwa ba Yakuwa baakiraga nti baagalana. Abajulirwa Abahutu baateeka obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuwonyawo baganda baabwe Abatuusi!
Kya lwatu nti amawanga tegayinza kutuuka kuba na kwagala ng’okwo ne galeetawo obumu mu nsi yonna. Okusinziira ku Baibuli, ekyo Katonda y’ajja okukituukiriza mu kiseera kye ekigereke. Kyokka ne kaakano, abantu kinnoomu basobola okwambala okwagala ne babeera bumu.
Mu mwaka oguwedde, Abajulirwa ba Yakuwa baamala essaawa ezisukka mu kawumbi nga boogera n’abantu ku ngeri Baibuli gy’esobola okubaganyula mu bulamu bw’akakyo kano. Amazima agali mu Kigambo kya Katonda gayambye bangi okubeera obumu, wadde ng’abamu ku bo mu kusooka baali tebaagalana. Mu bano mwe muli Abawalabu n’Abayudaaya, ab’omu Armenia n’ab’omu Turkey, Abagirimaani n’ab’Abalasa, n’abalala bangi.
Wandyagadde okuyiga ebisingawo ku ngeri Ekigambo kya Katonda, Baibuli, gye kireetawo obumu? Bwe kiba kityo, tuukirira Abajulirwa ba Yakuwa mu kitundu kyo, oba wandiika ku emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 2.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku kigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu, laba essuula 3 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Endagaano z’emirembe nnyingi nnyo zikoleddwa era ne zimenyebwa
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 7]
Okussa mu nkola emisingi gya Baibuli kikoze ekyo gavumenti z’abantu kye ziremeddwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ekigambo kya Katonda kiraga Ensibuko y’obumu obwa nnamaddala
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Abajulirwa ba Yakuwa Abahutu n’Abatuusi bazimbira wamu ekifo ky’okusinzizaamu