LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w07 12/1/07 lup. 3
  • Kisoboka Abantu Bonna mu Nsi Okuba Obumu?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Kisoboka Abantu Bonna mu Nsi Okuba Obumu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Laba Ebirala
  • Okwetooloola Ensi Abantu Bayize Okuba Obumu—Kisobose Kitya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Obumu Bwawulawo Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Obumu bw’Abakristaayo Buweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
w07 12/1/07 lup. 3

Kisoboka Abantu Bonna mu Nsi Okuba Obumu?

ENSI yaffe eyolekedde kuba mu mirembe oba katyabaga? Waliwo ensonga eziyinza okuwagira buli ludda.

Abakulembeze b’amawanga abamu bagamba nti wasobola okubaawo emirembe mu nsi yonna​—oboolyawo olw’okukiraba nti bwe kitaba kityo ensi eba eyolekedde akatyabaga. Ate abalala beeraliikirira bwe balowooza ku bibuuzo nga bino: Mawanga ki agalina eby’okulwanyisa nnamuzisa? Gayinza okubikozesa? Kiki ekiyinza okubaawo singa gabikozesa?

Ebyafaayo biraga nti okuva edda n’edda ensi zonna ziremeddwa okuba obumu olw’okuvuganya n’obukyayi, era nti amadiini gongedde embeera eno okuba embi. Munnamawulire James A. Haught yawandiika nti: “Ekintu kyonna ekyawukanya abantu kisobola okuleetawo obukyayi, era eddiini kye kimu ku bisinze okwawukanya abantu. Wadde ng’abantu bonna okutwalira awamu balowooza nti eddiini eyamba abantu okuba ‘abalungi,’ kyeyoleka kaati nti ereetera abamu okukola ebintu ebibi ennyo.” Omuwandiisi Steven Weinberg naye bw’atyo bw’alowooza. Agamba nti: “Ddiini yokka y’esobola okuleetera abantu abalungi okukola ebintu ebibi ennyo.”

Waliwo essuubi lyonna nti ekiseera kijja kutuuka ensi yaffe ebeere bumu? Yee! Naye nga bwe tugenda okulaba, ekyo tekijja kuva ku nteekateeka z’abantu oba eddiini ze bateekawo.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]

Ensi eringa bbomu eneetera okubwatuka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza