Aviirako Obubi Ayanikibwa!
MU KYASA ekyasooka, Abayudaaya bangi baali balindirira okujja kwa Masiya eyasuubizibwa. (Yokaana 6:14) Yesu bwe yajja ku nsi, yabudaabuda abantu era n’abayamba okutegeera Katonda. Yawonya abalwadde, yaliisa abayala, yakkakkanya omuyaga, n’azuukiza n’abafu. (Matayo 8:26; 14:14-21; 15:30, 31; Makko 5:38-43) Yabuulira abantu ebigambo bya Yakuwa n’abawa essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:34) Okusinziira ku bye yayogera ne bye yakola Yesu yalagira ddala nti ye yali Masiya, eyali ow’okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’ebyakivaamu byonna.
Mu butuufu, abakulembeze be ddiini y’Ekiyudaaya be bandisoose okwaniriza Yesu, okumuwuliriza n’okukkiriza obulagirizi bwe n’essanyu. Kyokka tebakikola. Mu kifo ky’ekyo, bamulaga obukyayi, bamuyigganya, era ne beekobaana okumutta!—Makko 14:1; 15:1-3, 10-15.
Yesu yali mutuufu okusalira abasajja abo omusango. (Matayo 23:33-35) Kyokka, yali akimanyi nti waliwo n’omuntu omulala abaleetera okukola ebibi. Yabagamba nti: “Mmwe muli ba kitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw’ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w’obulimba.” (Yokaana 8:44) Wadde Yesu yalaga nti abantu basobola okukola ebintu ebibi, olunwe yalusonga ku oyo aviirako ddala obubi—Setaani Omulyolyomi.
Yesu bwe yagamba nti Setaani “teyanywerera mu mazima,” yakiraga nti yaliko omuweereza wa Katonda omwesigwa kyokka n’ava mu kkubo ettuufu. Lwaki Setaani yajeemera Yakuwa? Olw’okuba yali yeerowoozaako nnyo yatuuka n’okwegomba okusinzibwa, ekintu Katonda yekka ky’alinako obwa nnannyini.a—Matayo 4:8, 9.
Obujeemu bwa Setaani bweyolekera mu lusuku Adeni bwe yalimbalimba Kaawa okulya ku kibala Katonda kye yali abagaanye. Setaani yeefuula “kitaawe w’obulimba bwe yayogera ekintu eky’obulimba ekyasookera ddala era n’awayiriza Yakuwa.” Ate era, bwe yasendasenda Adamu ne Kaawa okujeema, yabaleetera okufugibwa ekibi, ne kibaviiramu bo ne bazzukulu baabwe bonna okufa. Bwe kityo, Setaani era yafuuka ‘omussi’—omutemu asingirayo ddala obubi!—Olubereberye 3:1-6; Abaruumi 5:12.
Setaani yasendasenda ne bamalayika abamu mu ggulu okumwegattako mu bujeemu bwe. (2 Peetero 2:4) Okufaananako Setaani, bamalayika bano ababi bafuna okwegomba okukyamu eri abantu. Naye bo okwegomba kwe baalina ku bantu kwali kwa kwetaba n’abakazi, ekintu ekitaali kya mu butonde era ekyaleetawo emitawaana mingi.
Obubi Bujjula mu Nsi
Baibuli etugamba nti: “Awo abantu bwe baasooka okweyongera . . . ne bazaala abaana ab’obuwala, abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.” (Olubereberye 6:1, 2) “Abaana ba Katonda” abo be baani? Byali bitonde bya mwoyo, so si bantu. (Yobu 1:6; 2:1) Tukimanya tutya? Ekisooka, abantu baali bamaze emyaka nga 1,500 nga bafumbiriganwa, n’olwekyo tewali nsonga lwaki kyandyetaagisizza okuddamu okukyogerako. Bwe kityo, Baibuli bw’eyogera ku ‘baana ba Katonda’ okweyambaza emibiri ne beetaba ‘n’abawala b’abantu,’ eba eyogera ku kintu ekyali kitabangawo era ekitali kya mu butonde.
Ekiraga nti ekikolwa kino tekyali kya mu butonde, abaana abaazaalibwa tebaali ba bulijjo. Baali bayitibwa Abanefuli, era nga baali bawagguufu. Era baali bakambwe era nga bayisa bubi abalala. Mu butuufu, ekigambo “Abanefuli” kitegeeza “Abamegga,” oba “abo abaleetera abalala okugwa wansi.” Abantu bano abaali ng’ensolo boogerwako ‘ng’ab’amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira.’—Olubereberye 6:4.
Abanefuli ne bakitaabwe baali babi nnyo ku kigero ekitabangawo. Olubereberye 6:11 wagamba, “ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda . . . n’ejjula eddalu.” Yee, abantu baatandika okukoppa ebikolwa eby’ettemu n’obugwenyufu eby’Abanefuli ne bakitaabwe.
Abanefuli ne bakitaabwe baasobola batya okuleetera abantu okweyisa mu ngeri embi ennyo bw’etyo? Nga bakozesa ebintu ebisikiriza abantu aboonoonyi. Biki ebyavaamu? Buli ‘ekirina omubiri kyonna kyayonoona ekkubo lyakyo ku nsi.’ Ku nkomerero, Yakuwa yaleeta Amataba n’azikiriza ensi eyo, n’awonyawo Nuuwa n’ab’omu maka ge bokka. (Olubereberye 6:5, 12-22) Kyokka, bo bamalayika beeyambula emibiri ne baddayo mu twale ery’eby’omwoyo mu buswavu obuyitirivu. Nga bamaze okufeebezebwa, badayimooni beeyongera okuwakanya Katonda ne bamalayika abeesigwa. Kirabika nti Katonda yabakugira okweyambaza emibiri gy’abantu nate. (Yuda 6) Wadde kiri kityo, bakyalina obuyinza bw’amaanyi ku biki abantu bye bakola.
Omubi Ayanikibwa!
Yokaana Ekisooka 5:19 walaga obubi bwa Setaani we butuuse nga wagamba nti: ‘Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.’ Omulyolyomi akozesa obukujjukujju okuteeka ensi eno mu bizibu eby’amaanyi. Mu butuufu, mumalirivu okukola bw’atyo okusinga ne bwe kyali kibadde. Lwaki? Kubanga ye ne badayimooni baagobebwa mu ggulu ng’Obwakabaka bwa Katonda bwakatandika okufuga mu 1914. Ng’eyogera ku kugobebwa kwabwe, Baibuli yalagula nti: “Zisanze ensi . . . , kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” (Okubikkulirwa 12:7-12) Kati olwo Setaani akozesa atya obuyinza bwe ku bantu leero?
Okusingira ddala Setaani abukozesa ng’aleetawo omwoyo ogukubiriza engeri abantu gye balowooza ne gye bakolamu ebintu. Y’ensonga lwaki mu Abaefeso 2:2 Omulyolyomi ayitibwa ‘omufuzi w’omwoyo ogukolera mu baana abatawulira.’ Mu kifo ky’okukubiriza abantu okutya Katonda n’okwagala obulungi, ‘omwoyo’ guno guleetera abantu okujeemera Katonda n’emitindo gye. Mu ngeri eyo, Setaani ne badayimooni be bongera amaanyi mu bibi abantu bye bakola.
‘Kuuma Omutima Gwo’
Engeri emu “omwoyo” guno mwe gweyolekera bye bifaananyi eby’obugwenyufu ebisiikuula okwegomba okubi ne kiviirako empisa ez’obugwenyufu okulabika nga ezisikiriza. (1 Abasessaloniika 4:3-5) Ebifaananyi ebiraga okukwata abakazi, okulumya abalala, okwetaba n’ensolo, n’okusobya ku baana bye bimu ku ebyo abantu bye balaba okwesanyusaamu. Ne bwe kiba nti ebintu ebimu eby’obugwenyufu tebyesisiwaza nnyo, okubiraba mu bifaananyi oba okubisomako kiba kyangu nnyo okufuuka omuze.b Omuze guno omubi gwonoona enkolagana y’omuntu ne Katonda era n’abalala. Ebifaananyi by’obugwenyufu byoleka obugwagwa bwa badayimooni ababitumbula—ng’abajeemu bano empisa ez’okwagala eby’obugwenyufu bazitandika dda nga n’Amataba g’omu biseera bya Nuuwa tegannabaawo.
Omusajja ow’amagezi Sulemaani kyeyava akubiriza nti: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo z’obulamu.” (Engero 4:23) Okusobola okukuuma omutima gwo n’otogwa mu katego ka kulaba bifaananyi bya bugwenyufu, kiyinza okukwetaagisa okukyusa omukutu gwa ttivi n’odda ku mulala, oba bw’eba kompyuta n’ogiggyako, singa kujjako ebifaananyi ebibi era kikulu nnyo kino okukikola awatali kulonzalonza! Beera ng’omuserikale agezaako okwerwanako akasaale kaleme okumufumita omutima. Setaani ayagala atuuke ku mutima gwo ogw’akabonero—ensibuko y’ebyo bye twagala ne bye tukola—agusigemu endowooza embi.
Era weetaaga okukuuma omutima gwo guleme kwagala bikolwa bya ttemu kubanga Omulyolyomi amanyi nti ‘oyo ayagala eby’amaanyi emmeeme ya Yakuwa emukyawa.’ (Zabbuli 11:5) Setaani ne bw’aba takufudde mutemu, asobola okukufuula omulabe wa Katonda ng’akuleetamu omwoyo ogwagala ettemu. Tekyewuunyisa nti eby’ettemu n’obusamize bijjudde ku mikutu gy’empuliziganya. Abanefuli baafa dda ne bavaawo naye engeri zaabwe n’empisa bikyaliwo nnyo! Bw’oba weesanyusaamu, by’olondawo biraga nti oziyiza enkwe za Setaani?—2 Abakkolinso 2:11.
Engeri y’Okuziyizaamu Setaani
Kiyinza okulabika ng’ekizibu okuziyiza Setaani ne badayimooni be. Baibuli eraga nti ng’oggyeko okuba nti balina okulwanyisa obunafu bw’omubiri ogutatuukiridde, abo abafuba okusanyusa Katonda ‘bameggana n’emyoyo emibi.’ Okusobola okuwangula olutalo luno era ne tusigala nga tusiimibwa Katonda, twetaaga okukozesa eby’okwekuumisa byonna Katonda by’atuwa.—Abaefeso 6:12; Abaruumi 7:21-25.
Mu bino mwe muli omwoyo gwa Katonda omutukuvu, ogusingirayo ddala amaanyi mu butonde bwonna. Omutume Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nti: “Naye ffe tetwaweebwa mwoyo gwa nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda.” (1 Abakkolinso 2:12) Abo abakulemberwa omwoyo gwa Katonda baagala by’ayagala ne bakyawa ebyo by’akyawa. (Amosi 5:15) Omuntu asobola atya okufuna omwoyo omutukuvu? Okusingira ddala kuyitira mu kusaba, okwesomesa Baibuli eyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu, n’okukola omukwano n’abantu abaagala Katonda.—Lukka 11:13; 2 Timoseewo 3:16; Abaebbulaniya 10:24, 25.
Bw’okozesa mu bujjuvu ebyo byonna Katonda by’atuwa, oba otandise okwambala “ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda,” kubanga bye byokka ebisobola okutukuuma obutagwa mu ‘nkwe za Setaani.’ (Abaefeso 6:11-18) Okukozesa ebintu bino byonna mu bujjuvu kikulu nnyo kati okusinga bwe kyali kibadde. Lwaki tugamba bwe tutyo?
Enkomerero y’Obubi Eri Kumpi!
Omuwandiisi wa zabbuli agamba nti: “Ababi bwe baloka ng’omuddo, era abakozi b’obubi bonna bwe babeera; kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna.” (Zabbuli 92:7) Yee, nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, obubi okuba nti bweyongedde ennyo leero bukakafu obulaga nti Katonda ali kumpi kuzikiriza abantu ababi, ate Setaani ne badayimooni be basuulibwe mu bunnya obutakoma, n’oluvannyuma bazikiririzibwe ddala. (2 Timoseewo 3:1-5; Okubikkulirwa 20:1-3, 7-10) Ani anaakola kino? Si mulala wabula Yesu Kristo, gwe tusomako nti: “Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.”—1 Yokaana 3:8.
Oyagala obubi buggwewo? Bwe kiba kityo, ba mugumu kubanga Baibuli esuubiza nti buggya kuggwawo. Tewali kitabo kirala kyanika oyo asibukako obubi, Setaani, era tewali kitabo kirala kiraga ngeri gy’anaggibwawo wamu n’ebikolwa bye byonna. Tukukubiriza okuyiga ebiri mu Baibuli osobole okwekuuma obubi bwa Setaani, ate ofune essuubi ery’okubeera mu nsi eteriimu bubi.—Zabbuli 37:9, 10.
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya malayika ono lye yayitibwanga nga tannafuuka Setaani terimanyiddwa. Ekigambo “Setaani” kitegeeza “Omuziyiza” ate “Omulyolyomi” kitegeeza “Omuwaayiriza.” Setaani ne kabaka w’e Tuulo eky’edda balina ebintu bye bafaanaganya. (Ezeekyeri 28:12-19) Bombi baatandika bulungi naye oluvannyuma ne bafuuka ab’amalala.
b Laba ebitundu ebikwata ku ‘Bifaananyi eby’Obugwenyufu’ mu Awake! eya Jjulaayi 22, 2003, eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Enfumo Ezaava ku Bintu Ebyaliwo Ddala
Eriyo enfumo nnyingi ez’edda ezikwata ku bakatonda ng’ate bantu, abantu abawagguufu n’amataba ag’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, olugero lw’Ababulooni olukwata ku Girugamesi lwogera ku mataba, eryato era n’abantu abaawonawo. Girugamesi kennyini yayogerwako nti yali katonda ng’ate muntu; nga mukaba, era ng’ayagala nnyo okulwana. Enfumo z’abantu b’omu Aztec eky’omu nsi kati eyitibwa Mexico, zoogera ku nsi ey’edda eyalimu abantu abawagguufu ne ku mataba ag’amaanyi. Zo enfumo z’abantu ab’omu mambuka ga Bulaaya zoogera ku abantu abaali abawagguufu ne ku Bergelmir eyali ow’amagezi eyakola eryato eddene mwe yawonera ne mukazi we. Ebiri mu nfumo ezo zonna byongera okukakasa nti Baibuli eyogera mazima bw’egamba nti abantu bonna baava mu abo abaawonawo amataba bwe gaazikiriza abantu ababi mu nsi ey’edda.
[Ekifaananyi]
Ejjinja okuli olugero Epic of Girugamesi
[Ensibuko y’ekifaananyi]
The University Museum, University of Pennsylvania (neg. # 22065)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Engeri z’Abanefuli embi zeeyoleka mu bantu leero
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okuyiga Baibuli kituwa amaanyi ag’okulwanyisa obubi