Obubi Buyinze Obungi?
Akalenzi kalonda ekintu mu nnimiro nga tekakimanyi nti bbomu—ekakuba, ekaziba amaaso, era n’ekatemako ebitundu ebimu eby’omubiri. Omukazi asuula omwana gwe yaakazaala ku kasasiro. Omukozi agenda ku mulimu gye yagobebwa n’akuuba amasasi buli amusala mu maaso, oluvannyuma naye ne yetta. Omusajja ow’ekitiibwa asobya ku baana abato.
KYA nnaku nti tuwulira nnyo ebintu nga bino ennaku zino. Naye ekisinga n’obubi kwe kuba nti ebikolwa nga bino abantu tebabitwala nga kikulu olw’okuba waliwo abantu abangi ennyo bafiira mu bikolwa eby’obwa nnalukalala n’okutta okw’ekikungo. Mu 1995 olupapula lw’amawulire olumu lwagamba nti: “Ekyasa ekya 20 kyali kya Setaani. Tewabangawo mulembe mulala gwonna abantu lwe baali basse bannaabwe mu bungi obwenkanidde awo olw’enjawukana mu mawanga, mu ddiini, oba olw’eby’enfuna.”
Ng’oggyeko ebyo, abantu boonoonye nnyo obutonde bw’ensi n’obugagga bwayo, era basse ebisolo n’ebinyonyi bingi ne kiba nti ebika ebimu biri kumpi kusaanirawo ddala. Omuntu asobola okumalawo obubi buno bwonna, ensi n’efuuka ekifo ekirungi era ekyeyagaza okubeeramu? Oba okugezaako kuba kumala bumazi biseera? Profesa omu amaze ebbanga nga awandiika nnyo ku nsonga eno ey’obubi yagamba nti: “Njagadde nnyo okulaba nga ndeetawo enkyukakyuka mu nsi naye sirabawo njawulo.” Oboolyawo naye bw’otyo bw’owulira.
Ekkubo ensi ly’ekutte lifaananako ery’emmeeri eyolekedde omuyaga ogw’amaanyi. Wadde nga tewali n’omu ayagala egutuukemu, buli kyonna ekikolebwa okugezaako okugiwugula kigaana. Emmeeri egenda bugenzi mu maaso ng’eyolekera omuyaga guno ogw’akabi awatali kusiba.
Mu ngeri emu, embeera okuba nti egenda yeeyongera okwonooneka, kivudde ku kuba nti abantu tebatuukiridde. (Abaruumi 3:23) Wadde nga kiri kityo, abantu ku lwabwe tebasobola kuba nti be baviiriddeko obubi obwenkanidde awo. Kyandiba nti waliwo aleetera abantu okukola ebintu ebibi bwe bityo? Bwe kiba bwe kityo, y’ani oyo, era tusobola tutya okumwekuuma? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
© Heldur Netocny/Panos Pictures