LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w06 7/1 lup. 3-4
  • Okunoonya Amazima

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Okunoonya Amazima
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Okuyitira mu Ddiini
  • Okuyitira mu Busobozi bw’Okulowooza
  • Okuzuula Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Tambulira Wamu n’Entegeka Ya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Sanyuka olw’Okumanya Ebikwata ku Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • “Munoonye Yakuwa Musobole Okusigala nga Muli Balamu”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 7/1 lup. 3-4

Okunoonya Amazima

LAURA FERMI, mukyala wa munnasayansi ayitibwa Enrico Fermi, yagamba nti: “obutamanya tebuyinza kusinga kumanya.” Abamu bayinza obutakkiriziganya naye nga bagamba nti, ekintu ky’otamanyi tekiyinza kukuleetera kulumwa. Kyokka, eri abasinga obungi, ebyo bye yayogera bituufu, si mu bya sayansi byokka naye era ne mu mbeera endala ez’obulamu. Obutamanya buviiriddeko abantu obutaba na ndowooza nnuŋŋamu, obutaba na mpisa nnungi n’okubeera mu kizikiza eky’eby’omwoyo.​—Abaefeso 4:18.

Eno ye nsonga lwaki abantu abafumiitiriza banoonya amazima. Baagala okumanya ensonga lwaki tuli wano era n’ekinaatutuukako mu biseera eby’omu maaso. Abantu balina endowooza za njawulo ku ngeri y’okufunamu amazima. Ka twetegereze ezimu ku zo.

Okuyitira mu Ddiini

Ababuda bagamba nti, Siddhārtha Gautama, eyatandikawo eddiini yaabwe, yanyolwa nnyo olw’okubonaabona n’okufa kw’abantu. Yasaba abakulembeze b’eddiini y’Abahindu okumuyamba okuzuula “ekkubo ery’amazima.” Abamu baamugamba agoberere enjigiriza y’Abahindu eyitibwa yoga oba okwerumya. Gautama yalondawo okufumiitiriza okusobola okufuna amazima.

Abamu bakozesezza amalagala agakyusa ku ndowooza yaabwe nga banoonya amazima. Ng’ekyokulabirako, ab’omu ddiini eya Native American Church bagamba nti ekimera ekiyitibwa peyote, ekirimu eddagala eriyinza okukyusa ku ndowooza y’omuntu, kiyamba mu “kubikkula okumanya okukusike.”

Omufalansa ow’omu kyasa eky’ekkumi n’omunaana ayitibwa Jean-Jacques Rousseau yalina endowooza nti omuntu yenna anoonya amazima mu bwesimbu asobola okufuna okubikkulirwa okw’eby’omwoyo okuva eri Katonda. Mu ngeri ki? Ng’awuliriza “ekyo Katonda ky’agamba omutima gwe.” Bwe kityo, enneewulira gy’oba nayo n’omuntu wo ow’omunda, “bikuwa obulagirizi obwesigika ng’oyolekaganye n’endowooza z’abantu ezitali zimu,” bw’atyo Rousseau bwe yagamba.​—History of Western Philosophy.

Okuyitira mu Busobozi bw’Okulowooza

Bangi ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Rousseau tebakkiriziganya na ndowooza gye yalina nti eddiini esobola okuyamba abantu okufuna amazima. Ng’ekyokulabirako, Mufalansa munne ayitibwa Voltaire, yagamba nti eddiini si y’esobozesa abantu okufuna amazima, wabula ye yaleetera abantu b’omu Bulaaya okubeera mu butamanya, okugoberera endowooza enkyamu, n’okukyawagana, okuva mu 500 A.D. okutuuka mu 1000 A.D.

Voltaire yeegatta ku kibiina eky’omu Bulaaya ekyalina endowooza nti obusobozi bw’okulowooza bwe busobozesa abantu okufuna amazima. Abaali mu kibiina ekyo baddamu okugoberera endowooza z’Abayonaani ezaali ziraga nti amagezi g’omuntu n’okunoonyereza mu bya sayansi bye bisobozesa omuntu okufuna amazima. Bernard de Fontenelle, ow’omu kibiina ekyo naye yagamba nti amagezi g’omuntu gandimuyambye okutuuka “mu kiseera we yandifunidde amazima agasinga ku g’abo abaaliwo mu byasa eby’emabega.”​—Encyclopædia Britannica.

Zino ze zimu ku ndowooza ez’enjawulo ezikontana ezikwata ku ngeri y’okufunamu amazima. Ddala waliwo “obulagirizi obwesigika” obuyinza okutuyamba okufuna amazima? Weetegereze ekitundu ekiddako kye kyogera ku ekyo ekiyinza okutuyamba okufuna amazima.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]

Gautama (Buddha), Rousseau, ne Voltaire baalina endowooza za njawulo ku ngeri y’okufuna amazima

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza