Okuzuula Amazima
GWALI mwezi gwa Ddesemba nga 18, 1810 era obudde bwali butandise okuziba. Emmeeri eyitibwa Pallas, ey’eggye erya Bungereza ery’oku nnyanja, yali mu nnyanja eyeesudde omwalo gwa Scotland ogw’ebuvanjuba wa bukiika ddyo. Emmeeri eyo yali ebuze era ng’abagirimu tebamanyi wa webali. Olw’ekizikiza ekyali kyeyongera okukwata era n’olw’omuzira, abaali mu mmeeri eyo baafuna obuzibu okulaba omunaala ogubaako ekitangaala, ekyandibayambye okumanya ekkubo ettuufu lye baalina okugoberera. Oyinza okuteebereza engeri gye baafunamu obuweerero bwe baalaba ekitangaala era ne boolekeza emmeeri yaabwe eri ekitangaala ekyo! Eky’ennaku, ekyo si kye kyali ekitangaala ekituufu kye baali banoonya. Mu butuufu, ekitangaala ekyo gwali muliro ogwali gukumiddwa abantu abamu abaali bakola okumpi n’omwalo ogwo. Nga boolekera ekitangaala ekyo, emmeeri yaabwe yatomera enjazi era n’emenyekamenyeka. Abalunnyanja kumi n’omu baafa. Ekyo nga kyali kya nnaku nnyo!
Olw’okuwubisibwa, emmeeri eyo yafuna akabenje. Kyokka, oluusi abalunnyanja baayolekagananga n’akabi akasingawo n’obubi—ekitangaala ekibuzaabuza. Ekitangaala ekyo kyateekebwangawo okubuzaabuza era emmeeri bwe yakyolekeranga yatomeranga enjazi n’emenyekamenyeka era ebintu ne bibbibwa, bwe kityo ekitabo ekiyitibwa Wrecks, Wreckers and Rescuers, bwe kigamba.
‘Ebyawandiikibwa Ebitukuvu Biyinza Okukutuusa mu Bulokozi’
Mu kunoonya amazima oyinza okwolekagana n’akabi akafaananako ako akatuuka ku balunnyanja abo. Mu butamanya oyinza okugoberera eby’obulimba oba okulimbibwa mu bugenderevu. Buli kimu ku ebyo kiyinza okukuleetera emitawaana. Kiki ky’oyinza okukola okwekuuma? Kakasa nti ekyo ky’osinziirako okufuna amazima kyesigika. Okumala emyaka egisukka mu 125, magazini eno eraze nti Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, Baibuli, kye kisinga okwesigika kubanga kirimu “ebyawandiikibwa ebitukuvu ebisobola okukufuula omugezi era ne bikusobozesa okufuna obulokozi.”—2 Timoseewo 3:15-17, New English Bible.
Kya lwatu, okusobola okuba n’obwesige mu Baibuli kiba kirungi okukakasa nti by’eyogera bituufu. (Zabbuli 119:105; Engero 14:15) Tolonzalonza kuwandiikira abakuba magazini eno bakubuulire ekiyambye obukadde n’obukadde bw’abantu okukakasa nti ddala Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Ng’ekyokulabirako, soma akatabo akalina omutwe A Book for All People.a Kalimu bingi ebiraga nti Baibuli ntuufu era yaluŋŋamizibwa.
Enjigiriza Enkulu
Kati olwo njigiriza ki enkulu eziri mu ‘byawandiikibwa ebitukuvu’? Weetegereze enjigiriza zino wammanga:
Waliwo Katonda omu Omuyinza w’Ebintu Byonna era Omutonzi eyakola buli kimu. (Olubereberye 1:1) Tuli balamu kubanga ‘Katonda ye yatonda ebintu byonna’ era n’atuwa obulamu. (Okubikkulirwa 4:11) Eyo ye nsonga lwaki ye yekka gwe tusaanidde okusinza. Omutonzi ye Nsibuko y’amazima. (Zabbuli 36:9; Isaaya 30:20, 21; 48:17, 18) Alina erinnya ly’ayagala tumuyite. (Okuva 3:15) Erinnya eryo eryawandiikibwa mu nnukuta ez’Olwebbulaniya likiikirirwa ennukuta, YHWH, era lirabika emirungi 7000 mu Baibuli. Mu luganda erinnya eryo liri “Yakuwa.”—Zabbuli 83:18.
Yakuwa yakola omusajja n’omukazi okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Yabawa engeri ezifaanana ezizze. Yabawa ebitone n’obusobozi ebyandibasobozesezza okunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna. (Olubereberye 1:26-28) Yakuwa teyatonda nsi ebeere ekifo eky’okugezesezzaamu abantu asobole okulaba obanga basaanira okugenda mu ggulu, nga gy’obeera nti eyo yokka gye bandisobodde okubeera n’enkolagana ennungi naye.
Abantu Katonda be yatonda tebaalina kibi. Ekibi kyajjawo oluvannyuma lw’ebimu ku bitonde bya Katonda, kwe kugamba, abantu n’ebitonde eby’omwoyo—bwe baakozesa obubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo ne bajeemera Katonda. (Ekyamateeka 32:5) Bazadde baffe abaasooka beewa obuyinza obw’okwesalirawo ekirungi n’ekibi. (Olubereberye 2:17; 3:1-5) Ekyo kyaviirako abantu okufa. (Olubereberye 3:19; Abaruumi 5:12) Okusobola okugonjoola ensonga ezaabalukawo olw’obujeemu, Yakuwa yasalawo okuleka obubi okubaawo okumala akaseera. Naye, ekigendererwa kye eri ensi n’eri olulyo lw’abantu tekikyukanga. (Isaaya 45:18) Abantu bajja kusobola okubeerawo emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda.—Matayo 6:10; Okubikkulirwa 21:1-5.
Yesu Kristo si ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, naye Mwana wa Katonda. Yesu Kristo yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Teyagambako nti yenkanankana ne Katonda. Wabula yagamba nti: “Kitange ansinga obukulu.”—Yokaana 14:28.
Yesu alina ekifo kikulu mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Katonda. Katonda yamusindika ‘ng’ekitangaala ky’ensi, buli muntu amukkiriza aleme okubeeranga mu kizikiza.’ (Yokaana 12:46) Omutume Peetero yagamba nti ‘ye yekka ayinza okulokola abantu.’ (Ebikolwa 4:12) Kino kituufu kubanga obulokozi bwaffe bwesigamye ku musaayi gwa Kristo ogw’omuwendo. (1 Peetero 1:18, 19) Yesu Kristo yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka okusobola okununula abantu okuva mu kibi akyaleetebwawo bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa. (Matayo 20:28; 1 Timoseewo 2:6) Ate era, Katonda yabikkula ebigendererwa bye okuyitira mu Yesu.—Yokaana 8:12, 32, 46, 47; 14:6; Ebikolwa 26:23.
Katonda yassaawo Obwakabaka obw’omu ggulu, oba gavumenti, erimu Yesu Kristo n’abo abaalondebwa mu lulyo lw’abantu. Obubaka obukwata ku Bwakabaka obwo bwogerwako enfunda n’enfunda mu Baibuli. Katonda awadde gavumenti eno obuvunaanyizibwa obw’okulaba nti byonna by’ayagala bikolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu. (Matayo 6:10) Tekyali kigendererwa kya Katonda abantu okugenda mu ggulu. Baali ba kubeera ku nsi. Naye oluvannyuma lw’omuntu okwonoona, Katonda yateekateeka ekintu ekippya. Yakola enteekateeka okulonda abantu ‘okuva mu buli kika, olulimi n’eggwanga okufugira wamu nga bakabaka’ ne Kristo mu bwakabaka obw’omu ggulu. (Okubikkulirwa 5:9, 10) Obwakabaka obwo mangu ddala ‘bujja kumenyamenya era buzikirize’ obufuzi bw’abantu bwonna obuleese obulumi n’ennaku.—Danyeri 2:44.
Omuntu taliimu kintu kitafa. Enjigiriza eno ey’omu Baibuli etuyamba okunnyonnyoka ebikwata ku muntu n’essuubi ly’alina mu biseera eby’omu maaso. Era etuyamba obutabuzibwabuzibwa ku mbeera y’omuntu ng’afudde.
Omubuulizi 9:5, 10 wagamba nti: “Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, . . . kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” Otegeera amakulu g’ebyo? Omuntu taliimu kintu kisigala nga kiramu ng’afudde. Omuntu bw’afa, ‘adda mu nfuufu.’—Olubereberye 3:19.
Abo abaafa bajja kuzuukizibwa. Ekiseera Katonda ky’alese obubi okubaawo bwe kinnaggwaako, ‘bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lya Yesu, ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n’abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.’ (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Okuzuukira kujja kusobozesa abantu okuddamu okuba abalamu mu mbeera ennungi ku nsi, mu bulamu Katonda bwe yayagaliza abantu mu kusooka.
Weekenneenye Ebyawandiikibwa Buli Lunaku
Olabye engeri okutegeera enjigiriza enkulu gye kiyinza okukuganyulamu? Mu biseera bino ebizibu, okutegeera enjigiriza ng’ezo kiyinza okukuyamba obutabuzaabuzibwa ‘obulimba’ obukubirizibwa Setaani Omulyolyomi. Yeefuula okuba ‘malayika ow’ekitangaala,’ era abantu be beefuula okuba “abaweereza ab’obutuukirivu.” (1 Timoseewo 6:20; 2 Abakkolinso 11:13-15) Okutegeera obulungi Baibuli kiyinza okukuyamba obutatwalirizibwa obufirosoofo ‘abw’abagezigezi n’abakabakaba’ ab’omu nsi, ‘abagaanyi ebigambo bya Yakuwa.’—Matayo 11:25; Yeremiya 8:9.
Olw’okuba waaliwo enjigiriza n’obufirosoofo ebibuzaabuza mu kiseera kye, omutume Yokaana yalabula Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bw’ati: “Temukkirizanga buli kigambo ekyaluŋŋamizibwa, naye mukemenga buli kigambo ekyaluŋŋamizibwa, oba nga kyava eri Katonda kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.” (1 Yokaana 4:1, NW) Kirowoozeeko bw’oti. Singa ofuna obubaka obuyinza okukyusa obulamu bwo, wandimaze gabukkiriza olw’okuba bulabika ng’obuva eri omuntu eyeesigika? Kya lwatu nedda. Wandisoose kubwekenneenya nga tonnaba kubukolerako.
Mu kutuwa ekitabo ekyaluŋŋamizibwa ekirimu amazima, Katonda atusobozesezza okukola ekyo—‘okwekenneenya’ obanga obulagirizi obukirimu bwa mazima. (1 Abasessaloniika 5:21) Abantu abeesimbu ab’omu kyasa ekyasooka baasiimibwa nnyo olw’okuba ‘beekenneenyanga Ebyawandiikibwa buli lunaku’ okukakasa nti ddala byali bya mazima. (Ebikolwa 17:11) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Leka Baibuli eringa “ettabaaza eyakira mu kifo eky’ekizikiza” ekuwe obulagirizi obutaakusuule mu kabi. (2 Peetero 1:19-21) Bw’onookola bw’otyo, ‘ojja kuvumbula okumanya kwa Katonda,’ okunaakusobozesa okuzuula amazima.—Engero 2:5.
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ekigambo kya Katonda kiringa ettabaaza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Erinnya lya Katonda lye liruwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ssuubi ki abantu lye balina mu biseera eby’omu maaso?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Yesu ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Abafu bali ludda wa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]
Okuzuukira kw’abafu y’emu ku njigiriza enkulu eziri mu Baibuli