LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 4/1/05 lup. 4-7
  • Enjigiriza za Yesu Zikukutteko Zitya?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Enjigiriza za Yesu Zikukutteko Zitya?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • Kulembeza Ebisinga Obukulu mu Bulamu
  • Kulaakulanya Omukwano ne Katonda
  • Kolagana Bulungi n’Abalala
  • Gonjoola Ebizibu ng’Otandikira ku Kikolo Kyabyo
  • “Ekitala Kyo Kizze mu Kifo Kyakyo”
  • Osobola Okuganyulwa mu Njigiriza za Yesu Zonna
  • Okuyigiriza okw’Oku Lusozi Okumanyiddwa Ennyo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • “Mbayise Mikwano Gyange”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)
  • Kikulu Okusonyiwa Abalala
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 4-7

Enjigiriza za Yesu Zikukutteko Zitya?

OKUSINZIIRA ku ebyo bye tulabye mu kitundu ekivuddeko, tewali kubuusabuusa kwonna nti enjigiriza za Yesu zikutte ku bantu bangi mu nsi yonna. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, “Enjigiriza za Yesu zinkutteko zitya?”

Yesu yayigiriza ku bintu ebitali bimu. Enjigiriza ze zikwata ku mbeera zonna ez’obulamu. Ka tulabe kye yayigiriza ku ebyo bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu, okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, okukolagana obulungi n’abalala, okugonjoola ebizibu, n’okwewala ebikolwa eby’ettemu.

Kulembeza Ebisinga Obukulu mu Bulamu

Obulamu bw’ennaku zino butwetaagisa okuwaayo ebiseera bingi n’amaanyi ne kiba nti tewaba biseera kukola ku bya mwoyo. Twala ekyokulabirako eky’omuvubuka omu atemera mu myaka 20 gwe tujja okuyita Jerry. Wadde nga Jerry anyumirwa nnyo okwogerako n’abalala ku by’omwoyo, agamba bw’ati: “Sirina biseera kunyumyako na bantu ku bya mwoyo. Nkola ennaku mukaaga mu wiiki. Olunaku lwe nnina okuwummulako lwe lwa Ssande. Kyokka, we mmalira okukola emirimu gyange gyonna, mba nkooye nnyo.” Singa weesanga mu mbeera ng’eyo, osobola okuganyulwa mu ebyo Yesu bye yayigiriza mu Kuyigiriza kwe okw’Oku Lusozi.

Yesu yagamba ekibiina ky’abantu abaali bazze okumuwuliriza nti: “Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, nti mulirya ki, mulinywa ki, newakubadde omubiri gwammwe, nti mulyambala ki. Obulamu tebukira mmere, n’omubiri tegukira bya kwambala? Mulabe ennyonyi ez’omu bbanga, nga tezisiga, so tezikungula, tezikuŋŋaanyiza mu mawanika, era Kitammwe ali mu ggulu aziriisa ezo. Mmwe temusinga nnyo ezo? . . . Kale temweraliikiriranga nga mwogera nti Tulirya ki? oba nti tulinywa ki? oba tulyambala ki? Kubanga ebyo byonna amawanga bye ganoonya, kubanga Kitammwe ali mu ggulu amanyi nga mwetaaga ebyo byonna. Naye musooke munoonye obwakabaka bwe n’obutuukirivu bwe, era ebyo byonna mulibyongerwako.” (Matayo 6:25-33) Kya kuyiga ki ekiri mu kyawandiikibwa ekyo?

Wano Yesu yali tategeeza nti tulagajjalire ebyetaago byaffe eby’omubiri n’eby’ab’omu maka gaffe. Baibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba babe, n’okusinga ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Wadde kiri kityo, Yesu yagamba nti bwe tukulembeza ebisinga obukulu mu bulamu era ne tusoosa eby’omwoyo, Katonda ajja kutuwa bye twetaaga. Kye tuyigamu kiri nti tulina okukulembeza ebisinga obukulu mu bulamu. Bwe tugoberera amagezi gano tujja kufuna essanyu, kubanga “basanyufu abo abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.”​—Matayo 5:3, NW.

Kulaakulanya Omukwano ne Katonda

Abo abafaayo ku bwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo bamanyi obukulu bw’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda. Tuyinza tutya okufuula omuntu mukwano gwaffe? Nga tugezaako okumumanya obulungi. Kino kitwaliramu okufaayo okumanya endowooza ye, obusobozi bwe, by’akola, by’ayagala ne by’atayagala. Bwe tuba twagala okukulaakulanya omukwano ne Katonda tulina okukola ekintu kye kimu. Twetaaga okumutegeerera ddala obulungi. Bwe yali asaba Katonda ku lw’abayigirizwa be, Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo okuteegera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Okusobola okukulaakulanya omukwano ne Katonda kyetaagisa okumanya ebimukwatako. Baibuli ye yokka mwe tusobola okufuna okumanya okwo okukwata ku Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Tusaanidde okweteekerawo ebiseera okusoma Ebyawandiikibwa.

Kyokka, okufuna okumanya ku bwakyo tekimala. Mu ssaala y’emu, Yesu yagamba: “[Abayigirizwa bange] bakutte ekigambo kyo.” (Yokaana 17:6) N’olwekyo, tetulina kukoma ku kufuna kumanya kukwata ku Katonda kyokka, naye era tulina n’okukolera ku kumanya okwo. Kiki ekirala ekiyinza okutuyamba okufuuka mikwano gya Katonda? Tuyinza okusuubira omuntu okuba mukwano gwaffe singa tukola by’atayagala? N’olwekyo, tusaanidde okutambuliza obulamu bwaffe ku misingi gya Katonda n’okukola by’ayagala. Ka tulabeyo emisingi ebiri n’engeri gye gikwata ku nkolagana yaffe n’abalala.

Kolagana Bulungi n’Abalala

Lumu, Yesu yagera olugero ng’alina essomo ly’ayagala okuyigiriza ku ngeri y’okukolaganamu obulungi n’abalala. Yayogera ku kabaka eyali abanja abaddu be. Omu ku baddu abo yalina ebbanja ddene nnyo, era nga tasobola na kulisasula. Kabaka yalagira omuddu oyo atundibwe awamu ne mukazi we n’abaana asobole okufuna ssente ze. Omuddu oyo yafukamira ne yeegayirira ng’agamba nti: “Mmanja mpola, nange ndikusasula byonna.” Mukama we yamukwatirwa ekisa, era n’amusonyiwa ebbanja eryo. Naye, omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga muddu munne gwe yali abanja ssente entono, yamukwata n’amugwa mu bulago ng’amugamba amusasule ebbanja lye. Wadde nga muddu munne yamwegayirira amugumiikirize, omuddu oyo yamusuula mu kkomera okutuusa ng’amaze okumusasula ebbanja lye. Kabaka bwe yawulira ekibaddewo, yanyiiga nnyo. Yabuuza omuddu oyo: “Tekikugwanidde kusaasira muddu munno, nga nze bwe nnakusaasira ggwe?” Kabaka yalagira omuddu oyo ataasonyiwa muddu munne asuulibwe mu kkomera okutuusa ng’amaze okusasula ebbanja lyonna. Ng’alaga eky’okuyiga ekiri mu lugero luno, Yesu yagamba: “Bw’atyo Kitange ali mu ggulu bw’alibakola, bwe mutasonyiwa mu mitima gyammwe buli muntu muganda we.”​—Matayo 18:23-35.

Olw’okuba tetutuukiridde, emirundi mingi tukola ensobi. Tetusobola kusasula Katonda bbanja ddene bwe lityo. Kye tuyinza okukola kyokka, kwe kumusaba atusonyiwe. Era Yakuwa Katonda mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe byonna, singa naffe tusonyiwa baganda baffe ensobi ze baba batukoze. Nga kino kya kuyiga kirungi nnyo! Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga bwe tusonyiwa abatwewolako.”​—Matayo 6:12.

Gonjoola Ebizibu ng’Otandikira ku Kikolo Kyabyo

Yesu yali amanyi bulungi nnyo engeri z’abantu. Yawa amagezi nti bwe tuba tugonjoola ebizibu, tutandikire ku kikolo kyabyo. Weetegereze ebyokulabirako ebibiri ebiddirira.

Yesu yagamba: “Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti Tottanga, naye omuntu bw’anattanga, anazzanga omusango. Naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we alizza omusango.” (Matayo 5:21, 22) Wano Yesu yali alaga nti obukyayi obusimba amakanda mu mutima gw’omuntu bwe bumuviirako okutta. Singa abantu beewala obukyayi ng’obwo, basobola okwewala ettemu. Teeberezaamu abantu abandiwonye okutirimbulwa singa omusingi ogwo gwali gugobererwa!

Weetegereze ekyo Yesu kye yayogera ku kizibu ekirala ekitera okuviirako emitawaana egy’amaanyi. Yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga. Naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba ng’amaze okumwendako mu mutima gwe. Oba ng’eriiso lyo erya ddyo likwesittaza, liggyeemu, lisuule wala.” (Matayo 5:27-29) Ne wano Yesu yali alaga nti ekiviirako obwenzi kiviira ddala munda n’okusinga ekikolwa kyennyini eky’obwenzi. Ekiviirako omuntu okwenyigira mu bwenzi kwe kwegomba okubi. Singa omuntu yeewala okussa ebirowoozo bye ku kwegomba okubi era ‘n’akweggyamu,’ ajja kwewala okwenyigira mu bwenzi.

“Ekitala Kyo Kizze mu Kifo Kyakyo”

Mu kiro Yesu kye yaliirwamu olukwe era kye yakwatirwamu, omu ku bayigirizwa be yaggyayo ekitala kye n’agezaako okumulwanirira. Yesu yamugamba: “Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.” (Matayo 26:52) Enkeera Yesu bw’ati bwe yagamba Pontiyo Piraato: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya. Naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.” (Yokaana 18:36) Amagezi ago gakola?

Abakristaayo abaasooka baatwala batya ekyo Yesu kye yabayigiriza eky’obuteenyigira mu bikolwa eby’ettemu? Ekitabo ekiyitibwa The Early Christian Attitude to War kigamba: “Olw’okuba [enjigiriza za Yesu] zaalaga nti kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’ettemu n’okulumya abalala, [Abakristaayo] tebenyigira mu ntalo . . . Abakristaayo abaasooka baakolera ku ebyo Yesu bye yayigiriza, era baakitegeera nti enjigiriza ze zibakubiriza okuba abateefu n’okwewala ebikolwa eby’ettemu. Eddiini yaabwe baagitwala okuba ey’emirembe: era baavumiriranga entalo olw’okuba zaalingamu okuyiwa omusaayi.” Ng’ebyafaayo by’ensi byandibadde bya njawulo singa abo bonna abaali beeyita Abakristaayo baagoberera enjigiriza eyo!

Osobola Okuganyulwa mu Njigiriza za Yesu Zonna

Enjigiriza za Yesu ze tuva okwetegereza nnungi nnyo, nnyangu okutegeera, era ziganyula. Abantu bonna basobola okuganyulwa singa baziyiga era ne bazikolerako.a

Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kitundu kyo bajja kuba basanyufu okukuyamba okuganyulwa mu njigiriza eziwa amagezi agasingayo okuba amalungi. Tukusaba obatuukirire oba obawandiikire nga weeyambisa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 2 mu magazini eno.

[Obugambo obuli wansi]

a Okusobola okuyiga byonna ebikwata ku njigiriza za Yesu, laba ekitabo The Greatest Man Who Ever Lived, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

“Kitammwe ow’omu ggulu aziriisa”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Enjigiriza za Yesu zisobola okuganyula obulamu bwo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza