LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w05 4/1/05 lup. 3-4
  • Engeri Ebyo Yesu Bye Yayigiriza Gye Bikutte ku Bantu mu Nsi Yonna

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Engeri Ebyo Yesu Bye Yayigiriza Gye Bikutte ku Bantu mu Nsi Yonna
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Laba Ebirala
  • Yesu Kristo—y’Ani?
    Yesu Kristo—y’Ani?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 4/1/05 lup. 3-4

Engeri Ebyo Yesu Bye Yayigiriza Gye Bikutte ku Bantu mu Nsi Yonna

OMUVVUUNUZI wa Baibuli ayitibwa Edgar Goodspeed yawandiika: “Ebyo byonna ebiri mu Njiri Yesu bye yayogera, ka kibe mu kyama oba mu lujjudde, ayinza okuba nga yabyogerera mu ssaawa nga bbiri zokka. Kyokka, ebitono ebyo bye yayigiriza byakwata nnyo ku bantu ne kiba nti kituukirawo okugamba nti tewali muntu yenna eyali ayigirizza nga ye.”

Yesu we yamalira obuweereza bwe obw’oku nsi mu 33 C.E., yalina abagoberezi 120. (Ebikolwa 1:15) Leero, abantu abasukka mu buwumbi bubiri beegamba okuba Abakristaayo. Abalala bukadde na bukadde bakkiriza nti Yesu yali nnabbi. Mazima ddala, ebyo Yesu bye yayigiriza bikutte nnyo ku bantu.

N’abakulembeze abatali Bakristaayo nabo bakiraze nti ebyo Yesu bye yayigiriza bikutte ku bantu mu nsi yonna. Ng’ekyokulabirako, omuyigiriza mu nzikiriza y’Ekiyudaaya ayitibwa Hyman Enelow yawandiika: “Yesu ye muntu ayatiikiridde ennyo, abantu gwe basomyeko ennyo, era gwe basinze okussaamu ekitiibwa mu byafaayo by’eddiini.” Ate era yeeyongera n’agamba: ‘Mazima ddala ebyo Yesu bye yayigiriza bikutte ku bantu bangi mu nsi yonna. Lowooza ku kwagala kwe yalaga, engeri gye yabudaabudamu abantu, ebirungi bye yakola, essuubi n’essanyu bye yawa abantu​—bino byonna tewali yali abikoze mu byafaayo by’omuntu. Mu bantu bonna abaatiikirivu era abaali bakoledde abantu ebirungi, tewali yali akoze bituuka ku ebyo Yesu bye yakola. Ye muntu asinze okwatiikirira mu byafaayo by’abantu.’ Ate era, omukulembeze w’Abahindu Mohandas K. Gandhi yagamba: “Sirina muntu yenna gwe mmanyi eyali akoze ebintu ebiganyudde abantu nga Yesu. Ekituufu kiri nti Obukristaayo si bubi.” Kyokka, yagattako bw’ati: “Obuzibu buli ku mmwe Abakristaayo. Temukolera ku ebyo bye muyigiriza.”

Ebyafaayo biraga kaati nti Kristendomu eremereddwa okukolera ku njigiriza za Yesu. Cecil John Cadoux, eyawandiika ku byafaayo by’Ekikristaayo yagamba: ‘Okuviira ddala mu kyasa 140 A.D., abakulembeze b’Ekkanisa bazze bakiraba nti empisa zigenze zisereba mu Kkanisa.’ Ate era yagamba nti: “Okuddirira kuno mu by’empisa kwe kwaviirako okutandika okugoberera empisa z’ensi.”

Okuddirira kuno mu by’empisa kweyongera nnyo mu kyasa eky’okuna, Empula Constantine bwe yafuuka Omukristaayo. Cadoux yagamba nti: “Bannabyafaayo bakyetegerezza nti Ekkanisa yekkiriranya mu by’empisa bwe yakola omukago ne Constantinus.” Ebyasa bwe bizze biyitawo, abo abeetwala okuba Abakristaayo bakoze ebikolobero bingi ebisiiga erinnya lya Kristo enziro.

N’olwekyo, ebibuuzo bye tusaanidde okwebuuza biri: Ddala biki Yesu bye yayigiriza? Mu ngeri ki enjigiriza ze gye zanditukutteko?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

“Sirina muntu yenna gwe mmanyi eyali akoze ebintu ebiganyudde abantu nga Yesu.”​—Mohandas K. Gandhi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]

“Tewali muntu yenna eyali ayigirizza nga ye.”​—Edgar Goodspeed

[Ensibuko y’ekifaananyi]

Culver Pictures

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza