Okusobola Okusigala ng’Olina Empisa Ennongoofu Kuuma Omutima Gwo
“Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo z’obulamu.”—ENGERO 4:23.
1-3. (a) Abantu batera kulaga batya nti tebatwala bulongoofu ng’ekintu ekikulu? Waayo ekyokulabirako. (b) Lwaki kikulu okwekenneenya obukulu bw’okubeera n’empisa ennongoofu?
EKIFAANANYI ekisiige kyalabika ng’ekyali kivudde ku mulembe. Oboolyawo kyali tekirabika bulungi nga kitimbiddwa mu nnyumba. Mu buli ng’eri, kirabika nnyini kyo yawulira nga yali takyakyetaaga. Era okukkakkana ng’akitunze doola z’Amerika 29 mu kifo gye batunda ebintu ebikadde. Kyokka, oluvannyuma lw’emyaka mitono nnyo, kyabalirirwamu kumpi doola akakadde kalamba! Mazima ddala, ekifaananyi ekyo kyali kya muwendo nnyo. Teeberezaamu engeri nnyini kyo eyasooka ataakitwala nga kya muwendo gye yawuliramu!
2 Mu ngeri y’emu, empisa ennongoofu zitera okutwalibwa ng’ezitali za muwendo. Leero abantu bangi tebakitwala nti kikulu okuba n’empisa ennongoofu. Abamu bagamba nti okuba n’empisa ennongoofu oba okyali mabega, nga totuukana na mulembe. Bwe kityo, obulongoofu babuwaanyisaamu ekintu ekitono ennyo. Abamu baafiirwa empisa zaabwe ennongoofu nga beenyigira mu bikolwa by’okwetaba ebimala akaseera obuseera. Abalala bagalabanja empisa zaabwe ennungi nga basuubira nti bajja kusiimibwa bannaabwe oba okuganja mu maaso g’oyo bwe batafaananya kikula.—Engero 13:20.
3 Bangi bakizuula luvannyuma nnyo nti kyali kya muwendo okwekuumira mu mpisa ennongoofu. Ebivaamu nga bamaze okweyonoona tebitera kuba birungi. Nga Baibuli bw’eraga, ebiva mu bugwenyufu biringa obutwa, ‘nga bikaawa ng’omususa.’ (Engero 5:3, 4) Olw’okuba empisa zoonoonese nnyo mu nsi, oyinza otya okusigala ng’oli mulongoofu? Tujja kwekenneenya ebintu bisatu ebiyinza okutuyamba.
Kuuma Omutima Gwo
4. Omutima ogw’akabonero gwe guluwa, era lwaki twandigukuumye?
4 Ekintu ekimu ekitusobozesa okusigala nga tuli balongoofu kwe kukuuma omutima gwaffe. Baibuli egamba: “Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; kubanga omwo mwe muva ensulo z’obulamu.” (Engero 4:23) ‘Omutima’ ogwogerwako wano gwe guluwa? Omutima guno gwa kabonero. Gukiikirira ekyo omuntu ky’ali munda nga mw’otwalidde ebirowoozo bye, enneewulira ye n’ebiruubirirwa bye. Baibuli egamba: ‘Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna.’ (Ekyamateeka 6:5) Yesu yagamba nti etteeka lino lye lisinga obukulu. (Makko 12:29, 30) N’olwekyo, omutima gwaffe gwa muwendo nnyo. Gusaana okukuumibwa.
5. Omutima guyinza gutya okuba ogw’omugaso ate era ogw’akabi?
5 Kyokka, Baibuli era egamba nti “omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka?” (Yeremiya 17:9) Omutima guyinza gutya okuba omulimba—ekintu eky’akabi gye tuli? Ng’ekyokulabirako, ekidduka kya mugaso nnyo, era kiyinza n’okutuyamba okuwonya obulamu bwaffe nga waguddewo ekizibu eky’amangu. Naye singa omugoba waakyo takivuga mu ngeri ennungi, ekidduka ekyo kiyinza okuviirako akabenje. Mu ngeri y’emu, singa tokuuma mutima gwo, osobola okutwalirizibwa okwegomba kwo, era ne kikuviiramu emitawaana. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Eyeesiga omutima gwe ye musirusiru: naye atambula n’amagezi ye aliwonyezebwa.” (Engero 28:26) Nga bwe wandisoose okukebera mmaapu eraga ekkubo ly’olina okugoberera nga tonnessa mu ddene, mu ngeri y’emu osobola okutambula n’amagezi era ne weewala emitawaana singa okozesa Ekigambo kya Katonda okukuwa obulagirizi.—Zabbuli 119:105.
6, 7. (a) Obutukuvu kye ki, era lwaki bukulu nnyo eri abaweereza ba Yakuwa? (b) Tumanya tutya nti abantu abatatuukiridde basobola okwoleka obutukuvu bwa Yakuwa?
6 Mu butonde omutima gwaffe tegujja kutukubiriza kuba balongoofu. Ffe tulina okugukubiriza okukola ekyo. Engeri emu ey’okukikolamu kwe kufumiitiriza ku miganyulo egiva mu kuba abalongoofu. Obulongoofu bulina akakwate n’obutukuvu, obutegeeza obuyonjo n’okwewala ekibi. Obutukuvu ngeri ya muwendo nnyo Yakuwa kennyini gy’ayoleka. Ebyawandiikibwa bingi nnyo bikwataganya engeri eyo ne Yakuwa. Mu butuufu, Baibuli egamba nti ‘Obutukuvu bwa Yakuwa.’ (Okuva 28:36, NW) Naye, engeri eyo ekwataganyizibwa etya n’abantu abatatuukiridde?
7 Mu Kigambo kye, Yakuwa atugamba: ‘Mubeere batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.’ (1 Peetero 1:16) Yee, tusobola okukoppa obutukuvu bwa Yakuwa; tusobola okuba abayonjo mu maaso ge, ne tusigala nga tuli balongoofu. N’olwekyo, bwe twewala ebikolwa ebitali biyonjo era ebyonoona, tuba tuluubirira enkizo ey’ekitalo, kwe kugamba, ey’okwoleka engeri eyo ennungi eya Katonda Asingiridde! (Abaefeso 5:1) Tetwandirowoozezza nti tetusobola kugyoleka, kubanga Yakuwa, Katonda wa magezi atatusaba kukola ekyo kye tutayinza. (Zabbuli 103:13, 14; Yakobo 3:17) Kyo kituufu nti, okusobola okusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa tulina okufuba. Kyokka, omutume Pawulo yagamba nti ‘obwesimbu n’obulongoofu bisoboka mu Kristo.’ (2 Abakkolinso 11:3) Tetwandifubye ne ssekufuba yenna okusigala nga tuli balongoofu tusobole okusanyusa Kristo ne Kitaawe? Mu butuufu ekyo kye twandikoze olw’okuba batulaze okwagala mu ngeri gye tutayinza kubasasula. (Yokaana 3:16; 15:13) N’olwekyo, eba nkizo okwoleka okusiima nga tuba n’empisa ennyonjo. Singa tutunuulira obulongoofu mu ngeri eyo, tujja kubutwala nga bwa mugaso era tukuume emitima gyaffe.
8. (a) Tusobola tutya okuliisa omutima gwaffe ogw’akabonero? (b) Emboozi ze tunyumya n’abalala ziyinza kwoleka ki?
8 Ate era tukuuma emitima gyaffe mu ngeri gye tweriisaamu. Tusaanidde okuliisa ebirowoozo byaffe n’emitima emmere ey’eby’omwoyo obutayosa, nga tussa essira ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Abakkolosaayi 3:2) N’emboozi ze tunyumya n’abalala zandibadde zikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Singa tumanyibwa ng’abantu aboogera ebintu eby’omubiri era eby’obugwenyufu, tuba twoleka ekiri mu mitima gyaffe. (Lukka 6:45) Mu kifo ky’ekyo, ka tumanyibwe ng’abantu aboogera ku bintu eby’omwoyo era ebizimba. (Abaefeso 5:3) Okusobola okukuuma omutima gwaffe, waliwo ebintu eby’akabi bye tusaanidde okwewala. Ka twekenneenyeyo bibiri.
Mudduke Obwenzi
9-11. (a) Lwaki kyangu nnyo eri abo abalagajjalira okulabula okuli mu 1 Abakkolinso 6:18 okwenyigira mu bwenzi? Waayo ekyokulabirako. (b) Bwe tudduka obwenzi, biki bye twewala? (c) Yobu omusajja omwesigwa yatuteekerawo kyakulabirako ki ekirungi?
9 Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika okubuulirira okuyambye abantu bangi okukuuma emitima gyabwe n’okusigala nga balongoofu. Pawulo yagamba: “Mudduke obwenzi.” (1 Abakkolinso 6:18, NW) Weetegereze nti teyagamba nti, “Mwewale obwenzi.” Abakristaayo balina okukola ekisingawo ku ekyo. Balina okudduka ebikolwa eby’obugwenyufu, nga bwe bandidduse embeera yonna ey’akabi eri obulamu bwabwe. Singa tulagajjalira okubuulirira okwo, tuba tweteeka mu mbeera eyinza okutuviirako okwenyigira mu bwenzi ne kituleetera obutasiimibwa Katonda.
10 Okuwaayo ekyokulabirako: Maama anaazizza bulungi mutabani we era n’amwambaza nga beetegekera okugenda ku mukolo omukulu. Omwana oyo asaba maama we azannyireko wabweru nga tebannagenda, era maama we n’amukkiriza naye n’amuteekerawo akakwakulizo kamu. Amugamba: “Togenda kumpi n’ekitaba ky’amazzi. Singa weddugaza, nja kukubonereza.” Kyokka, mu kaseera mpawe kaaga, maama agenda okulaba ng’omwana ayolekera ekitaba ky’amazzi. Kyo kituufu nti omwana oyo tannaba kweddugaza. Wadde kiri kityo, tafuddeyo ku kulabula okwamuweereddwa obutagenda kumpi n’ekitaba, era nga kirabika agenda kweddugaza. (Engero 22:15) Abavubuka bangi n’abantu abakulu bakola ensobi y’emu. Mu ngeri ki?
11 Mu biseera bino ng’abantu bangi nnyo benyigira mu ‘bikolwa eby’okwetaba eby’ensonyi,’ watandikiddwawo bizineesi ezitumbula ebikwata ku kwetaba okw’obugwenyufu. (Abaruumi 1:26, 27) Ebifaananyi eby’obugwenyufu byeyongedde obungi mu magazini, ebitabo, vidiyo ne ku Internet. Abo abalaba ebifaananyi ng’ebyo, mazima ddala tebayinza kugamba nti badduse obwenzi. Baba beeteeka mu mbeera eyinza okubaviirako okwenyigira mu bwenzi, olw’obutafaayo ku kulabula kwa Baibuli. Mu kifo ky’okukuuma emitima gyabwe, bagyonoona nga balaba ebifaananyi ebiyinza okumala emyaka mingi okuva mu birowoozo. (Engero 6:27) Ka tuyigire ku Yobu omusajja omwesigwa, eyakola endagaano n’amaaso ge obutatunuulira kintu kyonna ekyandimuviiriddeko okukola ekikyamu. (Yobu 31:1) Ng’ekyo kyakulabirako kirungi nnyo kye twandikoppye!
12. Abakristaayo basobola batya ‘okudduka obwenzi’ nga boogerezeganya?
12 Naddala kikulu nnyo ‘okudduka obwenzi’ mu kiseera eky’okwogerezeganya. Ekiseera ekyo kyandibadde kya ssanyu nnyo ng’aboogerezeganya balina ebirungi bingi bye basuubira mu maaso, naye abamu bakyonoona nga beeteeka mu mbeera eyinza okubaviirako okwenyigira mu bwenzi. Ekivaamu, beefiiriza enkolagana eyeesigamiziddwa ku buteerowoozaako, okwefuga, n’okugondera Yakuwa Katonda, ebintu ebyandibasobozesezza okuba n’obufumbo obulungi. Omugogo ogumu ogw’abafumbo Abakristaayo benyigira mu bwenzi nga boogerezeganya. Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, omukazi yagamba nti omuntu we ow’omunda yali amulumiriza, n’atuuka n’okubulwa essanyu ku lunaku olw’embaga. Yagamba: “Nsabye Yakuwa emirundi mingi okunsonyiwa, naye wadde nga kati wayiseewo emyaka musanvu, omuntu wange ow’omunda akyannumiriza.” Kikulu nnyo abo abenyigira mu nsobi ng’ezo okutuukirira abakadde okufuna obuyambi. (Yakobo 5:14, 15) Kyokka, Abakristaayo bangi beeyisa mu ngeri ey’amagezi era ne beewala akabi ng’ako nga boogerezeganya. (Engero 22:3) Bateeka ekkomo ku bikolwa ebyoleka omukwano. Beewala okubeera bokka mu bifo awatali bantu oba sinnakindi bafuna omuntu omulala okubeera nabo.
13. Lwaki Abakristaayo tebasaanidde kwogereza muntu ataweereza Yakuwa?
13 Abakristaayo aboogereza abo abataweereza Yakuwa bayinza okwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi n’okusingawo. Kirowoozeeko, oyinza otya okwogereza omuntu atayagala Yakuwa Katonda? N’olwekyo, kikulu nnyo Abakristaayo okwogereza abo bokka abaagala Yakuwa era abassa ekitiibwa mu misingi gye egy’obulongoofu. Ekigambo kya Katonda kitubuulirira: “Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana: kubanga obutuukirivu n’obujeemu bugabana butya? oba omusana gussa kimu gutya n’ekizikiza?”—2 Abakkolinso 6:14.
14, 15. (a) Ndowooza ki enkyamu abamu gye balina ku makulu g’ekigambo “obwenzi”? (b) Ekigambo “obwenzi” kizingiramu bikolwa ki, era Abakristaayo basobola batya ‘okudduka obwenzi’?
14 Ate era kikulu nnyo okufuna okumanya okwetaagisa. Tetuyinza kudduka bwenzi okuggyako nga tumanyi kye buli. Leero abantu abamu balina endowooza enkyamu ku makulu g’ekigambo “obwenzi.” Balowooza nti basobola okukusa okwegomba kwabwe okw’okwetaba nga si bafumbo kasita baba nga tebeenyigidde mu kwetaba kwennyini. Ebitongole by’obulamu ebiruubirira okukendeeza ku muwendo gw’abatiini abafuna embuto ze bateeyagalidde bibakubiriza okwenyigira mu kwetaba okutayinza kubaviirako kufuna mbuto. Kya kusaalirwa nti amagezi ng’ago si malungi. Okwewala okufuna olubuto nga wenyigira mu by’okwetaba nga toli mufumbo tekitegeeza nti oba okyali mulongoofu, ate era n’ekigambo kyennyini “obwenzi” kirina amakulu magazi.
15 Ekigambo ky’Oluyonaani por·neiʹa, ekivvuunulwa “obwenzi,” kizingiramu ebintu bingi. Kikwata ku kwetaba n’omuntu gwe mutafumbiriganwanga naye era nga kissa essira ku kukozesa obubi ebitundu eby’ekyama. Por·neiʹa kizingiramu ebikolwa nga bino, okukomberera ebitundu by’omulala eby’ekyama, okutigaatiga ebitundu by’omulala eby’ekyama, n’engeri endala ez’okwetaba ezitali za mu butonde—ebintu ebitera okukolebwa bamalaaya. Abantu abalowooza nti ebikolwa ng’ebyo tebuba “bwenzi” baba beerimbalimba era baba bagudde mu gumu ku mitego gya Setaani. (2 Timoseewo 2:26) Ate era, okusigala ng’oli mulongoofu kisingawo ku kwewala obwewazi okwenyigira mu kikolwa kyonna eky’obwenzi. Okusobola ‘okudduka obwenzi,’ tulina okwewala ebikolwa byonna ebitali biyonjo oba eby’obugwagwa ebiyinza okutuviirako okwenyigira mu por·neiʹa, ekibi eky’amaanyi. (Abaefeso 4:19) Bwe tukola bwe tutyo tusigala tuli balongoofu.
Weewale Akabi ak’Okuzannyirira ne gw’Otafaananya Naye Kikula
16. Ddi ebikolwa ebyoleka omukwano lwe bisaanira, era kyakulabirako ki ekiri mu Byawandiikibwa?
16 Bwe tuba ab’okusigala nga tuli balongoofu, akabi akalala ke tusaanidde okwewala kwe kuzannyirira ne gwe tutafaananya naye kikula. Abamu bayinza okugamba nti ekikolwa ekyo tekiriimu kabi konna era nti kuba kwesanyusaamu wakati w’abo abatafaananya kikula. Kyo kituufu nti, wayinza okubaawo ekiseera omuntu w’alagira ebikolwa eby’omukwano. Isaaka ne Lebbeeka baalabibwa nga “bazannya,” era nga kyeyoleka kaati eri abalabi nti tebaali baluganda. (Olubereberye 26:7-9) Mu butuufu, baali bafumbo. Buli omu okulaga munne ebikolwa ebyoleka omukwano kyali kisaanira. Kyokka, okuzannyirira ne gw’otafaananya naye kikula kyo kya njawulo.
17. Kitegeeza ki okuzannyirira ne gw’otafaananya naye kikula, era kiyinza kitya okwewalibwa?
17 Okuzannyirira ne gw’otafaananya naye kikula kuyinza okunnyonnyolwa bwe kuti: okulaga nti weegwanyiza omuntu kyokka nga tewali kiruubirirwa kya kufumbiriganwa naye. Mu butonde abantu balina engeri ezitali nnyangu kutegeera, n’olwekyo waliwo engeri nnyingi omuntu mw’ayinza okuzannyirira ne gw’atafaananya naye kikula era nga n’ezimu nzibu okulaba. (Engero 30:18, 19) Okuteekawo amateeka amakakali ku ngeri y’okweyisaamu si kye kiyinza okugonjoola ekizibu kino. Wabula, waliwo ekintu ekisingawo ku ekyo ekirina okukolebwa nga kino kwe kwekebera mu bwesimbu n’okufuba okussa mu nkola emisingi gya Baibuli.
18. Kiki ekiviirako abamu okuzannyirira ne be batafaananya nabo kikula, era lwaki ekyo kya kabi?
18 Singa tuba beesimbu, tujja kukkiriza nti omuntu gwe tutafaananya naye kikula bw’alaga nti atwegwanyiza, kitusanyusa. Kino kya mu butonde. Naye tuzannyirira n’oyo bwe tutafaananya kikula nga twagala atwegwanyize, oboolyawo olw’okweraga obwerazi? Bwe kiba bwe kityo, tulowoozezza ku bulumi bwe tuyinza okuleetera abalala? Ng’ekyokulabirako, Engero 13:12 (NW) wagamba: “Ky’osuubira bwe kitatuukirizibwa omutima gulwala.” Singa mu bugenderevu tuzannyirira n’oyo gwe tutafaananya naye kikula, tuyinza obutamanya ngeri omuntu oyo gy’akwatibwako. Omuntu oyo ayinza okulowooza nti mugenda kutandika kwogerezaganya musobole okufumbiriganwa. Singa ebintu ebyo tebibaawo kiyinza okumuyisa obubi ennyo. (Engero 18:14) Okuzannyira ku nneewulira z’abalala mu bugenderevu kintu kibi nnyo.
19. Omufumbo okuzannyirira n’omuntu gw’atafaananya naye kikula kiyinza kitya okuleetawo akabi mu bufumbo?
19 Kya kabi nnyo okuzannyirira n’abafumbo. Okwegwanyiza omuntu omufumbo, oba omufumbo okwegwanyiza omulala atali munne, kikyamu. Eky’ennaku kiri nti Abakristaayo abamu balina endowooza nti si kibi okubeera n’omukwano ogw’oku lusegere n’omuntu omulala atali munnaabwe mu bufumbo. Abafumbo abamu bategeeza omuntu ng’oyo ebintu eby’omunda ebibeeraliikiriza, awamu n’ebirala bye batabuulirako bannaabwe mu bufumbo. Omukwano ng’ogwo ogw’oku lusegere guviiriddeko abafumbo okwagala okukolagana ennyo n’abantu ng’abo ekintu ekiyinza okusaanyawo obufumbo. Abakristaayo abafumbo basaanidde okujjukira okulabula kwa Yesu okukwata ku bwenzi, nti kutandikira mu mutima. (Matayo 5:28) N’olwekyo, ka tukuume emitima gyaffe era twewale embeera eziyinza okututuusa mu buzibu ng’obwo.
20. Twanditutte tutya okubeera abalongoofu?
20 Kyo kituufu nti si kyangu okusigala ng’oli mulongoofu mu nsi ey’akakyo kano. Kyokka, kijjukire nti kyangu nnyo okwekuuma ng’oli mulongoofu okusinga okuddamu okubeera omulongoofu ng’obadde weeyonoonye. Kya lwatu, Yakuwa asobola ‘okusonyiwa’ era n’atukuza abo abeenenyeza ddala ebibi byabwe. (Isaaya 55:7) Kyokka, abo abakola obwenzi Yakuwa tabakugira kutuukibwako ebiva mu nneeyisa yaabwe. Ebibi ebivaamu biyinza okubeerawo okumala emyaka n’emyaka, oluusi obulamu bwabwe bwonna. (2 Samwiri 12:9-12) N’olwekyo, okusobola okusigala ng’oli mulongoofu kuuma omutima gwo. Kitwale nti okubeera omulongoofu mu maaso ga Yakuwa Katonda nkizo ya maanyi nnyo, era togiganya kukuvaako!
Wandizzeemu Otya?
• Kitegeeza ki okubeera n’empisa ennongoofu, era lwaki kikulu nnyo?
• Tuyinza tutya okukuuma omutima gwaffe?
• Biki ebizingirwa mu kudduka obwenzi?
• Lwaki twandyewaze okuzannyirira n’oyo gwe tutafaananya naye kikula?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ekidduka kiyinza okuba eky’akabi singa tekivugibwa bulungi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Kiki ekiyinza okuvaamu singa tetugoberera kulabula kwe tufunye?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Okubeera n’empisa ennyonjo nga mwogerezaganya kireeta essanyu era kigulumiza Katonda