Okubudaabuda Abalina Ebizibu
ABANTU abeesigwa ab’edda bwe baayolekagananga n’ebizibu, baanyiikiranga okusaba Katonda okubawa obulagirizi. Kyokka era, baabangako ne kye bakolawo okusobola okuwewula ku bizibu bye baalimu, gamba ng’okusala amagezi ne badduka ku abo abaabanga babanyigiriza. Ng’ekyokulabirako, okwesiga Yakuwa awamu n’okufuba, byasobozesa Dawudi okugumira embeera enzibu. Kiri kitya gye tuli leero?
Bw’oyolekagana n’ekizibu, oyinza okubaako ne ky’okolawo okusobola okugonjoola ekizibu kyo. Ng’ekyokulabirako, bwe weesanga nga tolina mulimu, tofuba nnyo okunoonya omulimu ogusaana ogunaakuyimirizaawo n’ab’omu maka go? (1 Timoseewo 5:8) Oba bw’okwatibwa obulwadde tonoonya bujjanjabi? Ne Yesu eyalina amaanyi okuva eri Katonda agasobola okuwonya obulwadde bwonna yagamba nti ‘omulwadde yeetaaga omusawo.’ (Matayo 9:12) Naye, ebizibu byo biyinza obutavaawo; kiyinza okukwetaagisa okubigumira okumala ekiseera.
Lwaki tobibuulirako Yakuwa mu kusaba? Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tunoonya omulimu, okwesiga Yakuwa awamu n’okusaba kijja kutuyamba okuziyiza ekikemo eky’okukkiriza omulimu ogukontana n’emisingi gya Baibuli. Ate era, tujja kwewala ‘okukyamizibwa okuva mu kukkiriza,’ olw’omululu oba okwagala ennyo ssente. (1 Timoseewo 6:10) Mazima ddala bwe tubaako ne bye tusalawo ebikulu ebikwata ku mirimu, amaka, oba eby’obujjanjabi, tusobola okugoberera okubuulirira kwa Dawudi: “Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga. Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.”—Zabbuli 55:22.
Okusaba okuviira ddala ku mutima era kujja kutuyamba okukuuma ebirowoozo byaffe ne tutagwa lubege olw’ebizibu bye tuba twolekaganye nabyo. Ng’Omukristaayo owa nnamaddala, Pawulo yawandiika: “Mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwe eri Katonda.” Mu ngeri ki okusaba okuviira ddala ku mutima gye kusobola okutubudaabuda? ‘Emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna ginaakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mu Kristo Yesu.’ (Abafiripi 4:6, 7) Emirembe gya Katonda ‘gisinga okutegeera kwaffe.’ N’olwekyo, gisobola okutuzza mu nteeko bwe tuba nga tulina ebirowoozo ebituzitooweredde. Gijja ‘kukuuma emitima gyaffe n’okutegeera kwaffe,’ mu ngeri eyo gituyambe obutayanguyiriza oba obutakola kintu kyonna ekitali kya magezi ekiyinza okwongera ku bizibu bye tulina.
Okusaba kusobola okubaako eky’amaanyi kye kukola ku mbeera eba eriwo. Omutume Pawulo bwe yali mu kkomera mu Rooma, yasaba Bakristaayo banne okumusabira. Lwaki Pawulo yabakubiriza okumusabira? Yabawandiikira bw’ati: “Okusinga ennyo mbeegayirira okukolanga bwe mutyo, ndyoke nkomezebwewo mangu gye muli.” (Abaebbulaniya 13:19) Pawulo yali akimanyi nti bakkiriza banne bwe bandinyiikidde okusaba, Yakuwa yandiwulidde okusaba kwabwe era ekyo kyandibaddeko kye kikola ku kiseera kye yandibadde ateebwa.—Firemooni 22.
Okusaba kusobola okukyusa embeera enzibu gye tuba tulimu? Kusobola. Kyokka, tusaanidde okukitegeera nti Yakuwa ayinza obutaddamu kusaba kwaffe mu ngeri ffe gye twandyagadde. Pawulo yasaba enfunda nnyingi ku bikwata ku ‘liggwa lye yalina mu mubiri,’ era kyandiba nti eriggwa eryo bwali bulwadde. Kyokka, mu kifo ky’okuggyawo ekizibu ekyo, Katonda yagamba Pawulo nti: “Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.”—2 Abakkolinso 12:7-9.
N’olwekyo, ebizibu bye tulina biyinza obutavaawo mu bwangu. Kyokka, tujja kuba tufunye akakisa okulaga nti twesiga Kitaffe ow’omu ggulu. (Yakobo 1:2-4) Ba mukakafu nti wadde nga Yakuwa taggyawo kizibu, asobola ‘okututeekerawo obuddukiro tusobole okukigumira.’ (1 Abakkolinso 10:13) Kituukirawo okuba nti Yakuwa ayitibwa “Katonda ow’okubudaabuda kwonna, atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” (2 Abakkolinso 1:3, 4, NW) Katonda asobola okutuwa bye twetaaga okusobola okugumiikiriza, era tulina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.
Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kisuubiza nti Yakuwa “alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibaawo nate, so tewaabengawo nate nnaku, newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Kizibu okukkiriza nti wajja kubaawo ensi omutali bizibu? Kiyinza okuba ekizibu ennyo okukkiriza bw’oba ng’oli mu bizibu. Wadde kiri kityo, Katonda asuubiza okumalawo okutya n’ebizibu era ekigendererwa kye kijja kutuukirira.—Isaaya 55:10, 11.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]
Yava mu bwennyamivu n’afuna obuweerero