LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w02 7/1 lup. 2-3
  • Ebizibu by’Abantu Ddala Birikoma?

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Ebizibu by’Abantu Ddala Birikoma?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Emitwe emitono
  • Laba Ebirala
  • “Ensi Empya mu Mulembe Gumu”
  • Bayibuli ya Bedell—Yayamba Bangi Okwongera Okutegeera Ebyawandiikibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Abantu Basobola Okuleeta Emirembe n’Obutebenkevu eby’Enkalakkalira?
    Emirembe n’Obutebenkevu eby’Amazima—Oyinza Kubizuula Otya?
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 7/1 lup. 2-3

Ebizibu by’Abantu Ddala Birikoma?

“KIMU kya kuna ku bantu abali mu nsi yonna baavu lunkupe, abantu obukadde 1,300 sente ze bafuna olunaku okusobola okweyimirizaawo teziwera wadde doola emu, abalala akawumbi kalamba tebamanyi kusoma na kuwandiika, ate abalala obukadde 1,300 tebalina mazzi mayonjo ag’okunywa, n’abasula enjala nabo bawerera ddala akawumbi kalamba.” Bw’etyo alipoota ekwata ku mbeera y’ensi eyafulumira mu Ireland bwe yagamba.

Ng’ekyo kiraga bulungi nnyo nti omuntu alemereddwa okugonjoola ebizibu by’ensi! N’ekisingira ddala okuba eky’ennaku okusinziira ku lipoota eyo kiri nti, abasinga obungi ku bantu abo bakazi n’abaana. Si kya nnaku nnyo nti ne mu kyasa kino eky’amakumi abiri mu ekimu abantu bangi bwe batyo, eddembe lyabwe ery’obuntu lyeyongera “okutyoboolebwa obwenkanidde awo buli lunaku”?​—The State of the World’s Children 2000.

“Ensi Empya mu Mulembe Gumu”

Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekikola ku bulungi bw’abaana kikakafu nti ‘embeera eno embi ekosezza abantu mu nsi yonna esobola okumalibwawo.’ Ekibiina kino kigamba nti embeera zino embi ennyo ezinyigiriza obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu zisobola ‘okwewalibwa n’okutereezebwa.’ Mu butuufu, kikubye omulanga eri “abantu bonna okufuba okukolerera ensi empya mu mulembe gumu.” Kirina essuubi nti mu nsi eyo olulyo lw’omuntu lujja “kununulibwa okuva mu bwavu, ebikolwa eby’obukambwe, wamu n’endwadde.”

Abo aboogera bwe batyo, bakakafu nti ekyo kisoboka kubanga ne mu kiseera kino abantu abamu bafaayo nnyo ku balala era bakola butaweera okukendeeza ku bizibu ebiva ku bukuubagano n’entalo ‘ebirabika ng’ebitayinza kukoma.’ Ng’ekyokulabirako: Okumalira ddala emyaka 15, ekibiina ekiyitibwa Chernobyl Children’s Project ‘kiyambye okukendeeza ku kubonaabona kw’ebikumi n’ebikumi by’abaana abaakosebwa obulwadde bwa kookolo, oba obwaleetebwa akabenje ka nukuliya.” (The Irish Examiner, April 4, 2000) Ebibiina ebigaba obuyambi, ebinene n’ebitono bikoze kinene nnyo okuyamba abantu nkuyanja abakoseddwa entalo n’obutyabaga.

Wadde kiri kityo, abo abeenyigidde mu kaweefube ow’okuyamba abantu, bamanyi nti okufuba kwabwe kulina we kukoma. Bakimanyi nti ebizibu ebiriwo “bisaasaanye wangi era bisimbye amakanda n’okusinga bwe kyali emyaka kkumi emabega.” David Begg akulira ekibiina ekigaba obuyambi mu Ireland ekiyitibwa Concern, agamba nti, “abakozi, abawagizi, n’abo abagaba obuyambi, baakola kyonna kye basobola okuyamba” Mozambique bwe yagwa mu katyabaga k’amataba. Agattako nti, “naye tetusobola kuyamba nnamungi w’abantu abakoseddwa obutyabaga ng’obwo ffekka.” Ku bikwata ku kaweefube ow’okugaba obuyambi mu Afirika, agamba nti: “Tulina essuubi ttono nnyo ddala.” Bangi bajja kukkiriza nti ebigambo bye biraga bulungi nnyo ekyo ekiri mu nsi yonna okutwalira awamu.

Tuyinza okusuubira nti tujja kulaba “ensi empya mu mulembe gumu”? Wadde ng’okufuba kw’abantu okuliwo ensangi zino kusiimibwa, kya magezi okwetegereza ekisuubizo ekirala ku nsi empya omunaabeera obwenkanya n’emirembe. Baibuli eyogera ku ssuubi eryo ng’ekitundu ekiddako bwe kigenda okulaga.

[Ensibuko y’ekifaananyi ku lupapula 2]

Page 3, children: UN/DPI Photo by James Bu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2026)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2026 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza